
Joan Hunter ng’awa omuwala obunnabi.
OMUSUMBA Irene Manjeri ow'ekkanisa ya Bethel Healing Center aleese ttiimu y'ababuulizi b'enjiri 16 okuva mu America, okuli n'omubuulizi nakinku, Dr. Joan Hunter.
Bano baakumala mu ggwanga wiiki bbiri ku mirimu gy'okubuulira enjiri. Joan Hunter yasinzidde mu kusaba ku Pride Theater mu Kampala ku Ssande n'akubiriza Bannayuganda okukomya okwenyooma n'okukola batuukirize ebirooto byabwe.
Ye omusumba Manjeri yakungubagidde abafudde obulwadde bwa Corona.