TOP
  • Home
  • News
  • Omugagga aguze ettaka ly'Eklezia abakristu ne batabuka e Gaba

Omugagga aguze ettaka ly'Eklezia abakristu ne batabuka e Gaba

Added 28th February 2021

Ettaka eryogerwako baalissaako n’akapande akagaana abantu okuligula. Mu katono ye Msgr. Kasibante.

Ettaka eryogerwako baalissaako n’akapande akagaana abantu okuligula. Mu katono ye Msgr. Kasibante.

ABAKRISTU b'ekigo kya St. Charles Lwanga e Gaba bali mu kusoberwa olw'engeri ettaka ly'ekigo eriwezaako yiika bbiri gye lyaguzibwamu omugagga nga tebategedde.

Bagamba nti ekitongole ky'ettaka mu ssaza kyatunda ettaka lino mu ngeri eyabeewuunyisa era bagamba nti baalabira awo ng'abantu abeeyanjula nti bavudde mu ofiisi y'omugagga Omar Mandera baleese konteyina okugiteeka ku ttaka eryo.

Abakristu bagamba nti bwe baabuuza Bwanamukulu w'ekigo kino, Fr. Charles Ssengendo ku nsonga ezo n'abategeeza nti tazimanyiiko, olwo nabo kwe kusimba ekkuuli era baategeezezza nti beetegefu okusonda ensimbi zonna omugagga ze yawa mu ofiisi y'ettaka okumuwa liizi y'ettaka eryo lisobole okudda mu mikono gya Klezia.

Ensonda mu bakulembeze b'Abakristu e Gaba zategeezezza nti baalabira awo ng'omugagga aleese ebikondo n'akatimba okusiba ku ttaka lino, ekyawaliririza Abakristu okubikwata ne babitwala ku poliisi e Kabalagala.

Ensonda zigamba nti Abakristu okutandika okwekengera kyaddirira okusengulwa kw'omukadde Stephania Mbalu eyali Omusakristia mu Klezia gwe yali yawa ekitundu ku ttaka lyayo okubeerawo mu myaka gya 1960.

Ono oluvannyuma lw'okubeerako ekiseera, n'omwami we bazaaliraako abaana
ne bazzukuza n'okuzzukuza. Eklezia yatuuka ekiseera ng'eyagala okukozesa ettaka lyayo wabula abaana n'abazzukulu ne batwala Eklezia mu kkooti.

Omusango ogwasooka Eklezia yaguwangula wabula ne bajulira. Balumiriza nti gwali tegunnaggwa bulungi bagenda okulaba ng'omukadde asenguka nga n'ennyumba agikoonawo nga tewali muntu ku kigo ky'e Ggaba amusindiikirizza.

Emmanuel Kayita Musoke

Wano Abakristu baatandika okwebuuza amaanyi agatutte omukadde ono gye gaava
ate nga yali yasimba nnakakongo.

Fulugensio Kintu, Ssabakristu w'ekigo kino agamba nti oluvannyuma lw'omugagga okutandika okuleeta ebintu ku ttaka lino baatandika okunoonyereza okuzuula engeri gye yalifunamu.

Bwe baatuuka mu ofiisi z'ekitongole ky'ebyettaka e Lubaga baakizuula nti Ekleziya yali yaguza Mandela ettaka e Nsambya wabula n'asigala ng'abanja Decimoolo 32.

Abakulu mu kitongole ky'ebyettaka ne basalawo okuzimuwa ku ttaka ly'e Ggaba wabula ate ne bamwongeza n'okumwongeza ne bamuwa ekitundu kya yiika ezikunukkiriza mu bbiri.

Ensonda zigamba nti baazuula nga waliwo ssente akawumbi 1.6 ezagenda ku akawunta y'essaza nga ziva ewa Mandela era nga zino ze bateebereza okuba nga ze yagulamu ettaka lino.

OLUTALO OKULINUNULA
Kintu agamba nti ye nga Ssaabakristu n'olukiiko olufuzi baatuula ne babuulira Abakristu ekyali kigenda mu maaso. Abakristu baasalawo nti balina obusobozi okuddiza Mandela ssente ze ave ku ttaka lyabwe era ne batikka abakulembeze omugugu ogw'okutuula n'abakulu e Lubaga babategeeze we bayimiridde.

Kintu agamba nti enkiiko baazituuza enfunda eziwera era ezimu ku zo zetabwamu omuwandiisi omukulu ow'essaza Fr. Pius Male, Viika genero wa Kampala
Msgr. Charles Kasibante n'abalala kyokka nga bakoma ku kyakubasuubiza
ng'ensonga yaabwe bwe bagenda okugikolako.

