TOP
  • Home
  • News
  • Kiki ekyasse munnamateeka w'omu Kampala?

Kiki ekyasse munnamateeka w'omu Kampala?

Added 1st March 2021

Omugenzi Bob Kasango

Omugenzi Bob Kasango

ENFA ya munnamateeka w'omu Kampala, Bob Kasango, erese ebibuuzo mu ba ffamire n'ababadde bamuvunaana okulya ensimbi zaabwe obuwumbi 14.

Kasango yafiiridde mu kkomera e Luzira, gy'abadde okuva mu 2018, oluvannyuma lwa kkooti ewozesa abalyake okumusingisa omusango gw'okubulankanya ssente obuwumbi 14 n'obukadde 400, ezaali ez'okusasula akasiimo k'abakozi abaali bakolera mu bitongole bya gavumenti abawerera ddala 6,340.

Emisango yali yagyegaana wabula kkooti n'ezuula nti yagizza era n'emukaliga emyaka 16, wadde ng'azze alaajana nti alina olumbe olumubala embiriizi ng'asaba bamukkirize atwalibwe emitala w'amayanja ajjanjabibwe naye nga buteerere.

Omwogezi w'amakomera mu ggwanga, Frank Baine, yategeezezza nti Kasango yalumbiddwa ekirwadde ky'omutima era we yafiiridde, baabadde bateekateeka kumutwala mu ddwaaliro e Mulago bamujjanjabe.

Omulambo gwe gwateekeddwa ku kabangali y'amakomera ku ssaawa 7:00 ogw'ekiro ne gutwalibwa e Mulago.

Eggulo, akulira ebyobulamu mu Poliisi, Dr. Moses Byaruhanga yategeezezza nti we zaaweredde essaawa 3:00 ez'oku makya nga bamaze okwekebejja omulambo gw'omugenzi nti kyokka abooluganda lwe baabdde balina okusooka okufuna ebbaluwa okuva mu bakulira ekkomera e Luzira oluvannyuma balyoke bagubakwase.

Waliwo abooluganda b'omugenzi abaasoose okugenda ku ggwanika nga baagala babawe omulambo kyokka ne bategeeza nti baabadde tebasobola kugubawa nga Nnamwandu taliiko.

Kasango, y'omu ku balina emigabo mu kkampuni efulumya amawulire ga "The Independent" ekulirwa Andrew Mwenda, omu ku bannamawulire abakuukuutivu.
Michael Ayebare, agamba nti omugenzi abadde amuyita Kojjaawe, yagambye nti omugenzi abadde musajja mugabi era munnamateeka omugundiivu atali mwangu waakuzzaawo.

Omubaka omukazi owa disitulikiti y'e Kabarole mu Palamenti, Margaret Mugisha Muhanga yayogedde ku Kasango, ng'omu ku bannamateeka abaatiikirivu era omuzadde ng'alese Nnamwandu n'abaana okuli; Samora, Ivana, ne Stefie.

EMISANGO EGYAMUTWAZA E LUZIRA
Mu mwezi gwa May, 2016, omulamuzi wa Kkooti Enkulu Jamson Karemani yalagira Kasango aliyirire Nnaabakyala wa Tooro-Best Kemigisha, ssente obuwumbi busatu n'obukadde obulala 12, oba okusibwa emyaka etaano.

Ssente zino kigambibwa nti zaali zaamuweebwa aba minisitule y'Ebyettaka era nga Nnaabakyala ye yamuwa obuyinza okuzikwata ku lulwe.

Bino okubaawo, Kasango yali alina omusango omulala gw'awerennemba nagwo ogw'okwezza obuwumbi 15 mu obukadde 400, ezaali ziyisiddwa mu kkampuni ye ey'ebyamateeka eyitibwa Marble Law Firm.

Ssente zino kigambibwa nti eyali omuwandiisi ow'enkalakkalira mu minisitule evunaanyizibwa ku bakozi ba Gavumenti (Public Service), Jimmy Lwamafa, ne banne abalala babiri okuli eyali omubalirizi w'ebitabo omukulu, Christopher Obey, ne Stephen Kunsa, eyali omukwanaganya w'ensonga z'akasiimo k'abakozi, be baazisindika ku akawunti ya kkampuni ya Kasango asobole okuziwa kkampuni ya John Matovu, nga bamusiima okubawangulira omusango gavumenti gwe yali ebavunaana ogw'okulwawo okusasula ssente z'akasiimo k'abakozi abawera 6,339.

ABADDE YASABA ATWALIBWE EBWERU AJJANJABWE
Kasango, ng'asinziira mu kkomera e Luzira, yawandiikira eyali minisita w'Ebyamateeka, Kahinda Otafiire ebbaluwa ng'alambulula engeri gye yasibwa awatali musango oba obujulizi bwonna obumuluma.

Ezimu ku nsonga ze yalambika ye y'obutamanya oba okuba n'enkolagana yonna ne Lwamafa, Kusa, ne Obey wadde nga kkooti yakimussaako nti yeekobaana nabo ne babba ssente z'akasiimo k'abakozi.

Nga tannafa, Kasango azze alaajanira abakulu mu kkomera bamuyambe asobole okutwalibwa emitala w'amayanja afune obujjanjabi naye n'ataweebwa mukisa.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abasomesa nga baweebwa ebigezo by'amasomero gaabwe.

Enkuba teremesezza bigezo k...

Wadde ng'enkuba yakedde kutonnya mu bitundu by'omu disitulikiti y'e Kalungu teyalemesezza bakulu b'amasomero kunona...

Omuzibizi wa Arsenal eyafun...

Tierney yafunye obuvune mu vviivi era asuubirwa okumala ebbanga eriwerako nga tazannya wabula Arteta agamba nti...

Bassita ba Leicester bameny...

TTIIMU ya Leicester eraze lwaki abazannyi baayo basatu baayo basatu tebaazannye mupiira gwa Premier, West Ham bwe...

Wabaddewo vvaawompiteewo n...

WABADDEWO vvaawompiteewo ku kisaawe kya MTN Arena e Lugogo ng'abakungu ba FUFA balondesa abakulembeze b'omupiira...

Abamu ku bayizi be basabidde.

Abayizi ba S.6 babuuliriddw...

ABAYIZI ba S6 babuuliriddwa okutwala ebigezo eby'akamalirizo bye batandika enkya ng'ensonga kuba kati batandise...