TOP
  • Home
  • News
  • Omujjuzo ku ofiisi ezigaba paasipooti gusitudde buto

Omujjuzo ku ofiisi ezigaba paasipooti gusitudde buto

Added 24th February 2021

Abaagala okufuna paasipooti nga basimbye ennyiriri.

Abaagala okufuna paasipooti nga basimbye ennyiriri.

ZULIA Namuyanja yatulise n'akaaba oluvannyuma lw'okusimba layini okumala essaawa ssatu, kyokka bwe yatuuse w'ayingirira ne bamugoba olw'okuba mesegi okuli obubaka bw'oku ssimu emuyita yabadde yasiimuddwa.

Bwe yabuuziddwa lwaki yabadde ayagala nnyo okufuna paasipooti yagambye nti we baggalira ekisaawe ky'ennyonyi yali amanyi ajja kugenda e Saudi Arabia mu myezi ebiri. Bwe bazzeemu okuggulawo ekisaawe yeewoze ssente ng'amanyi nti ajja kusasula ng'atuuse ku kyeyo ekitannaba kutuukirira.

Namuyanja y'omu ku bantu enkumu abakeera ng'obudde tebunnakya okusimba ennyirira okufuna Passport zaabwe basobole okweyuna okugenda ku kyeyo.

Omujjuzo gw'abantu gwasazeeko ekitundu ky'ekkubo lya Old Port Bell era ebidduka bitambulira ddala kasoobo. Ebusukka kkubo nayo abantu bajjudde era abamu eby'okusimba bwe byabayinze ne basalawo okwewunzikako okutuusa abantu lwe banaakendeera.

Joan Nakimbugwe eyavudde e Wakiso yagambye nti tewali kimuluma nga butabawa buyumba bukyamirwamu. Obuyumba obuli mu minisitule bwonna buliko kkufulu ekintu ekyongedde okuwa abantu akaseera akazibu.

"Okutya kwe nina engeri Corona gyatannaba kuggwayo, we ninda ennyo embeera esobola okuddamu okutabuka ne basiba ekisaawe ne nviiramu awo" Nakimbugwe bwe yagambye.

Ye Brian Sekate eyavudde e Luweero yagambye nti ekisinga okumwewuunyisa y'engeri abaserikale gye babatabukira ne babasindika ng'abazzizza omusango. N'embeera y'obunkenke eri mu ggwanga yagambye nti emusuza tateredde nga kisingako okulyetegula.

Waliwo abataayagadde kubaatuukiriza mannya abaagambye nti omuntu bwe bakusanga nga tolinaamu ssente osobola n'okusimba wiiki ebbiri nga tonnayingira. Kyokka ne gw'owa ssente naye asobola okukubula kuba n'abakozi beekengera buli muntu.

Brenda Watongola eyavudde e Jinja yagambye nti yaakasula mu loogi ennaku bbiri ng'alowooza nti bwe kijja okumwanguyira okutuuka amangu. Kyokka agenda okutuuka ku ssaawa 1:00 ey'oku makya nga talina w'ayisa kigere.

MINISITA ANNYONNYODDE
Minisita w'ensonga z'omunda mu ggwanga, Obiga Kania omujjuzo gw'abantu we bafunira paasipooti obuzibu yabutadde ku makampuni agatwala abantu ebweru naddala mu mawanga ga Buwarabu okukuba ebyeyo.

Okuva ekisaawe ky'ennyonyi lwe kyaddamu okukola, amakampuni agatwala abantu ebweru ne gaddamu okukola, abantu bangi abaali bateekateeka okugenda ne bakoma ku munaabo, kuno kw'ogatta n'abalala abeeyongeddeko ne gujabagira kuba mulimu n'abalowooza nti bwe batagenda kati bakyayinza okuddamu okusiba ekisaawe.

Ekitongole ekivunaanyizibwa ku bya paasipooti kifuba okulaba nga kikozesa obwangu mu kugabira Bannayuganda paasipooti era bagamba nti olunaku bafulumya paasipooti 1,000.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abasomesa nga baweebwa ebigezo by'amasomero gaabwe.

Enkuba teremesezza bigezo k...

Wadde ng'enkuba yakedde kutonnya mu bitundu by'omu disitulikiti y'e Kalungu teyalemesezza bakulu b'amasomero kunona...

Omuzibizi wa Arsenal eyafun...

Tierney yafunye obuvune mu vviivi era asuubirwa okumala ebbanga eriwerako nga tazannya wabula Arteta agamba nti...

Bassita ba Leicester bameny...

TTIIMU ya Leicester eraze lwaki abazannyi baayo basatu baayo basatu tebaazannye mupiira gwa Premier, West Ham bwe...

Wabaddewo vvaawompiteewo n...

WABADDEWO vvaawompiteewo ku kisaawe kya MTN Arena e Lugogo ng'abakungu ba FUFA balondesa abakulembeze b'omupiira...

Abamu ku bayizi be basabidde.

Abayizi ba S.6 babuuliriddw...

ABAYIZI ba S6 babuuliriddwa okutwala ebigezo eby'akamalirizo bye batandika enkya ng'ensonga kuba kati batandise...