TOP
  • Home
  • News
  • Ab'e Kigombya balabudde Gavumenti ku by'okubaliyirira

Ab'e Kigombya balabudde Gavumenti ku by'okubaliyirira

Added 1st March 2021

Abamu ku batuuze nga bali mu maka g’omubaka Betty Nambooze (mu katono).

Abamu ku batuuze nga bali mu maka g’omubaka Betty Nambooze (mu katono).

ABATUUZE ku kyalo Kigombya mu disitulikiti y'e Mukono, bawadde gavumenti nsalessale ya myezi ena okutuuka mu mwezi gw'omukaaga, nga babaliyiridde ssente ze baabasuubiza mu poloti n'ebibanja byabwe, gavumenti bye yabalagira okuvaamu olw'enteekateeka yaayo ey'okuzimba oluguudo lw'eggaali y'omukka eya Standard Gauge Railway.

Bagambye nti, emyezi bwe giggwaako nga tebaliyiriddwa, baakugenda mu kkooti bagivunaane.

Abatuuze abaabadde bakulembeddwa ssentebe waabwe, James Mujunga baasazeewo okwekubira enduulu eri omubaka wa munisipaali y'e Mukono, Betty Nambooze Bakireke, gwe baatwalidde ekiwandiiko akibatuusize mu palamenti nga balaga obutali bumativu olwa gavumenti okulwawo okubaliyirira.

Baabadde basaba bakkirizibwe okuddamu okukozesa ebifo byabwe olw'abantu abamu abataategeerekeka abatandise okusimba ebikondo mu poloti zaabwe.

Mujunga yategeezezza nti, abatuuze be, abasoba mu 150 be baakosebwa enteekateeka eno bwe baabalagira okuva mu poloti zaabwe abasinga mwe baali bazimbye ennyumba n'ez'abapangisa, balimye emmere, n'abaali bayiye eby'okuzimbisa ebyali bibalirirwaamu obuwanana bw'ensimbi nga kati byonna byayonooneka.

Abamu ku batuuze baategeezezza nga bwe bawaliriziddwa okuddukira ew'omubaka nga bakooye okubundabunda, okubulwa ensimbi ezisasulira ennyumba mwe basula n'okuliisa ffamire zaabwe kyokka nga balina ebibanja ne poloti zaabwe ezitaliiko kintu kyonna.

Mujunga yannyonnyodde nga bwe baabateesa emikono ku mpapula ezaali zooleka nti ebifo byabwe babiwaddeyo era ne bakkiriziganya nga bamanyi baakuweebwa ensimbi mu bwangu kyokka n'okutuusa kati tebeenyeenya.

Ye Fausta Nantume okuva mu pulojekiti ya Standard Gauge Railway yabasabye okubeera abakkakkamu n'ategeeza nga gavumenti bw'eva kitundu ku kitundu mu disitulikiti ez'enjawulo omuli abantu abaataataaganyizibwa pulojekiti eno, era n'abagumya nti oluvannyuma lw'okumaliriza e Jinja mu bbanga ttono, bagenda kuliyirirwa.

Omubaka Betty Nambooze ye yabasuubizza okutuusa ekiwandiiko kye bamukwasizza eri olukiiko lw'eggwanga olukulu okulaba ng'ensonga yaabwe egonjoolwa.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssengoozi ng'alaga tayiro z'akola.

Okukola tayiro okuva mu bis...

“ Nze nabonaabona n'okunoonya emirimu nga n'akamala yunivasitte, kyokka olw’okuba nali nfunye obukugu mu kukola...

Christopher Kasozi ng'awa ebyennyanja emmere.

Abalunzi b'eby'ennyanja bal...

ABALUNZI b’ebyennyanja ku mwalo gw’e Masese e Jinja abeegattira mu kibiina kya ‘’Masese Cage Fish Farmers Co-operative...

Looya wa Ssempala yeekandaz...

LOOYA wa Isaac Ssempala, bba w’omubaka Naggayi Ssempala yeekandazze n’abooluganda ne bava mu kkooti looya bw’alemereddwa...

KCCA ekutte abatundira ku n...

ABASERIKALE ba KCCA bakoze ekikwekweto  mwe bakwatidde abatembeeyi n’abatundira ebintu ku nguudo n’okubowa emu...

Omulangira Ssimbwa

Enfa y'Omulangira Ssimbwa e...

OKUFA kw’Omulangira Arnold Ssimbwa Ssekamanya kuleesewo ebibuuzo nkumu ebirese nga biyuzizzayuzizza mu Balangira...