
Abatuuze ne poliisi ga bali we battidde Amolo.
ASIKAALI ku kitebe kya UMEME e Mpigi asozze mukazi we ebiso mu bulago n'amutta oluvannyuma n'amutemako emikono ogumu n'agusuula ku ofiisi ya UMEME omulala n'agusuula ku mulyango gwa asikaali munne agambibwa okubeera omusiguze.
Jacob Pule omukuumi ku kitebe kya UMEME e Mpigi yasse muganzi we Sharon Amolo 25 mu ntiisa, bw'amusozze ekiso mu bulago oluvannyuma n'amutemako emikono gyombi ogumu n'aguteeka mu kaveera n'agusuula ku mulyango gwa mukuumi munne Godwin Mumbere.
Omukozi wa UMEME abadde akedde okulongoosa mu kasenge omuterekebwa emmundu z'abakuumi ye yeekanze omukono gw'omuntu gwe babadde bazinze mu yinofoomu y'omu ku bakuumi (Jacob Pule) kyokka nga teguliiko musaayi wadde ne bayita poliisi y'e Mpigi.
Kyokka mu kaseera katono abatuuze b'e Ggala okumpi ne offiisi za UMEME nabo bagudde ku mukono omulala ku mulyango gwa Godwin Mumbere nga guli mu kaveera akabaddemu masiki ya UMEME ekibaviiriddeko okulowooza nti asikaali Jacob Pule ye yattidwa ng'essimu ye teriiko era omuyiggo ne gutandika.
Oluvannyuma essimu ya Pule yazzeeko n'abategeeza nti, ali awaka mu nnyumba. Poliisi egenze ewuwe n'esanga nga kuliko kkuufulu era baagenze okugimenya ne basanga ng'omulambo gwa Sharon guli mu kitaba ky'omusaayi.
Poliisi ng'ekulembeddwaamu DPC wa Mpigi etutte embwa yaayo okuyigga omutemu kyokka n'ekoma ku luguudo lwa Kampala - Masaka.
Baliraanwa ba Jacob Pule baategeezezza nti tebaawuliddeko luyomba wakati w'abaagalana bano wadde okulwanagana era basembye okulaba omugenze ku ssaawa 2:00 ez'ekiro ng'ayingira mu nnyumba okwebaka.
Poliisi eggyeewo omulambo ne gutwalibwa mu ggwanika ly'eddwaaliro ekkulu e Mulago n'ebizibiti okuli emmundu bbiri, ekiso n'ebyambalo bya asikaali akoze ettemu. Omwogezi wa poliisi mu kitundu kya Katonga, Lydia Tushabe ategeezezza nti batandise omuyiggo gwa Pule ku musango gw'obutemu.