TOP
  • Home
  • News
  • Kiki kye kitegeeza Kyagulanyi okuggyayo omusango mu kkooti

Kiki kye kitegeeza Kyagulanyi okuggyayo omusango mu kkooti

Added 23rd February 2021

Kyagulanyi (ku ddyo), Rubongoya ne Nyanzi ku offiisi za NUP e Kamwokya eggulo.

Kyagulanyi (ku ddyo), Rubongoya ne Nyanzi ku offiisi za NUP e Kamwokya eggulo.

Kiki kye kitegeeza Kyagulanyi okuggyayo omusango mu kkooti?

Bannamateeka boogedde:

Munnamateeka Male Mabirizi
Ssinga kkooti egaana Bobi okuggyayo omusango, kitegeeza nti abalamuzi baakugenda mu maaso n'okuwulira enjuyi zombi bagusale nga March 18, nga bwe baategeeza.

Ssinga balooya ba Bobi tebaddeyo mu kkooti ku nnaku ezaabaweebwa nga February 25, 26 ne March 5), Abalamuzi basobola okuwuliriza bannamateeka b'abawawaabirwa ne bazigeraageranya n'empaaba ya Bobi ne basala omusango.
Wadde ng'obujulizi bwa Bobi obumu kkooti yabugaanyi, balina obujulizi bw'abantu 51 bwe yali yatwalayo okuli n'obubwe nga buno kkooti bw'eyinza okukozesa.

Looya Steven Ssali Ssenkeezi: Tekikola makulu kulemera ku muntu yawaaba musango bw'aba ayagadde. Enkola y'okusooka okusaba kkooti olukusa nkyamu nnyo.
Akabi akaliwo nti bw'olemera ku musango eyaguloopa ne balooya be ne basalawo obutabeerawo mu kkooti mu kuguwoza, ensala y'abalamuzi ebeera eyamba bayizi mu kusoma "academic purpose", naye ebeera teyamba muntu waabulijjo

Mu misango gy'engassi nga guno, wadde ng'obujulizi bubeera mu buwandiike, bannamateeka baweebwa omukisa okwongera okutaangaaza, okukkaatiriza n'okunnyonnyola ensonga. Naye oludda olumu bwe lubivaamu ne luleka bawawaabirwa bokka, ensala y'abalamuzi abantu tebagitwala ng'ekikulu.

Looya Roberts Kagolo: Kisingako okuggyayo omusango ne bakulagira okusasula ssente b'obadde owawaabira kubanga kkooti ne bw'eremerako n'ekugaana okuguggyayo n'esalawo okuwulira oludda lumu oluwawaabirwa, emikisa gibeera mingi nnyo nti omusango gwo abalamuzi bagenda kukomekkereza bagugobye. Era bakulagire okuliyirira be wawawaabira.

OKUGGYAYO OMUSANGO KIKAKASA MUSEVENI BWE YABAMEGGA
Bannamateeka ba Museveni basanyukidde ekya Kyagulanyi okuggyayo omusango. Kyakubanguyiza emirimu gyabwe era kiraze nti omuntu waabwe yawangula mu mazima.

Enock Barata, omu ku bannamateeka ba NRM yategeezezza nti mu kiseera kino bakyalindiridde balooya ba Kyagulanyi ne kkooti okubawandiikira mu butongole ng' ebategeeza ku nsonga eno balyoke basalewo ekiddako.
Omuwaabi ssinga aggyayo omusango ateekwa okuliyirira be yawawaabira. Kyagulanyi ajja kutusasula.

Omwogezi w'akakiiko k'ebyokulonda Paul Bukenya yagambye nti balinze kkooti okubategeeza mu butongole si ku lwa nga Kyagulanyi yeekyusa.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mabiriizi ng’agasimbaganye ne Ssaabalamuzi Dollo (ku ddyo).

▶️ Ssaabalamuzi Dollo ale...

SSAABALAMUZI Alfonse Owinyi Dollo agaanidde mu musango gwa Kyagulanyi Ssentamu n'agamba nti, yadde yawolerezaako...

Kyagulanyi ng’ayogera ku kuggyayo omusango.

Bobi okuggyayo omusango kik...

JUSTINE Kasule Lumumba, ssaabawandiisi wa NRM alangidde omubaka Robert Kyagulanyi obwannakigwanyizi olw'okuggyayo...

Abamu ku bannannyini masomero abeetabye mu lukiiko.

▶️ Ebisaliddwaawo mu lukii...

ABAKULIRA amasomero g'obwabannannyini bapondoose ne bakkiriziganya ne gavumenti okugaggulawo nga March 01, 2021...

Sipiiika (wakati) n’ab’amasomero.

▶️ Ab'amasomero ga nassale...

EKIBIINA ekigatta ebitongole ebikola ku nkuza y'abaana bagenze mu Palamenti ne beemulugunya olwa gaumenti okugaana...

Abatuuze ne poliisi ga bali we battidde Amolo.

▶️ Asse mukazi we n'amutem...

ASIKAALI ku kitebe kya UMEME e Mpigi asozze mukazi we ebiso mu bulago n'amutta oluvannyuma n'amutemako emikono...