TOP
  • Home
  • News
  • Ebizuuse ku mmotoka ya Bobi ereese akasattiro

Ebizuuse ku mmotoka ya Bobi ereese akasattiro

Added 25th February 2021

Emmotoka etadde ebitongole bya Gavumenti mu kaseera akazibu ku ngeri gye yayingira mu ggwanga.

Emmotoka etadde ebitongole bya Gavumenti mu kaseera akazibu ku ngeri gye yayingira mu ggwanga.

EMMOTOKA ya Kyagulanyi gye yayanjulidde abawagizi be n'abategeeza nti teyitamu masasi aleese akasattiro mu bitongole by'ebyokwerinda.

Boofiisa abawerako babatadde ku nninga okunnyonnyola engeri emmotoka eno gye yagiyingizibwamu eggwanga nga tebategedde bigikwatako.

Akasattiro kano kazingiddemu n'ebitongole bya Gavumenti ebirala naddala ekitongole ky'emisolo ekya Uganda Revenue Authority (URA) abakkiriza obukadde obukunukkiriza 89 ez'omusolo emmotoka eno gwe yasasula ne bagiwa n'ennamba.

Akasattiro kano kaatandise amangu ddala nga Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) afulumizza ebifaananyi ng'ali ku mmotoka eno Toyota V8 ng'ayozaayoza abawagizi be abeekozeemu omulimu ne basonda ensimbi ezaaguze emmotoka eno gye yayogeddeko nti teyitamu masasi.

Ddereeva W'atuula Bwe Wafaanana.

Mu bigambo Kyagulanyi bye yatadde ku mikutu gye egya yintaneti yagambye nti, alina essanyu kubanga ekyatandika ng'ekirooto nga balowooza tekiisoboke abawagizi be baakituukirizza bwe bamugulidde emmotoka etayitamu masasi.

Yagambye nti baasooka kumugulira ‘jaketi' etayitamu masasi era oluvannyuma ne bamugulira emmotoka.

Ensonda zaategeezezza nti akasattiro ak'amaanyi kali mu kitongole ekiketta munda mu ggwanga ekya ISO ne poliisi y'ensi yonna (Interpol - Uganda) be bagamba nti baalina okumanya ebikwata ku mmotoka eno mu bujjuvu nga tennaba kuyingira ggwanga, kyokka ttiimu ya Kyagulanyi n'ebakuba ddolera n'eyisaawo emmotoka.

Kigambibwa nti abamu ku boofiisa abaakunyiziddwa baategeezezza bakama baabwe nti babuusabuusa nti emmotoka eno teyitamu masasi kubanga eba kuba ng'egwa mu ttuluba eryo nti ekyo bandibadde bakiraba mangu ne batagikkiriza kuyitawo.

Boofiisa abamu nti baatuuse n'okunnyonnyola nti emmotoka eno bw'eba teyitamu masasi, kyandiba nga baagiyingiza mu ggwanga ng'ebigiziyiza okuyitamu amasasi tebannabiteekamu, ne bagiwerekeza omukugu n'abiteeramu wano mu Kampala.

Wabula era na kino kyalese ebibuuzo nga boofiisa babatadde ku nninga okunnyonnyola  ebyassibwa mu mmotoka we byayita nga tebamanyi ne biyingira eggwanga.
Obunkenke bwe bumu buli ne mu kitongole kya URA ekyasolooza omusolo ku mmotoka eno ne kigiwa n'ennamba UBJ 667F.

Ensonda mu URA zaategeezezza nti, abakungu basatu abali mu ttabi erivunaanyizibwa ku by'amaguzi ebiyingira n'okufuluma eggwanga (customs) be baasinze okuteekebwa ku nninga. Abaateekeddwa ku nninga bakolera wansi wa Abel Kagumire akulira eby'okuyingiza n'okufulumya ebyamaguzi.

Omwogezi wa URA, Ian Rumanyika yakakasizza nti olukiiko olwabaddewo n'agamba nti, eby'emmotoka ya Kyagulanyi babimanyiiko era baatandise okunoonyereza ekituufu ekyabaddewo.

Abantu Ku Mmotoka Ya Bobi.

Bwe yabuuziddwa ku ky'abakungu abasatu abaabadde bagambibwa nti bazziddwa ku bbali olw'ensonga z'emmotoka eno, Rumanyika yagambye nti, ssi kituufu era n'agattako nti, okunoonyereza kukyali kwa munda era tebasobola kubaako kinene kye bafulumya eri ggwanga okutuusa nga bamalirizza.

ENGERI MMOTOKA GYE YAYINGIDDE EGGWANGA
Ensonda zaategeezezza nti ku nsonga y'emmotoka ya Bobi, omukungu Kagumire yawandiikidde akulira URA John Musinguzi Rujoki ng'annyonnyola engeri emmotoka eno gye yaweebwa ennamba.

Yawandiise ku Mmande nga February 22, 2021 n'annyonnyola nti emmotoka yayingizibwa munnansi wa Kenya, Fauz Khalid nga November 2, 2020.

Ensonda zaategeezezza nti emmotoka yayita ku nsalo ya Uganda ne Kenya era yajjira ku ttaka ng'eriko nnamba za Kenya, KCY 550X era nnamba ya "Logbook" y'emmotoka ng'eri K3323207K era Fauz yasooka kusasula omusolo gw'okugivugira ku nguudo za Uganda. Yasasula omusolo gwa 88,612,027.

