
Nabukeera ng'azirise.
OMWANA ow'emyaka 14 eyabadde ateeka leediyo mu masannyalaze omukuufu gw'omu bulago gwe yabadde ayambadde gwagakoonyeemu ne gamukuba n'afa. Hawa Nansubuga 14 owa P6 ye yafudde.
Bazadde b'omwana, Nakato Isma Kayanja ne Ruth Nabukeera baategeezezza nti banne ba Nansubuga bagenze okumutuukako ng'amasannyalaze gamaze okumugonza.
Kamada Kikonyogo 16, muganda w'omugenzi yagambye nti bino byabaddewo Lwokuna, nga Nansubuga yabadde ayoza ngoye nga bw'awuliriza ka leediyo akacajingibwa.
Kigambibwa nti omuliro bwe gwaweddeko n'ayingira mu nju okukateeka mu soketi y'amasannyalaze kacajinge kyokka akakuufu ke yabadde ayambadde ne kaloba mu masannyalaze.
Yagasseeko nti bwe yalabye tafuluma mu nju kwe kuyingirayo n'amusanga wansi g'alinga eyeebase era bwe yamukonyeeko okumuzuukusa yagenze okuwulira ng'amasannyalaze gamusika era okwetegereza ng'akakuufu kalobye mu soketi.