TOP
  • Home
  • News
  • Abafumbo basangiddwa batemuddwa e Nakaseke

Abafumbo basangiddwa batemuddwa e Nakaseke

Added 1st March 2021

Abatuuze nga batunuulira awaabadde ettemu.

Abatuuze nga batunuulira awaabadde ettemu.

POLIISI y'e Nakaseke enoonyereza engeri abaagalana ku kyalo Magoma mu ggombolola y'e Kikamulo mu disitulikiti y'e Nakaseke gye baasangiddwa nga battiddwa.

Emirambo omuli ogwa Sharif Mbaziira (23) nga muvuzi wa bodaboda e Magoma n'ogwa muganzi we, Juliet Nalwoga (25) abadde alina wooteeri mu Kabuga ke kamu gyazuuliddwa ku makya g'olunaku lwa Ssande.

Omutuuze eyabadde agenze mu kirombe okukuba bulooka ye yasoose okugwa ku mulambo gwa Nalwoga nga guli bukunya gubikkiddwako endagala mu kifo w'akolera oluvannyuma abatuuze ne bagwa ku gwa Mbaziira kinnya na mpindi nga gulengejjera ku muguwa ku muti gw'omugavu.

Ssentebe w'ekyalo Magoma, Bosco Busuulwa yategeezezza nti, abantu bano babadde baakeefuna nga baasoose kumutuukirira ku ssaawa 2:00 ez'ekiro okubatabaganya ng'omukyala alumiriza bba, okumubbako 190,000/- n'akuuma akakamula obutunda era nti baayawukanye tebakkaanyizza era omukyala ne yeewera obutadda waka okutuusa ng'asasuddwa ensimbi ze.

Abatuuze baategeezezza nti abantu bano baludde nga bagugulana okuva omuvubuka lwe yafuna omukazi omulala era kiteeberezebwa nti omusajja yasoose kutugumbula mukyala we naye oluvannnyuma ne yeeyimbamu omuguwa.

Omwogezi wa poliisi mu kitundu kya Savanna, Issa Semwogerere yagambye nti emirambo baagitutte ku ddwaaliro e Nakaseke abakugu bagyekebejje.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abasomesa nga baweebwa ebigezo by'amasomero gaabwe.

Enkuba teremesezza bigezo k...

Wadde ng'enkuba yakedde kutonnya mu bitundu by'omu disitulikiti y'e Kalungu teyalemesezza bakulu b'amasomero kunona...

Omuzibizi wa Arsenal eyafun...

Tierney yafunye obuvune mu vviivi era asuubirwa okumala ebbanga eriwerako nga tazannya wabula Arteta agamba nti...

Bassita ba Leicester bameny...

TTIIMU ya Leicester eraze lwaki abazannyi baayo basatu baayo basatu tebaazannye mupiira gwa Premier, West Ham bwe...

Wabaddewo vvaawompiteewo n...

WABADDEWO vvaawompiteewo ku kisaawe kya MTN Arena e Lugogo ng'abakungu ba FUFA balondesa abakulembeze b'omupiira...

Abamu ku bayizi be basabidde.

Abayizi ba S.6 babuuliriddw...

ABAYIZI ba S6 babuuliriddwa okutwala ebigezo eby'akamalirizo bye batandika enkya ng'ensonga kuba kati batandise...