TOP
  • Home
  • News
  • Minisita Kiyimba akubirizza abayizi ku tekinologiya

Minisita Kiyimba akubirizza abayizi ku tekinologiya

Added 1st March 2021

Minisita Kiyimba, Noah Kiyimba ng’akwasa omuyizi Andrew Maseruka eyasinze banne ku ttendekero lya Universal Institute Of Graphics & Technology Ku Sharing Hall e Nsambya.

Minisita Kiyimba, Noah Kiyimba ng’akwasa omuyizi Andrew Maseruka eyasinze banne ku ttendekero lya Universal Institute Of Graphics & Technology Ku Sharing Hall e Nsambya.

ABAYIZI 110 batikkiddwa mu masomo ga Dipuloma ne satifikeeti mu ttendekero lya Universal Institute of Graphics & Technology mu Kampala ne babakubiriza okwetandikirawo emirimu.

Bino Minisita w'amawulire e Mmengo era nga y'avunaanyizibwa ku bagenyi, Noah Kiyimba yabyogeredde ku mukolo ogwategekeddwa ku Sharing Hall e Nsambya mu Kampala ku Lwokutaano n'agamba nti abayizi okwettanira tekinologiya kyakukyusa ensi.

"Amagezi ge mbawa nga bwe mumalirizza emisomo, tekibagaana kwekolamu omulimu ne mutuula okulaba kiki kye musobola okukola nga mukozesa obukugu buno bwe mufunye okusobola okwahhanga ebizibu by'ensi eno ate era mwewale n'okulya enguzi," Minisita Kiyimba bwe yawabudde.

Kiyimba yeebazizza n'abazadde abeewaddeyo mu kiseera kino eky'ebyenfuna ebitaaguse ne baweerera abaana era n'asuubiza nti Obwakabaka bwakugenda mu maaso n'okukolagana n'ettendekero lino lye yeebazizza okuteeka mu nkola ekiragiro kya Kabaka eky'okubangula abaana.

Ye omukulu w'ettendekero lino, Julius Ssonko yategeezezza ng'abayizi b'ettendekero lino, bwe basobodde okuyiiya n'okukola ebintu ebiwerako okuli tekinologiya agenda okuyamba okulondolanga omupiira ku bisaawe naddala okulaga omupiira oba guyingidde mu katimba oba nedda, ekyuma ekinaayamba abalunzi mu kwaluza enkoko wamu n'eddagala eriyitibwa UIGT Ointment erijjanjaba obulumi mu mubiri.

Ssonko yayongedde n'asaba gavumenti okukwatizaako amatendekero g'ebyemikono naddala ng'ekendeeza emisolo ku bintu ebyo ebikozesebwa mu kusomesa kubanga nago gakoseddwa embeera eyaleetebwa obulwadde bwa Corona. Abayizi okuli Andrew Maseruka (eyasinze banne) ne Joseph Jjuuko basiimiddwa olw'okusoma n'okweyisa obulungi okukira ku bannaabwe.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Wabaddewo vvaawompiteewo n...

WABADDEWO vvaawompiteewo ku kisaawe kya MTN Arena e Lugogo ng'abakungu ba FUFA balondesa abakulembeze b'omupiira...

Abamu ku bayizi be basabidde.

Abayizi ba S.6 babuuliriddw...

ABAYIZI ba S6 babuuliriddwa okutwala ebigezo eby'akamalirizo bye batandika enkya ng'ensonga kuba kati batandise...

Fr. Dominic Kagoye  ng'akwasa Kironde (afukamidde wansi ) pikipiki gye baamutonedde,nnyina (mu gomesi) n'abaana be.

Omusomesa eyaziba amaaso ki...

Eyali Omusomesa wa Siniya okubala ne 'Physic's eyaziba amaaso mu ngeri eyewuunyisa ng'ali mu kibiina asomesa n'akubwa...

Museveni n'owa Tanzania bat...

Abakulembeze b'amawanga okuli owa Uganda Yoweri Museveni ne Samia Suluhu Hassan owa Tanzania batadde omukono ku...

Abaami ba Kabaka abaweereddwa eggaali.

Kabaka awadde abaami b'amag...

Ssaabasajja Kabaka asiimye n'awa abaami be abamagombolola 29 agokola essaza lye Buddu entambula. Obuyambi...