TOP
  • Home
  • News
  • Abayizi ba S4 batandise leero ebigezo

Abayizi ba S4 batandise leero ebigezo

Added 1st March 2021

Abayizi lwe baababuulidde ku Lwokutaano.

Abayizi lwe baababuulidde ku Lwokutaano.

OLWALEERO abayizi ba S4 lwe batandika okukola ebibuuzo by'akamalirizo bye bagenda okutuula okutuusa nga April 6, 2021.

Abayizi baasoose kubuulirirwa ku Lwokutaano nga February 26, 2021 okwetoloola eggwanga lyonna ne balagibwa engeri y'okweyisaamu nga bakola ebibuuzo.

Ku Madiinah Islamic SS e Katereke Nsangi, akulira essomero lino Haji Ishaq Mbalirwa yategeezzzeza nti balina abayizi abagenda okutuula siniya eyokuna 250. Wadde wabaddewo omuggalo gw'ekirwadde kya ssenyiga omukambwe, naye kyasanga amasomero agawerako ng'ebibiina eby'akamalirizo banaatera okumalayo sirabaasi, ekiseera kino kye babadde basoma okuva mu October omwaka oguwedde
kibayambye okumalayo bye baali bataasoma.

Akuutidde abayizi okukwata obudde, okwesiga Katonda, okusoma ebibuuzo emirundi egiwera  baasobole okubitegeera obulungi, obutapapa, okukuuma empisa, okubeera abakkakkamu, okugoberera amateeka basobole okukola obulungi ebigezo byabwe.

Abayizi bo bategeezezza nti beeyambisizza ekiseera ky'omuggalo okusoma ebitabo okwejjukanya byonna bye bazze basoma okuviira ddala mu siniya esooka, ne bategeeza nti ebibuuzo bino babyetegekedde bulungi, nti era bagenda kuyita bulungi.

Ku Viennah high School e Kabowa, basoose mu kusaba dduwa okusabira abayizi Mukama abawe amagezi okukola obulungi ebigezo, abamu ku bazadde nabo beetabye
mu kubuulira abayizi ne babategeeza nti, bakyalina olugendo luwanvu olw'okutambula noolwekyo basaanye kwongeramu maanyi si kugayaala.

Ku Kinaawa High School Kawempe, nayo abayizi baakubiriziddwa okwekwasa Katonda abasobozese okujjukira byonna bye baasoma bakole bulungi.

Ku Jakayz SS e Kabowa nabo basabye abayizi okubeera abakkakkamu nga batuuse mu bibuuzo baleme kupapa, kubanga okupapa kukozesa ensobi na bulijjo okuwanika omukono singa babaako obwetaavu kubanga singa bakikola nga tebasabye kiyinza okubaleetera obuzibu.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Wabaddewo vvaawompiteewo n...

WABADDEWO vvaawompiteewo ku kisaawe kya MTN Arena e Lugogo ng'abakungu ba FUFA balondesa abakulembeze b'omupiira...

Abamu ku bayizi be basabidde.

Abayizi ba S.6 babuuliriddw...

ABAYIZI ba S6 babuuliriddwa okutwala ebigezo eby'akamalirizo bye batandika enkya ng'ensonga kuba kati batandise...

Fr. Dominic Kagoye  ng'akwasa Kironde (afukamidde wansi ) pikipiki gye baamutonedde,nnyina (mu gomesi) n'abaana be.

Omusomesa eyaziba amaaso ki...

Eyali Omusomesa wa Siniya okubala ne 'Physic's eyaziba amaaso mu ngeri eyewuunyisa ng'ali mu kibiina asomesa n'akubwa...

Museveni n'owa Tanzania bat...

Abakulembeze b'amawanga okuli owa Uganda Yoweri Museveni ne Samia Suluhu Hassan owa Tanzania batadde omukono ku...

Abaami ba Kabaka abaweereddwa eggaali.

Kabaka awadde abaami b'amag...

Ssaabasajja Kabaka asiimye n'awa abaami be abamagombolola 29 agokola essaza lye Buddu entambula. Obuyambi...