TOP
  • Home
  • News
  • Lwaki FUFA eggyeewo McKinstry, Mubiru ye bboosi

Lwaki FUFA eggyeewo McKinstry, Mubiru ye bboosi

Added 4th March 2021

McKinstry

McKinstry

OMUTENDESI wa Cranes, Johnathan McKinstry yalagiddwa mbagirawo okwamuka omulimu guno. Ekiragiro kino, kyatandise ggulo nga March 2, oluvannyuma lw'olukiiko lwa FUFA olw'oku ntikko okufuna lipoota okuva mu kakiiko ak'ebyekikugu ng'erimu ebirumira.

McKinstry ateeberezebwa okufuna doola 25,000 (92, 500,000/-) buli mwezi, ne bamugattirako emmotoka n'amafuta, ennyumba, ofiisi, n'ebirala.

Ekiwandiiko ekyafulumiziddwa ku mukutu gwa FUFA kyalaze nti McKinstry yazziddwaako ebbali okutuusa nga March 31.

Abdallah Mubiru ne Livingstone Mbabazi ababadde abamyuka be, be basigadde mu mitambo gya ttiimu, ssaako okuzza Fred Kajoba, gwe baagoba nga ttiimu yeetegekera CHAN.

Mbabazi (ku Kkono) Ne Mubiru.

OKUGGYAWO MCKINSTRY KITEGEEZA KI?
Cranes egenda kuzannya emipiira ebiri okuli Burkina Faso (March 23) e Kampala, ne Malawi (March 30) ku bugenyi, mu gusembayo mu zisunsula abalizannya eza Afrika.FUFA egenda kweyambisa emipiira egyo okwetegereza omutindo.

LWAKI FUFA EGGYEEWO MCKINSTRY?
1.Enzannya ya ttiimu embi; Enzanya ya Cranes ekyalemye okumatiza ate nga ttiimu ezisinga z'ezannye zibadde tezitiisa. Kigambibwa nti ekyasinga okuluma bakama be, kwe kukubwa South Sudan (1-0) eterina wadde omuzannyi atiisa.

Mu CHAN e Cameroon, Cranes yazannye bubi. Yakubwa Morocco 5-1 ekyali kirudde okubaawo. Mu kwetegekera empaka zino, Mckinstry yasaba FUFA okutwala abazannyi mu nkambi e Cameroon ng'obudde bukyali era omwezi mulamba baagumalayo.
Kuno bw'ogattako okugenda mu nkambi e Dubai nga beetegekera South Sudan eyabakuba, kyongera okuteekawo akabuuza.

                             Kajoba

2.Tannategeera bazannyi be;
Emipiira egisinga obungi abadde azannyisa abazannyi balala ng'akyabuliddwa ttiimu etandika kumpi mwaka gumu n'ekitundu. Kino FUFA ekiraba nga eyeetaaga okuddamu okumwetegereza.

3.Akyalemeddwa okuzimba ttiimu; Micho Sredojevic nga yaakatwala omulimu gwa Cranes, yafuna eyali musaayimuto mu biseera ebyo, Geoffrey 'Baba' Kizito, n'amugattako Farouk Miya n'abalala, Cranes ne yeeyongera amaanyi. Sebastien Desabre bwe yajja, yafuna Patrik Kaddu eyateeba ggoolo eyatwala Cranes mu za Afrika e Misiri, Allan Okello, ne 'bapulo' Abdul Lumala, Alexes Bbakka n'abalala. Abazannyi ba Mckinstry tebannalabika.

4.Ttiimu terina sisitiimu; E Rwanda McKinstry gye yatendekako, yali azannya 'kawoowo' nga kyangu okutegeera enzannya ya ttiimu. Mu Cranes kizibu okutegeera sisitiimu.

5.Abazannyi bamunyooma; Kigambibwa nti abamu ku bazannyi basiniya bamunyooma olw'okuba emyaka bali mu gimu, oluusi ne bagaana okussa mu nkola by'abagamba.
6Byekwaso okutwala Hippos ku fayinolo; Bulijjo FUFA egamba nti abatendesi ba Uganda bakyabulamu okutendeka Cranes, wabula ekya Morley Byekwaso okutuusa Hippos ku fayinolo y'empaka za Afrika, kyabazibudde amaaso, nga kati baagala kugezesa okulaba Bannansi bye basobola okukola, sso nga ne ssente zaabwe zibeera ntono.

Abdallah Mubiru

ABALI MU MITAMBO GYA CRANES

ABDALLAH MUBIRUlAtendeseeko essaza lya Mawogola ne Ssingo, yaliko mu Kalububbu ey'ekibinja ekisooka ne Kibuli SS. lYaliko mu Military Police ng'omumyuka, abaddeko omumyuka wa ttiimu y'eggwanga ey'abali wansi w'emyaka 23 ne 20. lAbaddeko omutendesi omujjuvu mu Proline, KCCA, Vipers ne Police mw'ali kati. lYazannyirako Villa, KCCA ne Cranes

LIVINSTONE MBABAZI lYazannyirako KCCA ne St Patrick ku 'pulo', lYatendekako ttiimu y'eggwanga eya Somalia, Bright Stars, Lweza, Masavu, Mbarara City, Onduparaka, Wakiso Giants ne Kyetume.
FRED KAJOBA lYazannyirako Simba (UPDF), era n'agitendekako, ssaako Bright Stars ne Vipers mw'ali kati

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

NEZIKOOKOLIMA

▶️ Abaana abakoze ebibuuzo ...

▶️  NEZIKOOKOLIMA: Abaana abakoze ebibuuzo ebyakamalirizo musigale nga mukyali baana awaka.  

Ssempijja ng'asomesa abalimi.

Okugattika ebirime kye kiku...

MINISITA w'obulimi obulunzi n'obuvubi, Vincent Ssempijja asinzidde mu disitulikiti y'e Bukomansimbi n'ategeeza...

Abakristaayo lwe basabira wabweru ku Ssande.

Obulabirizi bw'e Namirembe ...

OBULABIRIZI bw'e Namirembe buyingidde mu nkaayana z'ettaka ly'ekkanisa e Kyanja n'ebugumya Abakristaayo  okusigala...

Jonathan McKinstry (wakati) ng'abuulirira Khalid Aucho (ku kkono) ne Mike Azira (ku ddyo).

Micheal Azira naye annyuse ...

MICHEAL Azira agucangira mu kiraabu ya New Mexico United yeegasse ku bassita ba Cranes babiri abakannyuka omupiira...

Nyombi ng'alaga olubuto mw'afulumira.

Afulumira mu kapiira alaajanye

OMUVUBUKA ow'emyaka 32 alaajana oluvannyuma ly'okumulongoosa ekyenda n'atawona nga kati yeetaaga obukadde butaano...