Kigambibwa nti aba URA beebuuza ku ba Interpol era nga January 6, 2021 ne baweereza ebbaluwa eraga nti emmotoka terina buzibu era URA n'ekolera ku bbaluwa eno okukkiriza empapula ezaaweebwayo Fauz. Empapula zaakolwako nga January 8, 2021 era ne ziyisibwa nga January 12, 2021.

Amangu ddala nga Fauz amaze okufuna empapula ezirambika obwannannyini bw'emmotoka eno era ng'afunye n'ennamba yaayo, yateekayo empapula endala ezikyusa obwannannyini, ng'emmotoka eva mu mannya ga Fauz Khalid ng'edda mu mannya ga Robert Kyagulanyi Ssentamu.

Okusaba kuno nakwo kwakkirizibwa nga February 18, 2021 era emmotoka n'etwalibwa ewa Kyagulanyi e Magere ku lw'e Gayaaza era n'assaako obubaka obuyozaayoza abantu ku Ssande nga February 21, 2021.

Okuva ebikwata ku mmotoka ya Bobi Wine lwe byatandise okusaasaana ku mikutu gya yintaneeti n'emikutu gy'amawulire, abakulira ebitongole byebyokwerinda kigambibwa nti, batuula bufoofofo.

Okufaanaganako ne URA, nabo baatuuzizza enkiiko okuzuula ekituufu ku mmotoka ya Bobi n'engeri gye yayingidde eggwanga.

Ensonda zigamba nti, abakulira ebitongole byebyokwerinda bateereddwa ku nninga bannyonnyole omulimu gwe baabadde bakola mmotoka okuyingira eggwanga n'etuuka mu mikono gya Kyagulanyi nga tewali ategedde.

Ensonda zigamba nti, olukiiko lw'abakulira ebitongole by'ebyokwerinda olwatudde ku ntandikwa ya wiiki, lwanenyezza nnyo ekitongole kya ISO, ekikulemberwa Lt. Col. Charles Oluka olw'obutakola bulungi mulimu gwakyo ku mmotoka eno eyogeza abantu obwama.

Ensonda ezaategedde ku lukiiko luno zaategeezezza  nti, ne UPDF ng'evunaanyizibwa ku kukuuma ensalo za Uganda nayo yanenyezeddwa obutakola kimala, wabula omwogezi wa UPDF, Brig. Flavia Byekwaso bwe yatuukiriddwa yagambye nti, ensonga z'eby'amaguzi ebiyingira eggwanga aba URA be bazivunaanyizibwako. Lt. Col. Charles Oluka teyasobose kufunika kunnyonnyola ku nsonga zino.

Emmotoka Gye Baatonedde Bobi Wine

KALIISOLIISO AVUDDEYO KU MMOTOKA YA BOBI
Eggulo, ofiisi ya Kaliisoliiso wa Gavumenti yasabye Bobi Wine okuvaayo ayanjule amakubo ge yayiseemu okufuna emmotoka eno.

Dayirekita akwasisa eby'empisa mu ofiisi ya Kaliisoliiso Annet Atwine yannyonyode nti Bobi Wine nga omukulembeze (akyali mubaka wa Palamenti okutuuka mu May 2021) ateekedwa okwanjula ebyobugagga by'alina nga mu mbeera eno baagala okumanya emmotoka eno eyogeza abantu obwama engeri gye yagifunye era bwe kiba nga kyamuweereddwa ng'ekirabo, nakyo akirage mu buwandiike era alage n'ekiti mwe baagimuweeredde.

Atwine yannyonyode nti okusinziira ku mateeka abakulembeze bateekedwa okwanjula ebyobugagga byabwe eri offiisi ya Kaliisoliiso w'eggwanga ate era etteeka ly'erimu liragira omukulembeze okwanjula ekirabo kyonna ky'abeera aweeredwa ekiri waggulu w'emitwalo 10 eri ofiisi eno nga mu kino etteeka lino likwata Bobi Wine emirundi ebiri ng'omukulembeze w'ekibiina kya NUP so nga ate era mubaka wa Palamenti owa Kyaddondo East.

Bobi Wine aweeredwa okutuusa nga 31 March, 2021 okubeera ng'amaze okwanjulayo emmotoka eno nga singa kino takikole etteeka liba limukwata era ayinza okuvunaanibwa.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Aba NRM e Wakiso baagala Mu...

ABA NRM mu Wakiso basabye Pulezidenti Museveni alung’amye ababaka nga balonda Sipiika wa Palamenti. Baagambye nti...

Abazinyi nga basanyusa abantu.

Kibadde kijobi nga Fr. Kyak...

EMBUUTU zibuutikidde ekifo ekisanyukirwamu ekya John Bosco Ssologgumba e Lukaya mu Kalungu. Zino zipangisiddwa...

Bannyabo

▶️ BANNYABO:Lwaki abazadde ...

▶️ BANNYABO:Lwaki abazadde batugobya abaami baffe?

Akeezimbira

▶️ AKEEZIMBIRA; Enkokoto en...

▶️ AKEEZIMBIRA; Enkokoto entuufu gy'osaanidde okuyiwa ku kizimbe.

Bannyabo; Nakazinga ng'annyonnyola

▶️ BANNYABO; Abazadde bwe b...

▶️ BANNYABO; Abazadde bwe bakugaana omwami weeyisa otya?