TOP
  • Home
  • News
  • ▶️ Ebya Bobi okuva mu musango byongedde okuwanvuwa

▶️ Ebya Bobi okuva mu musango byongedde okuwanvuwa

Added 25th February 2021

Kasule Lumumba (ku kkono) Sseggona ne Abdallah Kiwanuka (ku ddyo) balooya ba NUP.

Kasule Lumumba (ku kkono) Sseggona ne Abdallah Kiwanuka (ku ddyo) balooya ba NUP.

KKOOTI y'oku Ntikko esanze obulippo bw'ekkirizza okusaba kwa Robert Kyagulanyi okuggyayo omusango gw'okusazaamu ebyava mu kalulu k'okulonda Pulezidenti.

Bannamateeka ba Kyagulanyi abaakulembeddwa Medard Sseggona olwesimbye mu kkooti eggulo, ne bategeeza Ssaabalamuzi Alfonse Owinyi Dollo nti omuntu waabwe abawadde ebiragiro era bazze okusaba kkooti baggyeyo omusango. Ssaabalamuzi olwamaze okukakasa nti, enjuyi zonna eziri mu musango

bamaze okuziwa empapula n'alagira Sseggona okubikkula ebitabo asome etteeka. Yasoose kubajjukiza nti, bataddeyo okusaba kuno nga beesigama ku nnyingo 61 mu tteeka erifuga okulonda Pulezidenti wa Uganda.

Ssaabalamuzi Dollo

Kyokka n'ajuliza amateeka amalala agagobererwa okuggyayo omusango mu kkooti. Yalagidde Sseggona asomere kkooti ennyingo nnamba 20 egamba nti, okuggyayo omusango osooka kutegeeza era n'osaba kkooti, olwo omuwandiisi wa kkooti, okusaba n'akutimba mu kkooti. Okusaba kuno ne kufulumizibwa mu kyapa kya Gavumenti.

Yamujjukizza nti nga Kyagulanyi bwe yakubye ekirayiro okuggyayo omusango,ne looya we alina okukuba ekirayiro okukakasa nti tewaabaddewo kkobaane nga baggyayo omusango okubeerako kye bagufunamu. Kyokka ebyo oludda lwa Kyagulanyi terwabikoze.

Akalippo akalala kali mu tteeka erifuga okulondebwa kwa Pulezidenti mu nnyingo 61. Ligamba nti omusango tegujja kuggyibwa mu kkooti okuggyako ng'ekkirizza. Ekitegeeza nti mu mateeka omusango gwa Kyagulanyi gukyaliwo okutuusa nga kkooti ekkirizza.

Munnamateeka Kawanga

Omuntu omulala yenna eyavuganya mu kalulu ka Pulezidenti (nga tali mu musango) n'avuganya n'oyo aggyeyo omusango, oyo atagubaddeemu asobola okusaba n'agweddiza n'aguwoza. Okugeza Katumba oba Joseph Kabuleeta asobola okweddiza omusango gwa Kyagulanyi.

Kyokka ne bwe gumusinga n'abaako ensimbi z'alina okuliyirira be yawawaabira olwo Kyagulanyi y'alina okusasula wadde yabivaamu.

BALOOYA BYE BAGAMBA
Peter Walubiri yagambye nti ekya Kyagulanyi okuggyayo omusango kigenda kusinga kukosa Museveni kubanga y'abadde ayagala omusango gugende mu maaso, abalamuzi baguwulire oluvannyuma bagugobe.

Ekyo kitegeeza kkooti kuggumiza buwanguzi bwa Museveni era tebaayo aba abuwakanya. Bobi bw'aggyayo omusango kino aba akimulemesezza era Bobi ne banne ba ddembe okwogera nga Museveni bwe yawangula mu bukyamu.

Walubiri awakanya abagamba nti, Bobi okuggyayo omusango kigenda kutandikawo enkola enkyamu (precedent) mu Uganda mu misango gy'okuwakanya obuwanguzi bwapulezidenti.

Agamba nti omuntu okuloopa omusango abeera ataddemu nnyo ssente n'okunoonyereza nga okuvaayo n'ategeeza nti omusango aguggyeyo tamala gakikola okuggyako nga waliwo ensonga ez'amaanyi ezimuwalirizza.

