TOP
  • Home
  • News
  • ▶️ Mutusonyiwe bye twayogera ne binyiiza abakulu mu klezia- minisita Kiwa

▶️ Mutusonyiwe bye twayogera ne binyiiza abakulu mu klezia- minisita Kiwa

Added 1st March 2021

Fr. Anthony Musaala (ku ddyo) ng’abuuza ku Kiwanda ne Ying. Joseph Ssewava oluvannyuma lwa Mmisa mu Lutikko e Lubaga.

Fr. Anthony Musaala (ku ddyo) ng’abuuza ku Kiwanda ne Ying. Joseph Ssewava oluvannyuma lwa Mmisa mu Lutikko e Lubaga.

AMYUKA ssentebe wa NRM mu Buganda, Godfrey Kiwanda Ssuubi yeetondedde Eklezia olw'okusowagana okwaliwo mu kiseera kya kkampeyini n'okulonda, n'asaba ekisonyiwo ku lulwe ne ku lw'ekibiina kya NRM.

Kiwanda eyawerekeddwaako, Joseph Ssewava, ssentebe w'abavubuka ba NRM e Bukomansimbi n'omuyambi we Moreen Murangira yeetondedde mu Mmisa eyabadde e Lubaga ku Lutikko ku Ssande nga February 28, 2021, mwe yategeerezza nti nga bwe guli mwezi gwa Kisiibo, kiba kirungi okutabagana n'okusonyiwagana.

"Nzize olwaleero okwetonda olw'ebitaagenda bulungi mu kiseera kya kkampeyini. Bye twayogera byonna nga si birungi ne binyiiza abakulu mu Klezia tusaba kusonyiyibwa tusobole okukulembera abantu baffe obulungi, kubanga twetaaga obumu okusobola okukulaakulanya eggwanga," Kiwanda bwe yagambye.



Yayongeddeko nti ye ne NRM tebalina mpalana ku Klezia ne yeeyama nti bagenda kulongoosa byonna ebikyalimu ebirumira okulaba ng'eggwanga ligenda mu maaso.

Kinajjukirwa nti oluvannyuma lwa NRM okuwangulwa mu bitundu bya Buganda, Kiwanda yatabukira Eklezia n'alumba ne ba Faaza ssekinnoomu nga Fr. Anthony Musaala ng'abalumiriza okwogera ebigambo ebyavaako abalonzi okusiikuuka emmeeme ne batalonda ba NRM.

Emmisa olwawedde, Kiwanda yasobodde okwesika mu mukono ne Fr. Musaala ne banyumyamu, Musaala n'amusabiranako.

Bwanamukulu w'e Lubaga, Fr. Achilles Mayanja yasiimye Kiwanda olw'okwetonda kwe yakoze n'amukakasa nti Eklezia nneetegefu okukolagana ne gavumenti okulaba nga bataasa abantu ku bikoligo okuli obwavu, endwadde n'obutamanya.

Yavumiridde ebikolwa by'okubuzaawo abantu ebikolebwa ebitongole by'ebyokwerinda n'abyemulugunyaako olw'okugaana okufulumya olukalala okuli amannya g'abantu bonna abaakwatibwa nga Pulezidenti bwe yalagira.

Era n'asaba bonna abaakwatibwa batwalibwe mu kkooti ne mu makomera agamanyiddwa abantu baabwe basobole okubalabako.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abazinyi nga basanyusa abantu.

Kibadde kijobi nga Fr. Kyak...

EMBUUTU zibuutikidde ekifo ekisanyukirwamu ekya John Bosco Ssologgumba e Lukaya mu Kalungu. Zino zipangisiddwa...

Bannyabo

▶️ BANNYABO:Lwaki abazadde ...

▶️ BANNYABO:Lwaki abazadde batugobya abaami baffe?

Akeezimbira

▶️ AKEEZIMBIRA; Enkokoto en...

▶️ AKEEZIMBIRA; Enkokoto entuufu gy'osaanidde okuyiwa ku kizimbe.

Bannyabo; Nakazinga ng'annyonnyola

▶️ BANNYABO; Abazadde bwe b...

▶️ BANNYABO; Abazadde bwe bakugaana omwami weeyisa otya?

Kakooza ng’alaga bwe yabuuse ekikomera.

Poliisi eyogezza eyakwatidd...

POLIISI eyogezza omusajja eyakwatiddwa ku by'okumenya n'okubba amaka we bazaala omugenzi Ssaabasumba Cyprian Kizito...