Konteyina Eyateereddwa Ku Ttaka Ly'eklezia Y'e Gaba.

Abakristu baategeezezza nti baali bafunye essuubi bwe baalaba ku Ssaabasumba Dr. Cyprian Kizito Lwanga ng'alambula ettaka lino, wabula akasiriikiriro akaliwo
mu kiseera kino kabeeraliikiriza.

Kintu agamba nti singa Ssaabasumba avaayo n'abaako ky'abagamba ku nsonga y'ettaka
lino beetegefu okulyesonyiwa naye ebigenda mu maaso biraga nti waliwo emizannyo egizanyibwa abantu abamu ettaka lino lisobole okugenda mu ngeri ey'amancoolo.

ABAKRISTU BASOMA NOVENA OKUNUNULA ETTAKA LYABWE
Oluvannyuma lw'Abakristu okukizuula nti ensonga z'okununula ettaka zikalubye, abakulembera ekigo baateekawo okusoma Novena omwaka oguwedde era
balowooza nti kino kye kikyasibye omugagga Mandela okubaako ky'akolera ku ttaka lino.

Abakristu be twayogedde nabo baavumiridde ekitongole ky'ettaka mu ssaza olw'okutunda ettaka ly'ekigo nga tekimaze kwebuuza ku Bwanamukulu n'olukiiko
olufuzi kubanga nabo baalina enteekateeka ezikulaakulanya ekifo kino.

Wabula Bwannamukulu Fr. Ssengendo bwe yatuukiriddwa ku nsonga eno yagaanye
okubaako ky'ayogera n'ategeeza nga bw'atuula ku lukiiko olufuzi olw'essaza.

TETUFUNANGA KWEMULUGUNYA KWONNA KU TTAKA LY'E GGABA
- ABAKULEMBERA EKITONGOLE KY'ETTAKA
Fr. Joseph Ssenkaali akulira enzirukanya y'emirimu mu kitongole ky'essaza
ekivunaanyizibwa ku ttaka yatangazizza nti ettaka ly'e Ggaba likyali ly'Ekleziya
era tewali yali alibbye.

Wabula Ekleziya yaligabako liizi okusobola okulikuuma nga lirina ekirikolebwako
n'ekigendererwa eky'okulitaasa ku babbi b'ettaka.

Yeegaanyi okufuna okwemulugunya kwonna okuva ku Kigo ky'e Ggaba ku nsonga
eno n'agamba nti ebikolebwa ekitongole ky'ettaka byonna Bwanamukulu w'ekifo abeera abimanyiiko.

Wabula kino ab'e Ggaba bakiwakanya nga bagamba nti Bwanamukulu waabwe teyeebuuzibwako era babadde batambulira wamu mu lutalo lw'okulinunula. Yeeyamye okugendayo annyonnyole Abakristu ensonga nga bwe ziri singa bamuwandiikira nga bayita mu Bwanamukulu waabwe.

Paul Zziwa

Eky'obuteebuuza ku Bakristu nga baligabako liizi yagambye nti tebasobola kwebuuza ku buli Mukristu nga bakola ebintu nga bino n'agamba nti kasita beebuuza ku bakulembeze b'ekigo baba babasuubira okunnyonnyola Abakristu be bakulembera.

Yayongedde n'annyonnyola nti ettaka ly'e Ggaba lyaliko enkaayana nga waliwo abantu abaali baalisengako era Ekleziya n'egulumba nabo paka lwe baatuuka ku nzikiriziganya
ne bavaawo.

Abakristu okusinziira ku Fr. Ssenkaali bandisoose kwebuuza abantu abaali baalisengako gye baalaga nga tebannaba kulwanyisa abapya abazze. "Bw'oba tewamanya abaaliko ngeri gye baavaako lwaki obeera obuuza abapya engeri gye bazze," Ssenkaali
bwe yeebuuzizza.

Yagambye nti Ekleziya erina emirimu mingi gyekola naye nga ssente erina ntono, ng'okugaba liizi ku ttaka kigiyamba okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwayo mu bintu ebitali bimu n'okufuna ssente ezigiyamba okununula ettaka ly'Ekleziya eddala nga bagula abasenze abaliriko oba okuwaaba emisango mu kkooti n'okulabirira ebigo n'abasosodooti.

Yagumizza Abakristu baleme kutya nti ettaka ly'Ekleziya lyatundibwa n'agamba nti baaligabako bugabi liizi era likyali mu mannya g'Ekleziya.

