TOP
  • Home
  • News
  • Omubaka omulonde owa Lubaga North yasooka kuyoola kasasiro mu Kampala

Omubaka omulonde owa Lubaga North yasooka kuyoola kasasiro mu Kampala

Added 23rd February 2021

Omubaka omulonde Kawalya

Omubaka omulonde Kawalya

Omubaka omulonde owa wa Lubaga North mu palamenti, Abubaker Kawalya, obukulembeze bwe yabutandikira mu ssomero okutuusa leero lw'afuuse omubaka.

Kawalya yawangudde Moses Kasibante abaddeyo okumala emyaka 10. Agenze okwesogga Palamenti nga ye sipiika wa KCCA.

Yazaalibwa omugenzi Sulaiman Ssempagala mu 1984 eyali ddereeva wa mmotoka lukululana ezitambuza ebyamaguzi. Kawalya yakula ne maama we Hafswa Nakabugo eyali omusuubuzi w'amatooke mu katale e Kasubi.

                                       Manya Omubaka Wo

Kawalya akulidde Kawaala ne nnyina Nakabugo awali amaka gaabwe. Okusoma
Yakutandikira mu Kasubi Modern Pulayimale. Teyagimalaako n'atwalibwa e Itendero pulayimale erisangibwa e Mbarara gye yatuulira ebibuuzo by'ekibiina eky'omusanvu mu 1998.

Yayingira siniya esooka mu ssomero lya Hawa Secondary School e Naluvule gye yakolera siniya eyokuna mu 2002 ate eyomukaaga mu 2004.

Yayingira Makerere University mu 2005 n'akola diguli mu kikula ky'abantu n'afuluma mu 2009. Abadde asoma naye ng'ebyobufuzi abyagala nnyo. Yali wa DP mu kibiina ky'abavubuka aba UYD gye yayingira mu 2000.

Yali muwagizi wa Alhajj Nasser Sebaggala kati omugenzi mu kibiina kye ekya youth Brigade. Yakyusa n'ayingira FDC ng'ali ku yunivasite ne bamussa mu kifo ky'obuwandiisi bw'ekibiina ku lukiiko lwa FDC e Makerere.

Mu kulonda kwa 2011, yeesimbawo ku bwakansala bwa Lubaga North kyokka Godfrey Asimwe owa NRM n'amuwangulira ku bululu butono.

Yafuna omulimu mu KCCA n'atandika okukola nga bw'alinda okulonda kwa 2016 kuddemu. Yaddamu n'avuganya ku bwakansala ku kaadi ya Fdc era n'awangula obwakansala.

Ennoongosereza mu tteeka erifuga KCCA bwe zaayisibwa ne ziteekawo ekifo kya sipiika n'omumyuka we, Kawalya yavuganya era bakansala abasinga obungi ne bamuyiira obululu n'awangula Doreen Nyanjura.

Ekifo kino kyamwongera amaanyi n'alangirira nti ayagala kuyingira palamenti aggyewo
omubaka Moses Kasibante abaddewo.

Ekifo kya sipiika yakiwangula nga wa people Power era n'atwala bakansala abaamuliko ewa Robert Kyagulanyi Ssentamu ne bamwegattako.

Ekibiina kya NUP bwe kyatandise n'ayingira era ne bamuwa kaadi kwe yawangulidde.

FFAMIRE
Omubaka Abubaker Kawalya musajja mufumbo. Alina amaka abiri nga buli maka mulimu omukyala. Alina abaana mukaaga.

BA NNABYABUFUZI
Omubaka wa Mawokota South Yusuf Nsibambi yayogedde ku Kawalya ng'omuvubuka ayise mu mikono gya bannabyabufuzi abalungi ate muyivu. Yayita mu mikono
gy'omugenzi Alhajj Nasser Ntege Sebaggala ng'omuvubuka ayagala ebyobufuzi era yabimuyigiriza bulungi.

Muyivu ate okusinziira ku myaka gye, alina obumanyirivu obulungi. Yeesimbawo ng'atandikira ku bwakansala. Yasooka n'agwa oluvannyuma n'addamu n'ayitamu era bw'atuuse mu KCCA abadde akiika bulungi era y'ensonga lwaki banne baamuwa
obwasipiika.

Abadde wa FDC naye yayingira NUP ate nayo ne bamuwa obuvunaanyizibwa.
Bannalubaga wadde babadde n'omubaka omulungi naye ne Kawalya naye si mubi era
nsuubira bagenda kukiikirirwa bulungi.

Abantu Nga Balongoosa Lubaga

Chairman Fred Nyanzi ;
Omubaka Kawalya mu kuyingira NUP, twamulabirawo nga mukulembeze mulungi era Bannalubaga baafunye omuntu atalina kizibu. Muyivu, akolagana n'abantu ate
talina byabufuzi bya bukyayi.

Ebintu mukaaga by'ayagala okussaako essira

1.Yategeezezza nti ayagala emyaka 10 gyokka ng'akulembera mu kifo agende ku birala ebiddako.
2.Yagambye nti ayagala etteeka erissa ekkomo ku myaka gya pulezidenti liddewo ate n'ekkomo ku bisanja lireetebwe.
3. Ayagala emisolo ku mirimu egy'enjawulo gisalibwe ate n'egimu giveewo kubanga abantu banyigirizibwa nnyo.
4. Ayagala omutindo ku bintu eby'enjawulo ng'okulwanirira amalwaliro n'amasomero abantu bawone okunyigirizibwa.
5. Ayagala okulaba nga ssente z'omuwi w'omusolo zikozesebwa bulungi.
6. Bajeti eteekwa okukolebwa ng'eyamba eggwanga naye sikuyisaamu ssente kufunyisa balala.
7. Ebbula ly'emirimu mu bavubuka ayagala lisalirwe amagezi ng'abavubuka bafune emirimu n'ebyokukola.
Yagambye nti akkiririza mu Robert Kyagulyanyi nga pulezidenti we era agenda kulwanirira ebigendererwa bya NUP okulaba nti bituukirira.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mabiriizi ng’agasimbaganye ne Ssaabalamuzi Dollo (ku ddyo).

▶️ Ssaabalamuzi Dollo ale...

SSAABALAMUZI Alfonse Owinyi Dollo agaanidde mu musango gwa Kyagulanyi Ssentamu n'agamba nti, yadde yawolerezaako...

Kyagulanyi ng’ayogera ku kuggyayo omusango.

Bobi okuggyayo omusango kik...

JUSTINE Kasule Lumumba, ssaabawandiisi wa NRM alangidde omubaka Robert Kyagulanyi obwannakigwanyizi olw'okuggyayo...

Abamu ku bannannyini masomero abeetabye mu lukiiko.

▶️ Ebisaliddwaawo mu lukii...

ABAKULIRA amasomero g'obwabannannyini bapondoose ne bakkiriziganya ne gavumenti okugaggulawo nga March 01, 2021...

Sipiiika (wakati) n’ab’amasomero.

▶️ Ab'amasomero ga nassale...

EKIBIINA ekigatta ebitongole ebikola ku nkuza y'abaana bagenze mu Palamenti ne beemulugunya olwa gaumenti okugaana...

Abatuuze ne poliisi ga bali we battidde Amolo.

▶️ Asse mukazi we n'amutem...

ASIKAALI ku kitebe kya UMEME e Mpigi asozze mukazi we ebiso mu bulago n'amutta oluvannyuma n'amutemako emikono...