TOP
  • Home
  • News
  • Balooya batiisizza okuwaabira minisita Nakiwala ku bya Muzaata

Balooya batiisizza okuwaabira minisita Nakiwala ku bya Muzaata

Added 24th February 2021

Nalukoola

Nalukoola

BALOOYA ba ffamire ya Sheikh Nuuhu Muzaata batiisizza okuwaabira minsita w'abavubuka n'abaana, Florence Nakiwala Kiyingi nti talina buyinza bukkiriza Kuluthum Nabunnya kudda mu maka ga Muzaata.

Looya Luyimbaazi Nalukoola owa kkampuni ya Nalukoola, Kakeeto Advocates and Solicitors yategeezezza Bukedde nti Nakiwala yawadde ekiragiro ku kintu ekyamuyinze obuzito kubanga tekigwa mu mitendera gye yayiseemu n'obuyinza tabulina.

"Ofiisi ye tekola gwa kugaba byabugagga bya mugenzi nga bwe yagemudde amaka ga Muzaata ng'alagira Kluthum okuddayo.

Ekiragiro ekyakolebwa akola ku nsonga z'abafu kyalagira aba ffamire ya Muzaata bonna ne Kluthum okuva mu maka gano era tuddayo ew'akola ku nsonga z'abafu nga February 25, 2021 okusalawo ekiddako. Kati ate Nakiwala w'aweeredde ekiragiro ekitali mu buyinza bwe. Kikyamu okukkiriza Kluthum okuddayo essaawa eno.

Ebbaluwa eyita Nakiwala okwewozaako tugenda kugiwaako ne Katikkiro wa Uganda akulira baminisita kubanga alabika teyamulambika w'alina kukoma," Nalukoola bwe yategeezezza.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Wabaddewo vvaawompiteewo n...

WABADDEWO vvaawompiteewo ku kisaawe kya MTN Arena e Lugogo ng'abakungu ba FUFA balondesa abakulembeze b'omupiira...

Abamu ku bayizi be basabidde.

Abayizi ba S.6 babuuliriddw...

ABAYIZI ba S6 babuuliriddwa okutwala ebigezo eby'akamalirizo bye batandika enkya ng'ensonga kuba kati batandise...

Fr. Dominic Kagoye  ng'akwasa Kironde (afukamidde wansi ) pikipiki gye baamutonedde,nnyina (mu gomesi) n'abaana be.

Omusomesa eyaziba amaaso ki...

Eyali Omusomesa wa Siniya okubala ne 'Physic's eyaziba amaaso mu ngeri eyewuunyisa ng'ali mu kibiina asomesa n'akubwa...

Museveni n'owa Tanzania bat...

Abakulembeze b'amawanga okuli owa Uganda Yoweri Museveni ne Samia Suluhu Hassan owa Tanzania batadde omukono ku...

Abaami ba Kabaka abaweereddwa eggaali.

Kabaka awadde abaami b'amag...

Ssaabasajja Kabaka asiimye n'awa abaami be abamagombolola 29 agokola essaza lye Buddu entambula. Obuyambi...