TOP
  • Home
  • News
  • Museveni bamuwadde engule mu Amerika

Museveni bamuwadde engule mu Amerika

Added 2nd March 2021

Abby Walusimbi ng'akwasibwa engule ya Pulezidenti Museveni eggulo.

Abby Walusimbi ng'akwasibwa engule ya Pulezidenti Museveni eggulo.

BANNAMAKOLERO okuva mu mawanga ga Afrika ababeera mu Amerika bawadde Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni engule.

Engule eno gye batuumye "The Pan African Renaissance Leadership Ward" , pulezidenti Museveni emuweereddwa  bannamakolero  abeegattira mu kibiina kya "The Africa -USA International Chamber of Commerce & Industry (AUSACCI) mu bibuga okuli ekya Los- Angeles mu ssaza ly'e California.

Omuwabuzi wa Pulezidenti  ku nsonga za Bannayuganda abeera n'okukolera ebweru w'eggwanga,  Hajji Abbey Walusimbi  ye yakwasiddwa  engule eno ku lwa Pulezidenti Museveni.

Engule eno  bagiwadde Museveni nga bamusiima olw'omutima gw'alina okwaniriza buli muntu awatali kusosola muntu yenna .

Bannamakolero bano emabegako baakulembera kaweefube w'okutumbula eby'obusuubuzi mu Uganda era ne bitambula bulungi ddala era ne basuubiza okugenda mu maaso ne kaweefube ono.

Walusimbi yagambye nti Uganda yasalawo okutumbula eby'obuwangwa bwa Afrika yonna,  gattako okutumbula n'ebyobulambuzi , eby'ensuubuligana n'enkulaakulana. 
 

Hajji  Abbey Walusimbi ayozezaayozezza Pulezidenti Museveni okutuuka ku kkula lino ku mukolo ogwabaddewo ku Mmande mu Amerika. 

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

NEZIKOOKOLIMA

▶️ Abaana abakoze ebibuuzo ...

▶️  NEZIKOOKOLIMA: Abaana abakoze ebibuuzo ebyakamalirizo musigale nga mukyali baana awaka.  

Ssempijja ng'asomesa abalimi.

Okugattika ebirime kye kiku...

MINISITA w'obulimi obulunzi n'obuvubi, Vincent Ssempijja asinzidde mu disitulikiti y'e Bukomansimbi n'ategeeza...

Abakristaayo lwe basabira wabweru ku Ssande.

Obulabirizi bw'e Namirembe ...

OBULABIRIZI bw'e Namirembe buyingidde mu nkaayana z'ettaka ly'ekkanisa e Kyanja n'ebugumya Abakristaayo  okusigala...

Jonathan McKinstry (wakati) ng'abuulirira Khalid Aucho (ku kkono) ne Mike Azira (ku ddyo).

Micheal Azira naye annyuse ...

MICHEAL Azira agucangira mu kiraabu ya New Mexico United yeegasse ku bassita ba Cranes babiri abakannyuka omupiira...

Nyombi ng'alaga olubuto mw'afulumira.

Afulumira mu kapiira alaajanye

OMUVUBUKA ow'emyaka 32 alaajana oluvannyuma ly'okumulongoosa ekyenda n'atawona nga kati yeetaaga obukadde butaano...