Emisango mingi giroopebwa, ne giggyibwayo era sirabangangako mulamuzi alemesa yawaaba musango kuguggyayo. Abalamuzi bwe bagaana Bobi kijja kwewuunyisa nnyo. Okwesiba ku muntu nga ye amaze okulaga nti ekintu kyo akivuddemu obeera omala biseera.

Abalamuzi ne bwe banaasalawo omusango ne baguwulira ng'oludda lwa Bobi teruliiwo bajja kuba bamala biseera.

Bakkirize nti omusango tegukyaliwo ekintu bakiggale. John Kawanga; Ekigenda mu maaso mu kkooti mu musango gwa Bobi kipya nnyo eri abalamuzi ne bannamateeka abaguwoza kubanga kibadde tekirabwangako era abalamuzi kyonna kye banaasalawo kigenda kutandikawo essuula empya mu misango gy'okuwakanya obuwanguzi bwa Pulezidenti.

Kyagulanyi

Tewali tteeka Bobi lyamenye okusalawo okuggyayo omusango era abalamuzi bandibadde bamuleke ne baggalawo fayiro kubanga omusango ye yagwereetera ku lulwe.

Rachael Costa Kintu; Bobi bwe yali tannaleeta musango mu kkooti, Gavumenti yali yeebuuza ki ky'azzaako. Bwe yaggulawo omusango emitima ne gibakka kati bw'asazeewo okuguggyayo, emitima gizzeemu okubeewanika kubanga tebamanyi ky'azzaako.

Kkooti bw'eba tekkiriziganya na Bobi kuggyayo musango basobola okumugaana naye abalamuzi balina okukimanya nti obwenkanya tebakola bukole naye bulina okulabibwa. Abantu tebajja kukkiriza nsala ya kkooti era kigenda kwonoona ekifaananyi n'ekitiibwa kya kkooti okulemera ku musango ogutali gwabwe.

EBYABADDE KU KKOOTI
Kkooti yabaddemu abalamuzi mwenda okuli Owiny Dollo, Stella Arach Amoko, Mike Chibita, Paul Mugamba, Ezekiel Muhanguzi, Percy Night Tuhaise, Rubby Opio Aweri, Faith Mwondha ne Dr Esther Kisaakye.

Attorney General yategeezezza abalamuzi nti yabadde afunye okusaba kwa Kyagulanyi okuggyayo omusango.

Ssaabalamuzi yawadde ennaku bbiri Olwaleero n'ekya Olwokutaano okulangiramu omusango mu kyapa kya Gavumenti. Bwe kinaakolebwa abali mu musango bajja kuyitibwa ku Mmande babategeeze ekiddako.

Yalagidde Ssegona okuteekayo ekirayiro kye mu kkooti ku Lwokusatu olujja.
Kkooti bwe yayabuse, Ssaabawandiisi wa NRM, Justine Kasule Lumumba yeemulugunyizza nti bannamateeka ba Kyagulanyi bali mu kumalira kkooti biseera nga buli kiseera bateekawo obusongasonga.

Sseggona yamwanukudde nti: Nze siwawaabiranga ku Lumumba era siwawaabira kibiina kya NRM, Omukyala oyo alabika tali ‘bbize' kubanga nzi sinnaba kumuyita kujja mu kkooti era simwetaaga.

"Mu kkooti nnawawaabira eyabba obulu era bw'owerekera omubbi teweemulugunya", Sseggona bwe yaggumizza.



 ENSONGA ZA KYAGULANYI
Yawadde ensonga 10, kyokka ezisinga obukulu agamba nti tasuubira kufuna bwenkanya mu kkooti kubanga bukya awaaba musango, Ssaabalamuzi asisinkanye Museveni enfunda eziwera n'abaako ebigambo by'ayogera naye okuli okubaako by'amusaba bissibwe mu bajeti eddako ku lw'ekitongole ekiramuzi. Kyokka ng'amanyi nti Museveni ali mu kkooti era ayinza obutaba Pulezidenti.

Ekirala ye kkooti okugaana okukkiriza obujuli bwa Kyagulanyi bw'abantu 200 ng'ate obujuliz bwe bulina okwesigamwako mu kusala omusango.

Kyagulanyi era teyeesiga abalamuzi basatu okuli Ssaabalamuzi (yali looya wa Museveni), Mike Chibita (yali akola mu ofiisi ya Pulezidenti) ne Ezekiel Muhanguzi (muganda wa minisita Gen. Elly Tumwine ate nga muwagizi wa Pulezidenti Museveni). Abeekengera okwekubiira.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...