TOP
  • Home
  • News
  • Ekiraamo kya Muzaata kireese akavuyo

Ekiraamo kya Muzaata kireese akavuyo

Added 1st March 2021

Muzaata ne Bakazi be Kluthum ne Bugirita

Muzaata ne Bakazi be Kluthum ne Bugirita

SHEIKH Umar Swidiq Ndawula asomye ekigambibwa okuba ekiraamo kya Sheikh Nuhu Muzaata ne kyongera okusajjula embeera y'obutakwatagana mu famire.

Asoose kulaga ekiraamo bwe kiri ekituufu era ye yafunako kkopi nga mukwano gwa Muzaata owooku lusegere. Agamba nti osanga kino si kye kiseera ekituufu okusoma ekiraamo kya Muzaata naye awaliriziddwa okuggyayo amazima ku butakkaanya obuli mu famire.

Ate ng'abakulembedde olutalo okuli Kluthum Nabunnya ne Amina Namawejje Bugirita ye Ndawula agamba nti Muzaata yafa takyababala nga bakazi be.

Muzaata yalaama August 17, 2020: Nnalina abakyala babiri- Amina Namawejje oyo twayawukana dda. Ate Kluthum Nabunnya naye twayawukana.

Nnina abaana basatu- Anwar Ssessanga azaalibwa Kluthum. Ate Amjad Ssozi ne Hamida Nassozi bazaalibwa Namawejje.

"Allah bw'aliba anzijuludde, sirina mukazi yenna. Ebintu byange byonna by'abaana bange", ekiraamo ekyasomeddwa Ndawula bwe kyategeezezza.

Bino biddiridde obutakkaanya mu famire ya Muzaata.  Muzaata yafa nga December
4 nga Kluthum tali waka oluvannyuma lw'okufuna obutakkaanya. Ate Amina Namawejje baali baayawukana emyaka 20 egiyise.

Akola ku nsonga z'abafu ne Minisita w'abaana Florence Nakiwala Kiyingi baalagidde Kluthum okubeera mu maka ga Muzaata e Kawempe mu Cate-Falawo akuumirewo omwana Anwar Ssessanga ow'emyaka 12.

Kyokka Kluthum n'abafamire ye bawakanya ekiraamo ekyasomeddwa. Bagamba nti Muzaata yalina obudde okwawukana ne Kluthum mu mateeka g'ensi n'ag'eddiini. Mu ddiini yandibadde amuwadde talaka, kyokka ekyo tekyakolebwa.

Ibrahim Sebunya mwannyina wa Kluthum era ayogerera famire yagambye: Ekiraamo ekyogerwako kijingirire era si gwe mulundi ogusoose okuleetebwa.

1. Ekiraamo kyogera ku baana basatu, Muzaata be yaleka ate nga kimanyiddwa nti yaleka abaana bataano.

2. Era ekiraamo tekiriiko muntu yenna akijulira ng'akissaako omukono nga bwe kikolebwa mu mateeka.
3. Ate Muzaata bwe yali awandiika gy'abeera yawandiika "Kawe" mu kifo kya Kawempe. "Tekiyinzika kuba nga Muzaata yali akooye atuuke n'okulemwa okuwandiika erinnya Kawempe. Yali musajja mugezi ate nga mwegendereza mu bintu bye", Sebunya bwe yagambye.

Ye Ndawula yannyonnyodde nti "talaka" kitegeeza kwawukana ekibaawo ng'abafumbo tebakyasobola kubeera bonna. Kyokka era talaka esobola okubeerawo mu bikolwa ne bwe kiba tekyatuddwa mu bigambo oba okuwandiika.

Okugeza abafumbo basobola okumala ekiseera ekiwanvu nga tebabeera bonna ate nga tebasoose kukkaanya "butabeera bombi". Mu mbeera eno kibeera kikyamu okugamba nti bakyali bafumbo.

"Omusajja bw'akyatula nti nkutadde, n'atakomawo n'ateekawo obuwandiike abeera atwanguyirizza nnyo Bamaseeka mu kugonjoola ensonga z'obufumbo." Ndawula bwe yagambye. Ekyo Muzaata kye yakoze kubanga ensonga eyo yagitadde mu kiraamo.

Yagambye nti omukazi bw'ayawukana ne bba, Obusiraamu bw'amuteerawo omukisa okudda ssinga amala ne yeetaba ne bba mu nsonga z'omukwano.

Era omusajja n'omukazi basobola okudding'ana ne bwe babeera baawukanye. Kyokka Muzaata yafa tadding'anye na Kluthum.

Kwe  kuwabula minisita Nakiwala Kiyingi ensonga z'obufumbo bwa Muzaata azigendeko mpola kuba ziramulwa mateeka ga Busiraamu. Alina akakwate ku ntaputa y'amateeka ga Sharia ye yekka alina okulung'amya
ensonga zino.

