TOP
  • Home
  • News
  • Ow'emyaka 6 attiddwa mu bukambwe, basoose kumusobyako

Ow'emyaka 6 attiddwa mu bukambwe, basoose kumusobyako

Added 4th March 2021

Ngambeki gwe basse.

Ngambeki gwe basse.

ABANTU abettima, bawambye omwana ow'emyaka mukaaga ne bamusobyako mu kibira  n'oluvannyuma ne bamutta mu bukambwe omulambo ne bagwambulamu engoye.

Bino bibadde Kyanja mu munisipaali y'e Nakawa, omwana Imela Ngambeki ow'emyaka omukaaga, muwala wa Sarah Nagawa omutuuze w'omu Ndeeba, bw'asangiddwa ng' attiddwa oluvannyuma lw'okubula okumala ennaku bbiri okuva ku mukulu we Shakirah Naiga gye yali yajja naye okukyala.

Shafiq Mbogo,  Kitaawe w'omugenzi omuto agambye nti, Ngambeki yali yagenda kuwummulako wa mukulu we ayitibwa Shakira Naiga e Kyanja, nti wabula ono yabakubira essimu ku Lwokubiri lwa wiiki eno nti omwana  yali abuze, baatandika omuyiggo okutuusa bwe baazudde omulambo mu kibira ekiri okumpi n'omugenzi w'abadde abeera.

Omwana Ngambeki Eyasaddaakiddwa Ng'akyali Muto.




Ngambeki Eyattiddwa Ku Kkono Ne Nyina Nagawa Ku Ddyo

Abakungubazi Mu Lumbe.

Abato, Ngambeki  be yabadde azannya nabo bategeezezza nti, baabadde bazannya, Ngambeki  kwe kusalawo agendeko mu kasiko akaliraanye ekibira mbu anogeyo akamuli k'okusiba ku ddole ye,  baakanze kumulinda nga takomawo okutuusa lwe bategeezezza mukulu we Naiga.

Poliisi y'e Kyanja ezze n'eggyawo omulambo ne gutwalibwa mu ggwanika e Mulago okwongera okwekebejjebwa, wabula abaserikale bategeezezza nti, Ngambeki yasooka kusobezebwako nga tanattibwa, oluvannyuma baamusala obulago ne baleka nga bamusonsese n'ebigambibwa okubeera eddagala mu kamwa.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano Luke Owesigyire akakasizza ettemu lino n'agamba nti batandise okunoonyerza okuzuula ekyasse omwana. Akubirizza abazadde okukuuma abaana baabwe obutiribiri wamu n'okubabuulirira obutamala gagenda eri bantu ababa babayise.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssengoozi ng'alaga tayiro z'akola.

Okukola tayiro okuva mu bis...

“ Nze nabonaabona n'okunoonya emirimu nga n'akamala yunivasitte, kyokka olw’okuba nali nfunye obukugu mu kukola...

Christopher Kasozi ng'awa ebyennyanja emmere.

Abalunzi b'eby'ennyanja bal...

ABALUNZI b’ebyennyanja ku mwalo gw’e Masese e Jinja abeegattira mu kibiina kya ‘’Masese Cage Fish Farmers Co-operative...

Looya wa Ssempala yeekandaz...

LOOYA wa Isaac Ssempala, bba w’omubaka Naggayi Ssempala yeekandazze n’abooluganda ne bava mu kkooti looya bw’alemereddwa...

KCCA ekutte abatundira ku n...

ABASERIKALE ba KCCA bakoze ekikwekweto  mwe bakwatidde abatembeeyi n’abatundira ebintu ku nguudo n’okubowa emu...

Omulangira Ssimbwa

Enfa y'Omulangira Ssimbwa e...

OKUFA kw’Omulangira Arnold Ssimbwa Ssekamanya kuleesewo ebibuuzo nkumu ebirese nga biyuzizzayuzizza mu Balangira...