TOP
  • Home
  • News
  • ▶️ Ebisaliddwaawo mu lukiiko lwa minisita n'abamasomero

▶️ Ebisaliddwaawo mu lukiiko lwa minisita n'abamasomero

Added 24th February 2021

Abamu ku bannannyini masomero abeetabye mu lukiiko.

Abamu ku bannannyini masomero abeetabye mu lukiiko.

ABAKULIRA amasomero g'obwabannannyini bapondoose ne bakkiriziganya ne gavumenti okugaggulawo nga March 01, 2021 nga batandika n'abaana aba P6, S3 ne S5 nga gavumenti bwe yalagidde.

Bannannyini masomero gano abeegattira mu kibiina Proprietors of Private Education Institutions Association Uganda ababadde bakulembeddwaamu ssentebe waabwe Mike Kironde baasisinkanye Minisita omubeezi ow'amatendekero aga waggulu Dr. JC Muyingo eggulo mu kafubo ak'ekyama ne bakkiriziganyiza okuggulawo amasomero nga gavumenti bw'ekola ku nsonga zaabwe.

Ku ssente obuwumbi 2,500/- Museveni ze yabasuubiza nga bannannyini masomero g'obwannannyini nga baabadde baagala zisooke zibaweebwe nga tebannaggulawo, Kironde yagambye nti minisita Muyingo yabagumizza nti nga bwe baggulawo amasomero gano ensonga yaabwe eno agenda kugituusa ewa Museveni mu bwangu asobole okulaba bw'agikolako," Kironde bwe yategeezezza.

Olwavudde mu kafubo, Kironde yasabye banne bonna gye baali nti baggulirewo abayizi nga March 1, 2021, abayizi aba P.6, S.3 ne S5 batandike okusoma era yasabye bannannyini masomero bagalongoose amasomero gaabwe n'ebibiina abaana basobole okuddayo ng'embeera nnungi.

Ku ssente ze babanjibwa bbanka ze baali beewoola basabye, minisita okwogera ne Pulezidenti okwogerako ne bannannyini bbanka zino babaggyirewo amagoba ku ssente ze babaawola kubanga nabo babadde balaba nti tebakyakola.

Mu ngeri y'emu Kironde yawadde bannannyini masomero amagezi okugenda okusisinkana bannannyini bbanka gye beewola ssente baddewo bakkaanye ku ngeri gye balina okusasulamu ssente z'ebiwola kibayambe obutalaba bulabi nga bbanka zitandise okukwata buli kikuumi ekigenda ku akawunti zaabwe batuuke n'okuggya okubatundako amasomero gaabwe.

Bo abazadde abalina obuzibu mu kusasula ssente za fiizi baaweereddwa amagezi okutuukirira abakulira amasomero gano bakkaanye ku ngeri gye basobola okusasulamu fiizi zaabwe mu bitundutundu era n'abamasomero basabiddwa bakwatagane n'abazadde bulungi.

Christopher Kiwanuka Kaweesa, yagambye nti ku ky'amasomero ga nassale basabye minisita abagambire Pulezidenti Museveni nti bw'ogaana nassale okugenda mu maaso n'okusomesa kirina obuzibu bw'amaanyi bwe kibeera kitadde ku byenjigiriza.

Kiwanuka yagambye nti okuva mu myaka gya 1990's okutuuka mu 2018, kiraga nti amasomero ga nassaale bwe gatandikibwawo kyayongera kinene okugoba obutasoma mu Bannayuganda kubanga omwana atayise mu nassale abeera muzibu nnyo okukwata ebintu bye bamusomesa ku myaka emikulu.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Wabaddewo vvaawompiteewo n...

WABADDEWO vvaawompiteewo ku kisaawe kya MTN Arena e Lugogo ng'abakungu ba FUFA balondesa abakulembeze b'omupiira...

Abamu ku bayizi be basabidde.

Abayizi ba S.6 babuuliriddw...

ABAYIZI ba S6 babuuliriddwa okutwala ebigezo eby'akamalirizo bye batandika enkya ng'ensonga kuba kati batandise...

Fr. Dominic Kagoye  ng'akwasa Kironde (afukamidde wansi ) pikipiki gye baamutonedde,nnyina (mu gomesi) n'abaana be.

Omusomesa eyaziba amaaso ki...

Eyali Omusomesa wa Siniya okubala ne 'Physic's eyaziba amaaso mu ngeri eyewuunyisa ng'ali mu kibiina asomesa n'akubwa...

Museveni n'owa Tanzania bat...

Abakulembeze b'amawanga okuli owa Uganda Yoweri Museveni ne Samia Suluhu Hassan owa Tanzania batadde omukono ku...

Abaami ba Kabaka abaweereddwa eggaali.

Kabaka awadde abaami b'amag...

Ssaabasajja Kabaka asiimye n'awa abaami be abamagombolola 29 agokola essaza lye Buddu entambula. Obuyambi...