TOP
  • Home
  • News
  • Gavumenti yaakuwa abantu 300,000 amasannyalaze ku bwereere

Gavumenti yaakuwa abantu 300,000 amasannyalaze ku bwereere

Added 4th March 2021

Minisita Kitutu

Minisita Kitutu

GAVUMENTI eyanjudde enteekateeka okuddamu okugabira amaka 300,000 mu byalo amasannyalaze okutandika ku Mmande ya wiiki ejja nga March 8.

Minisita w'amasannyalaze n'ebyobugagga eby'omu ttaka, Mary Goretti Kitutu bwe yabadde ku Media Centre eggulo yategeezezza nti abagenda okusooka okuganyulwa
mu nteekateeka eno beebo abaali bassaamu okusaba kwabwe nga basasudde ne 20,000/- ez'abakugu okulambula amaka we bagenda okussa amasannyalaze okukakasa nga
tegagenda kubeera gabulabe eri obulamu bwabwe era nga batuukiriza n'ebisaanyizo
ebyabalagirwa.

Kino kiddiridde gavumenti okuwa ekitongole ekivunaanyizibwa ku kubunyisa amasannyalaze mu ggwanga ekya UEDCL obuwumbi obusoba mu 14 ziyambeko okuyunga abantu ku masannyalaze ku bwereere era ku ssente zino gavumenti esasuddeko ku bbanja eribadde ligibanjibwa agamu ku makampuni g'amasannyalaze.

Minisita era yategeezezza ng'ekitongole ekivunaanyizibwa ku kubunyisa amasannyalaze
mu byalo ekya ‘Rural Electrification Agency bwe kyafunye obuyambi okuva mu ‘African Development Bank' ne Islamic Development Bank' ne basobola okugula ebigenda okukozesebwa okuyunga abantu ku masannyalaze ku bwereere.

Amasannyalaze gano baakugabunyisa nga bagoberera enkola ya ‘Electricity Connection Policy ng'abagenda okusooka okuganyulwa beebo abaliraanye ebifo omwasimbibwa
edda emiti gy'amasannyalaze. Basabye abali mu bitundu bya Buganda okugumiikiriza okutuuka mu August omwaka guno.

Ying. Deborah Nantume avunaanyizibwa ku ntambuza y'emirimu mu Rural Electrification Agency yagambye nti abantu abali mu byalo abateesobola baakuddamu
okubayambako okukola ‘wiring' kyokka enkola z'amasannyalaze endala okugeetuusaako nga toli mu nteekateeka eno zisigadde ze zimu.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssengoozi ng'alaga tayiro z'akola.

Okukola tayiro okuva mu bis...

“ Nze nabonaabona n'okunoonya emirimu nga n'akamala yunivasitte, kyokka olw’okuba nali nfunye obukugu mu kukola...

Christopher Kasozi ng'awa ebyennyanja emmere.

Abalunzi b'eby'ennyanja bal...

ABALUNZI b’ebyennyanja ku mwalo gw’e Masese e Jinja abeegattira mu kibiina kya ‘’Masese Cage Fish Farmers Co-operative...

Looya wa Ssempala yeekandaz...

LOOYA wa Isaac Ssempala, bba w’omubaka Naggayi Ssempala yeekandazze n’abooluganda ne bava mu kkooti looya bw’alemereddwa...

KCCA ekutte abatundira ku n...

ABASERIKALE ba KCCA bakoze ekikwekweto  mwe bakwatidde abatembeeyi n’abatundira ebintu ku nguudo n’okubowa emu...

Omulangira Ssimbwa

Enfa y'Omulangira Ssimbwa e...

OKUFA kw’Omulangira Arnold Ssimbwa Ssekamanya kuleesewo ebibuuzo nkumu ebirese nga biyuzizzayuzizza mu Balangira...