Ye Paul Zziwa, omumyuka wa Kayita yakakasizza nti ensonga z'e Ggaba okwemulugunya yaziwulirako naye talina kya maanyi ky'asobola kuzoogerako n'atusindika ewa Mukamaawe Kayita.

Yannyonnyodde nti okugaba liizi ku ttaka lye limu ku makubo mwe bayita kati okukuuma ettaka ly'Ekleziya nga teribbiddwa era Abakristu tebalina kukyeraliikirira.

Yagambye nti eddala batandise okulisimbako emiti okusobola okulikuuma kubanga ababbi bayitiridde.

ENSONGA Z'E GGABA TUZIMANYi - MSGR KASIBANTE
Omumyuka wa Ssaabasumba asooka Msgr. Charles Kasibante yategeezezza nti bo ng'abakulembeze ab'oku ntikko ensonga eno bagimanyiiko.

Oluvannyuma lw'okuwa Mandela liizi ku ttaka lino Abakristu beesitula nga bakulembeddwaamu Bwanamukulu ne bakola okwemulugunya era enkiiko
ne zituuzibwa.

Agamba nti yaleka enteeseganya zirina wezituuse ku ngeri ettaka gye liyinza okuddira
Ggaba naye nga tezinaba kusalibwawo kya nkomeredde n'agenda mu luwummula
oluwanvuko. Bukyanga avaayo abadde taddangamu kuwuliza ku nsonga ezo era
ng'alowooza nti zaakolwako.

Yeeyamye okutuukirira abakulu mu kitongole ky'ettaka bamuwe ekigenda mu maaso
ku nsonga eno. Yagumizza ab'e Ggaba nti ensonga zaabwe agenda kuzirondoola era nga bwe bali abeetegefu okuliyirira Mandela asuubira nti ensonga zijja kuggwa bulungi.

Yayongeddeko nti waliwo emitendera egyabuukibwa nga ettaka lino terinnatundibwa
era nga kino kye kireese emberebezi. Mu nkola entuufu nga Land Board tennaba kubaako kyekola erina kusooka kwebuuza ku Bwanamukulu w'ekifo kyagamba nti kirabika tekyakolebwa.

Ate ye omugagga Omar Mandela gwe balumiriza okugula ettaka lino bwe twamutuukiridde yagaanyi okubaako kyayogera ku nsonga eno.

ETTAKA LY'E KLEZIA BALIGABAKO LIIZI

Emmanuel Musoke Kayita akulira ekitongole ky'ettaka mu ssaza yagambye nti ensonga z'ettaka ly'e Ggaba ye taziwulirangako era talina ky'azimanyiiko.

Yayongeddeko nti ab'e Ggaba bamanyi bulungi ofiisi ye weeri naye tafunangako kwemulugunya kuva gye bali ku nsonga eno, era ye mupya mu ofiisi ebisinga byaliwo nga tannajja.

Yatangaazizza nti ettaka ly'ekleziya bwe ligabwako liizi liba teribbiddwa, wabula waliwo ettaka ly'ekleziya lingi abantu lye bazze babba nga bakozesa eryanyi era emisango mingi egiri mu kkooti naye okusoomoozebwa okuliwo kwe kuba nga kkooti zirwawo okusala emisango gy'ettaka ekiremesezza Ekleziya okulikolerako enkulaakulana lisobole okuganyula Abakristu.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abasomesa nga baweebwa ebigezo by'amasomero gaabwe.

Enkuba teremesezza bigezo k...

Wadde ng'enkuba yakedde kutonnya mu bitundu by'omu disitulikiti y'e Kalungu teyalemesezza bakulu b'amasomero kunona...

Omuzibizi wa Arsenal eyafun...

Tierney yafunye obuvune mu vviivi era asuubirwa okumala ebbanga eriwerako nga tazannya wabula Arteta agamba nti...

Bassita ba Leicester bameny...

TTIIMU ya Leicester eraze lwaki abazannyi baayo basatu baayo basatu tebaazannye mupiira gwa Premier, West Ham bwe...

Wabaddewo vvaawompiteewo n...

WABADDEWO vvaawompiteewo ku kisaawe kya MTN Arena e Lugogo ng'abakungu ba FUFA balondesa abakulembeze b'omupiira...

Abamu ku bayizi be basabidde.

Abayizi ba S.6 babuuliriddw...

ABAYIZI ba S6 babuuliriddwa okutwala ebigezo eby'akamalirizo bye batandika enkya ng'ensonga kuba kati batandise...