TOP
  • Home
  • News
  • Klezia y'e Namataba yaakumalawo obuwumbi 2

Klezia y'e Namataba yaakumalawo obuwumbi 2

Added 25th February 2021

Ategeka (mu ssuuti) n’Abakristu b’e Namataba nga balambula omulimu gw’okuzimba Klezia.

Ategeka (mu ssuuti) n’Abakristu b’e Namataba nga balambula omulimu gw’okuzimba Klezia.

ABAKRISTU b'ekisomesa kya St. Charles Lwanga e Namataba - Kirinya mu Divizoni y'e Bweyogerere basabye abazirakisa okubadduukirira mu mulimu gw'okuzimba Klezia yaabwe gwe batandise.

Alex Kirungi ne Mary Muteesasira abamu ku bakulira omulimu guno baategeezezza nti gwetaaga obuwumbi bubiri n'ekitundu nga basuubira okuziggya mu Bakristu wamu n'abazirakisa abalala.

Kirungi yategeezezza nga bwe basuubira omulimu guno okutwala emyaka etaano nga Klezia gye bagenda okuzimba ejja kutuuza abantu 500 kyokka ng'ebaddewo
ekaddiye ebadde etuuza 300 bokka.

Abantu baatandise okujjumbira omulimu guno nga Moses Ategeka Brown omu ku baavuganya ku kifo ky'omubaka wa Munisipaali y'e Kira ne ffamire ye baawaddeyo 500,000/-, Vincent Matovu yawaddeyo ensawo za seminti 100.

Faaza Leo Bagenda, bwannamukulu w'ekigo ky'e Bweyogerere yeebazizza Ategeka olw'omutima omugabi ate n'asaba abazirakisa okuwaayo nga bwe babeera basobodde okulaba ng'omulimu guno gumalirizibwa. Klezia enkadde ebaddewo bali mu ntegeka y'okugimennya.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Wabaddewo vvaawompiteewo n...

WABADDEWO vvaawompiteewo ku kisaawe kya MTN Arena e Lugogo ng'abakungu ba FUFA balondesa abakulembeze b'omupiira...

Abamu ku bayizi be basabidde.

Abayizi ba S.6 babuuliriddw...

ABAYIZI ba S6 babuuliriddwa okutwala ebigezo eby'akamalirizo bye batandika enkya ng'ensonga kuba kati batandise...

Fr. Dominic Kagoye  ng'akwasa Kironde (afukamidde wansi ) pikipiki gye baamutonedde,nnyina (mu gomesi) n'abaana be.

Omusomesa eyaziba amaaso ki...

Eyali Omusomesa wa Siniya okubala ne 'Physic's eyaziba amaaso mu ngeri eyewuunyisa ng'ali mu kibiina asomesa n'akubwa...

Museveni n'owa Tanzania bat...

Abakulembeze b'amawanga okuli owa Uganda Yoweri Museveni ne Samia Suluhu Hassan owa Tanzania batadde omukono ku...

Abaami ba Kabaka abaweereddwa eggaali.

Kabaka awadde abaami b'amag...

Ssaabasajja Kabaka asiimye n'awa abaami be abamagombolola 29 agokola essaza lye Buddu entambula. Obuyambi...