TOP
  • Home
  • News
  • 'Polof. Mukiibi owa DP alese eddibu ddene eri Bannasansi'

'Polof. Mukiibi owa DP alese eddibu ddene eri Bannasansi'

Added 4th March 2021

Omugenzi Polof Mukiibi

Omugenzi Polof Mukiibi

EYALIKO ssentebe w'ekibiina DP mu ggwanga, Polof. Joseph Kugulukumu Mukiibi 84 afudde n'aleka eddibu eddene mu bannasayansi.

Polof. Mukiibi (mu katono) mukugu mu ndwadde z'ebimera y'omu ku baali emabega w'okutandika ekitongole kya Gavumenti ekinoonyereza ku byobulimi ekya National Agricultural Research Organisation (NARO) n'akikulira okumala emyaka 15.

Akulira NARO Ambrose Magona ye yabikidde Bannayuganda okufa kwa Polof Mukiibi n'ategeeza nti, okufa kwe kukubye eddibu ddene eri bannasayansi naddala abali ku gw'okunoonyereza.

Magona ng'ayita ku mukutu gw'ekitongole kino ogwa Twitter, yagambye nti, Mukiibi yafudde ku Lwakubiri akawungeezi mu ddwaaliro erimu mu Kampala.
Polof. Mukiibi yalondebwa ku bwa ssentebe wa Democratic Party mu 2005 ng'adda mu bigere bya Boniface Byanyima.

Mukiibi yazaalibwa mu Disitulikiti y'e Kakumiro mu 1937 era nga ye bba w'eyali minisita w'ensonga z'abakozi, Benigna Mukiibi.

Yafulumya ebitabo n'ebiwandiiko bingi ebikwata ku ndwadde ezikwata ebimera era yakulirako ekitongole ekinoonyereza ku bimera ku Yunivasite ey'e Makerere era yasomesezaayo okumala ebbanga.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssengoozi ng'alaga tayiro z'akola.

Okukola tayiro okuva mu bis...

“ Nze nabonaabona n'okunoonya emirimu nga n'akamala yunivasitte, kyokka olw’okuba nali nfunye obukugu mu kukola...

Christopher Kasozi ng'awa ebyennyanja emmere.

Abalunzi b'eby'ennyanja bal...

ABALUNZI b’ebyennyanja ku mwalo gw’e Masese e Jinja abeegattira mu kibiina kya ‘’Masese Cage Fish Farmers Co-operative...

Looya wa Ssempala yeekandaz...

LOOYA wa Isaac Ssempala, bba w’omubaka Naggayi Ssempala yeekandazze n’abooluganda ne bava mu kkooti looya bw’alemereddwa...

KCCA ekutte abatundira ku n...

ABASERIKALE ba KCCA bakoze ekikwekweto  mwe bakwatidde abatembeeyi n’abatundira ebintu ku nguudo n’okubowa emu...

Omulangira Ssimbwa

Enfa y'Omulangira Ssimbwa e...

OKUFA kw’Omulangira Arnold Ssimbwa Ssekamanya kuleesewo ebibuuzo nkumu ebirese nga biyuzizzayuzizza mu Balangira...