TOP
  • Home
  • News
  • ▶️ Bazadde b'abaakwatibwa batendedde Bobi ennaku gye bayitamu

▶️ Bazadde b'abaakwatibwa batendedde Bobi ennaku gye bayitamu

Added 28th February 2021

Kyagulanyi (wakati), Ssaabawandiisi wa NUP Lubongoya ne Nambooze nga bakutte ebifaananyi by’abaakwatibwa.

Kyagulanyi (wakati), Ssaabawandiisi wa NUP Lubongoya ne Nambooze nga bakutte ebifaananyi by’abaakwatibwa.

BAZADDE b'abavubuka abaakwatibwa bakaabizza abantu nga batottola ennaku gye bayitamu okuva abaana baabwe lwe baakwatibwa.

Mu baayungudde abantu amaziga mwabaddemu n'abakyala abalina abaana wabula ng'abaami baabwe baakwatibwa nga kati tebamanyi mbeera mwe bali.

Christine Naluze eyavudde ku Mawanga road e Mulago yakaabizza abantu ng'abagamba nti abaserikale bajjira mu mmotoka bbiri; Mark II ne double Cabin ne bakwata bba Ismail Kigozi bwe yali ababuuza gye bamutwala omujaasi eyali asigadde wabweru ng'akutte emmundu n'amusindika n'atomera ekimu ku bitanda ebyali
awo ku bbajjiro.

   Mukyala Wa Nubian Lee N'abaana Baabwe.

Kigozi baamukwata December 1, 2020 n'abavubuka abalala babiri; Obed Mugume ne Ivan Bisaso era ng'ono mukyala we alina omwana omuwere era nga kati takyalina buyambi.

Eyasoose okukaabya abantu yabadde muwala wa Nubian Li, Meha Zina 10: ‘Ddadi' wange mumanyi bulungi era talina mmundu naye alina muzindaalo ayimba buyimbi. Abaamusiba bwe babeera n'abaana baabwe naffe twagala okubeera ne taata waffe ng'abalala.

Gloria Mutoni mukyala wa Nubian Li yagambye nti yeewuunya ebigenda mu maaso kubanga bba yakwatibwa December 30, 2020 kyokka omusango gw'emmundu gwe baabateekako balaga nti baaguzza January 3, 2021.Solome Nakibuuka yavudde Lukuli Makindye ng'alaajana lwa batabanibe babiri: Denis Matovu ne Richard Sonko abaakwatibwa okuva e Lukuli naye taddangamu
kubalaba okuva December 8.

Jane Nantumbwe nyina wa Eddie Ssebuufu (Eddie Mutwe) yazze ne muwala wa Eddie Mutwe omukulu kyokka yategeezezza nti waliyo n'abaana abalala.  Yeebazizza aba NUP olw'okubalabirira.

Micheal Bony: Nze bankwata lwa kukanika mmotoka ya Kyagulanyi nga bambuuza wa Kyagulanyi gye yantendekera era yanteekamu ssente mmeka.

Banteeka ku loole ne banzigyako ne banteeka mu kamotoka ka Nalufeenya ne banvuga okuntwala e Kisijjagirwa. Bansibira mu kasenge kange ne bankuba nafuna obuzibu ku nsigo kati ntonnya.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssengoozi ng'alaga tayiro z'akola.

Okukola tayiro okuva mu bis...

“ Nze nabonaabona n'okunoonya emirimu nga n'akamala yunivasitte, kyokka olw’okuba nali nfunye obukugu mu kukola...

Christopher Kasozi ng'awa ebyennyanja emmere.

Abalunzi b'eby'ennyanja bal...

ABALUNZI b’ebyennyanja ku mwalo gw’e Masese e Jinja abeegattira mu kibiina kya ‘’Masese Cage Fish Farmers Co-operative...

Looya wa Ssempala yeekandaz...

LOOYA wa Isaac Ssempala, bba w’omubaka Naggayi Ssempala yeekandazze n’abooluganda ne bava mu kkooti looya bw’alemereddwa...

KCCA ekutte abatundira ku n...

ABASERIKALE ba KCCA bakoze ekikwekweto  mwe bakwatidde abatembeeyi n’abatundira ebintu ku nguudo n’okubowa emu...

Omulangira Ssimbwa

Enfa y'Omulangira Ssimbwa e...

OKUFA kw’Omulangira Arnold Ssimbwa Ssekamanya kuleesewo ebibuuzo nkumu ebirese nga biyuzizzayuzizza mu Balangira...