EKIRAAMO KYA MUZAATA EKYASOMEDDWA

Muzaata asooka kwewaayo eri Allah nga bino yabiwandiika mu Luwarabu n'atoola ne Salaam.
… ndi mutabani w'omugenzi Hajji Adam Muzaata Sseebbaale. Ndi muzzukulu wa
Hamza Ssematiko. Maama wange ye mugenzi Hamida Nalunkuuma. Abakyala bange baali babiri- Amina Namawejje ne Kluthum Nabunya bombi
twayawukana.
"Obugagga bwange mbulekedde abaana bange abasatu. Teri alina buyinza kukyusa
kintu na kimu ku bye mpandiise", Ekiraamo kya Muzaata bwe kigamba.

Hajjati Namawejje Bugirita
Enju y'e Kawempe y'abaana bange. Nze nagigula poloti n'okugizimba. Muzaata mu kiseera ekyo yali asomesa ku Bilal e Bwaise ng'afuna musaala gw'abasomesa. Ssente nnaziggya mu kusuubula.

OMUKUGU AWABUDDE

SHEIKH Salim Bbosa omukugu mu nsonga za Sharia yagambye nti si buvunaanyizibwa bwa Musiraamu okugaba ebyobugagga by'alina. Olina kulaga byabugagga by'olese, abaana n'abakyala olwo ebisigadde amateeka ga Sharia ge galamula.

Ekiraamo kya Muzaata ekiraga nti talina mukyala bwe kibeera ekituufu, Kluthum
Nabunya ne Amina babeera baviiramu awo.

Abaana abalenzi bonna balina okugabana ebisinga eby'abawala emirundi ebiri. Okugeza omuwala bw'aba agabanye bya bukadde 10 ate omulenzi agabana bya bukadde 20.

Abaana bonna abalenzi balina kufuna kyenkanyi nga tebafudde ku myaka gye balina.

             Nalukoola Luyimbaazi

LOOYA WA FAMIRE AWABUDDE
Luyimbaazi Nalukoola, looya wa famire ya Muzaata yategeezezza nti ekiraamo ekyo baakiwulirako era balowooza nti kituufu.

Nalukoola owa kkampuni ya Nalukoola, Kakeeto Advocates and Solicitors, yategeezezza nti ensonga za Muzaata zeetaaga kukwatibwa mu mateeka ga sharia.

Muzaata bw'aba yalaama nti teyalina mukyala ate ng'ebintu yabiraamira baana be, awo tuba tetusobola kukikyusa.

SHEIKH NDAWULA YAANI ?

                                      Ndawula

NDAWULA azze ayita mu kusoomoozebwa omuli okuteekebwa ku lukalala olwasaasaana nga kuliko amannya ga Bamaseeka abalina okuttibwa. Bano kwaliko
Sheikh Najib Sonko, Ibrahim Hassan Kirya (yatemulwa), Halluna Jemba, Mahamood Kibate n'abalala.

Banne bwe baali bakolera ku Market Street mu Kampala okuli; Hassan Kirya, Musitapha Bahiga bonna battibwa. Ate eyali omumyuka wa Supreme Mufti eyasooka Sheikh Abdu Hakim Ssekimpi yafa lumbe.

Ndawula y'akulira Bamaseeka mu kibiina kya Jamiyat Daawa Salafi ya ekikulirirwa
Sheikh Muhamood Kibaate.

Musomesa wa ddiini ayitibwa mu misomo n'emizigiti okwanukula ebibuuzo ku
ddiini y'Obusiraamu. Gye buvuddeko yalwala nnyo n'amala ekiseera nga tatambula.

Mu kusabira Sheikh Annas Kaliisa, Muzaata yasinziira e Kibuli n'ayanjula Sheikh
Ndawula eri abakungubazi ng'omu ku basajja b'Omulangira Kassim Nakibinge ab'amaanyi.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssengoozi ng'alaga tayiro z'akola.

Okukola tayiro okuva mu bis...

“ Nze nabonaabona n'okunoonya emirimu nga n'akamala yunivasitte, kyokka olw’okuba nali nfunye obukugu mu kukola...

Christopher Kasozi ng'awa ebyennyanja emmere.

Abalunzi b'eby'ennyanja bal...

ABALUNZI b’ebyennyanja ku mwalo gw’e Masese e Jinja abeegattira mu kibiina kya ‘’Masese Cage Fish Farmers Co-operative...

Looya wa Ssempala yeekandaz...

LOOYA wa Isaac Ssempala, bba w’omubaka Naggayi Ssempala yeekandazze n’abooluganda ne bava mu kkooti looya bw’alemereddwa...

KCCA ekutte abatundira ku n...

ABASERIKALE ba KCCA bakoze ekikwekweto  mwe bakwatidde abatembeeyi n’abatundira ebintu ku nguudo n’okubowa emu...

Omulangira Ssimbwa

Enfa y'Omulangira Ssimbwa e...

OKUFA kw’Omulangira Arnold Ssimbwa Ssekamanya kuleesewo ebibuuzo nkumu ebirese nga biyuzizzayuzizza mu Balangira...