TOP
  • Home
  • News
  • Temutunda mmaali ya Busiraamu - Mubajje

Temutunda mmaali ya Busiraamu - Mubajje

Added 23rd February 2021

Kigozi (ku kkono), ng’alaga Mufti Mubajje ebyalaani bye yawadde abakyala.

Kigozi (ku kkono), ng’alaga Mufti Mubajje ebyalaani bye yawadde abakyala.

MUFTI wa Uganda, Sheikh Shaban Ramadhan Mubajje alaalise okufaafaagana ne bannakigwanyizi abaagala okutwala emmaali y'Obusiraamu esangibwa ku William Street. Mubajje yagambye nti teri Musiraamu yasonda ssente okuzimba ebintu ebiri ku William Street, nga talaba lwaki abantu bakimuteekako nti yabitunda.

Yabadde ku ssomero lya One Ummah e Kaliiti mu Wakiso ku Lwomukaaga, ku mukolo gw'okutikkira abayizi abaamalirizza emisomo gyabwe mu by'emikono.

Mubajje yagambye nti tagenda kutuula butuuzi ng'emmaali y'Obusiraamu egenda, kuba ssente ezikozesebwa ku kitebe kya Uganda Muslim Supreme Council, ziva mu bizinensi eziri ku William Street.

Yagambye nti abavubuka abeenyigira mu kubba emmaali eno abasinga tebalina mirimu, nga baagala kunyaga bunyazi.

Yeebazizza Shania Kigozi ow'essomero lya One Ummah olw'okuvaayo n'ekirowoozo ky'okusomesa ebyemikono kuba kyakuyamba abantu okweggya mu bwavu nga beetandikirawo emirimu

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fr. Kabanda.

Ekkubo ly'omusaalaba libeer...

NG’OGGYEEKO Olwokutaano Olutukuvu olutambuzibwako ekkubo ly’omusaalaba, mu kisiibo tulagirwa okutambuza ekkubo...

Maj. Katamba.

Abaazirwanako 200 bagenze S...

EKIBINJA ky’amagye ekisooka e Kakiri kisunsudde abaazi rwanako 200 nga baakutwalibwa e Somalia okwongera okukuuma...

Abamu ku batuuze abaabadde mu kkooti.

Kkooti etandise okuwulira o...

OMULAMUZI Yasin Nyanzi atandise ku nteekateeka y’okuwulira omusango gw’abatuuze b’e Nakawa abaasengulwa ku luguudo...

Bamasheikh bongedde bwiino ...

BAMASEEKA bongedde okuleeta bwiino akakasa ekiraamo Sheikh Nuhu Muzaata kye yakola ne basomooza abakiwakanya okuleeta...

Mulangira ng’aliko by’annyonnyola abayizi.

'Temusuulirira baliko bulemu'

ABAZADDE abalina abaana abaliko obulemu abagenda okutuula ebibuuzo bya P7, S4 ne S6 basabiddwa obutabasuulirira...