
Ssenga
OMUSAJJA gwe njagala tanfaako simanyi oba alina omuwala omulala nkole ki?
Mwana wange mu bikolwa by'omusajja akulaga nti akwagala n'okukuwa obudde bw'omukwano? Kubanga waliwo ebikolwa by'osobola okumanyirako oba ddala omusajja oba omukazi akwagala.
Ekirungi buli muntu omukulu asobola okumanya nti omuntu amwagala oba mu mutima gwe toliimu. Abasinga tetukozesa magezi Mukama ge yatuwa.
Naye nga mu bikolwa omanya oba omuntu akwagala. Omuntu ne bw'ayogera ebifaanana bitya omanya oba akulimba mu bigambo. Mwana wange bw'oba olaba mu mutima nga takwagala mwesonyiwe. Nsuubira oyogedde naye n'olaba nga tewali kikyuka.
Oluusi tugaana okukkiriza nti omuntu tumwesibyeko oba ne tugaana okukkiriza nti oyo gwe tulowooza nti atwagala mu butuufu tatwagala atumalira budde oba atukozesa.
Ate bwe weesiba mu mukwano ogw'okusika omuguwa ofi irwa emikisa mingi egy'okufuna omuntu asobola okukwagala. Olina kusooka kuleka oyo gw'olowooza nti akwagala ate ng'omwesibako n'osobola okufuna omuntu akwagala. Kale mwana wange tomwesibako kwonoona budde bwo bw'oba owulira tabiriiko.