TOP
  • Home
  • News
  • ▶️ Abakozesa Northern By Pass balojja akalippagano

▶️ Abakozesa Northern By Pass balojja akalippagano

Added 25th February 2021

Akalippagano ku nkulungo y’e Naalya.

Akalippagano ku nkulungo y’e Naalya.

ABANTU abakozesa oluguudo lwa Northern By Pass balojja akalippagano k'ebidduka akali ku luguudo luno okuva bwe baakyusizza entambula y'ebidduka nga bakola enkulungo eziriko.

Enkulungo ezikolebwa kuliko, ey'oku Kalerwe, Naalya, Kisaasi ne Kyebando ng'omulimu guno gutaataaganyizza entambula olwa jjaamu akwata okumala kumpi olunaku lulamba ekikosezza bizinensi eziri mu bitundu bino.

Omwogezi w'ekitongole ky'ebyenguudo ekya UNRA, Allan Ssempebwa yategeezezza nti kituufu abantu abakozesa oluguudo luno bafunyeemu okutaataaganyizibwa naye nga kyakoleddwa olw'obulungi bw'eggwanga nga baagala okukola oluguudo olw'omulembe era mu bbanga ttono jjaamu agenda kufuuka lufumo mu kitundu kino.

Enkulungo Y'e Naalya Nga Bw'efaanana.

"Enguudo eziyita wansi okwetooloola enkulungo ezizimbibwa zigenda kuyita waggulu ng'ezitwala abantu abagenda ewala tugenda kuzimala mangu ddala era we tunaatuukira
ku ntandikwa ya April w'omwaka guno nga ziteredde ng'abantu basobola okuzikozesa," Ssempebwa bwe yategeezezza.

Yategeezezza nti mu kiseera kino buli ayita mu bitundu bino alaba nti omulimu gwetukola gudduka ku sipiidi ya waggulu okuli enkulungo y'e Kyebando eneetera okuggwa. Ate Kaleerwe ne Kisaasi omulimu gutambulira ddala bukwakku era ne Nalya nayo ekikolebwa buli omu akiraba.

Ssempebwa yagambye nti Bannayuganda bakimanye nti wakati wa July, August, September ne October bagenda kubeera nga baggya engalo ku nkulungo emu kw'emu.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fr.Tamale

Fr. Tamale waakuziikibwa Bu...

Fr.  Joseph Tamale 39 afudde oluvannyuma lw'okutawaanyizibwa ekirwadde kya Puleesa n'ensigo. W'afiiridde, abadde...

Omutaka Gabunga, Mubiru  (wakati) ne Benon  Kibuuka (ku ddyo) ng'abasabira omwoyo gwa Ssaabasumba e Lubaga.

Bannaddiini musse ekitiibwa...

OMUTAKA Gabunga,Mubiru Zziikwa owookubiri, asoomoozezza Bannaddiini ku kussa ekitiibwa mu buwangwa n'Ennono. ...

Betty Maina (ku kkono) , minisita Oryem ne Amelia Kyambadde oluvannyuma lw'okussa omukono ku ndagaano.

Gavt. ya Uganda ne Kenya zi...

GAVUMENTI ya Uganda ne Kenya zitadde omukono ku ndagaano egendereddwaamu okumalawo emiziziko egibaddewo wakati...

Lukyamuzi ne Kasibante.

Lukyamuzi ne Kasibante bavu...

ABALWANIRIZI b'eddembe ly'obuntu bawakanyizza emisolo emipya gavumenti gy'ereeta mu mbalirira y'ebyensimbi ey'omwaka...

Abasiraamu nga basimba ekipande ku poloti eyassibwa ku ttaka ly'Omuzikiti  e Kiyunga mu Mukono era ekifo baakyeddiza.

Abasiraamu beddizza ettaka ...

ABASIRAAMU b'omu disitulikiti y'e Mukono abali wansi wa Mukono Muslim District Council batandise okweddiza ettaka...