TOP
  • Home
  • News
  • Omuzannyi akuba munne omupiira afuna kaadi emmyuufu

Omuzannyi akuba munne omupiira afuna kaadi emmyuufu

Added 23rd February 2021

Tomusange

Tomusange

AMATEEKA g'omupiira agaawandiikibwa gali 17, wabula wayinza okubaawo ekintu kyonna (ekisobyo oba nedda), ng'okutuuka ku kituufu ddiifiri alina okwetegereza amateeka nga asatu (3).

Etteeka erisooka, kye kisaawe. Lyogera ku buwanvu bwakyo, obunene bwa ggoolo, bendera kwe zisimba mu makoona n'obuwanvu bwazo, buli layini zonna, ez'omunda n'ezeetoolodde ekisaawe.

Obunnya obuteekebwa mu ntabwe wamu n'akomu nkulungo ya wakati, kw'ossa layini eya wakati eyawula ekisaawe. Mu kisaawe tulinamu layini ezikola entabwe.

Waliwo etteeka nnamba 9 eryogera ku mupiira oguli munda oba wabweru w'ekisaawe. Wano we tuggya n'entaputa ya layini ezisigadde zonna. Omupiira guli munda oba wabweru wa "kabookisi akatono", entabwe, we basimulira ekkoona oba peneti.

Lino lye limu ku mateeka agasinga obutono era lyangu okutaputa. Buli awali layini, ebalibwa ku kitundu kye yeetoolodde. Okubala nti omupiira gufulumye ebweru w'ekisaawe oba ebweru w'entabwe, gulina okuba gwonna guweddeyo, nga tewali wadde akasirikitu akasigadde mu layini.

Jjukira nti omupiira mwekulungirivu, bwe guba nga guteredde mu kifo kimu, agulaba, alaba ng'ogutudde "ebweru" wa layini, naye guba mu layini, okuggyako nga gwonna gufulumye.

Omupiira oguzannyibwa, amateeka gwe gatunuulira.Tulabye abazannyi bangi abasobola okuzannya omupiira nga guli munda mu kisaawe ye nayitira ebweru waakyo. Enzannya eyo ekkirizibwa kubanga omupiira oguzannyibwa tegufulumye bweru wa kisaawe, wabula muzannyi.

Ebisobyo ebisinga obungi bikolebwa ku bazannyi, nga okwekuba endobo. Ebisobyo ebikolebwa ku mupiira biri bibiri (2), kufuluma bweru oba kugukwata n'engalo awatakkirizibwa.

Abazannyi abasiiwuufu b'empisa bagukozesa okugulwanyisa, n'agukuba munne oba ddiifiri. Kino nno kisobyo kya kaadi mmyuufu.

Wabula ate omuzannyi asobola okugukozesa ng'akakodyo n'agukuba ku munne oba omuzannyi wa ttiimu endala, ng'agenderedde omupiira okumuddira aguzannye. Ekyo kikkirizibwa, agukasuse bw'abeera nga takozesezza ttima okulumya gw'agukubye.

Ggoolokipa yekka y'akkiri-zibwa okuzannyisa omubiri gwe gwonna, wabula okukozesa emikono n'engalo akkirizibwa ng'ali mu ntabwe ya ttiimu ye yokka. Bw'agukwatira ebweru waayo abonerezebwa ng'omuzannyi omulala yenna.

Jjukira nti tutunuulira mupiira. Omubiri gwa ggoolokipa gwonna bwe gubeera mu ntabwe, omupiira nga guli wabweru, nga tewali katundu konna mu layini, n'ateeka ekibatu kye kyokka ku mupiira, abeera akwatidde omupiira awatakkirizibwa. Kaadi emulagibwa esobola okuba emmyuufu, kyenvu oluusi n'obutalagibwa kaadi yonna.

Omubiri gwe gwonna bwe gubeera wabweru w'entabwe, ng'omupiira guli ku layini yaayo, n'agukwata, tewaba kisobyo kubanga abeera agukwatidde munda mu ntabwe ya ttiimu ye.
alitomusange12@gmail.com 0772624258

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mabiriizi ng’agasimbaganye ne Ssaabalamuzi Dollo (ku ddyo).

▶️ Ssaabalamuzi Dollo ale...

SSAABALAMUZI Alfonse Owinyi Dollo agaanidde mu musango gwa Kyagulanyi Ssentamu n'agamba nti, yadde yawolerezaako...

Kyagulanyi ng’ayogera ku kuggyayo omusango.

Bobi okuggyayo omusango kik...

JUSTINE Kasule Lumumba, ssaabawandiisi wa NRM alangidde omubaka Robert Kyagulanyi obwannakigwanyizi olw'okuggyayo...

Abamu ku bannannyini masomero abeetabye mu lukiiko.

▶️ Ebisaliddwaawo mu lukii...

ABAKULIRA amasomero g'obwabannannyini bapondoose ne bakkiriziganya ne gavumenti okugaggulawo nga March 01, 2021...

Sipiiika (wakati) n’ab’amasomero.

▶️ Ab'amasomero ga nassale...

EKIBIINA ekigatta ebitongole ebikola ku nkuza y'abaana bagenze mu Palamenti ne beemulugunya olwa gaumenti okugaana...

Abatuuze ne poliisi ga bali we battidde Amolo.

▶️ Asse mukazi we n'amutem...

ASIKAALI ku kitebe kya UMEME e Mpigi asozze mukazi we ebiso mu bulago n'amutta oluvannyuma n'amutemako emikono...