
Papira (ku kkono), Acieng, Kobugabe ne Isaac Mukasa, akulira engule za Fortebet Real Star Monthly Awards. Mu katono ye Komakech.
FLORENCE Acieng, nnyina wa ggoolokipa wa Hippos (ttiimu y'eggwanga ey'abali wansi w'emyaka 20), agambye nti mutabani we asobola okukwata ggoolo n'asukkuluma ku Dennis Onyango, nnamba emu wa Cranes.
Acieng, yatindizze olugendo okuva e Gulu okukima engule ya Jack Komakech, eyasukkulumye mu bazannyi b'omupiira omwezi oguwedde. Engule eno, eyitibwa ‘Fortebet Real Star Monthly Sports Awards', eweebwa bannabyamizannyo mu biti eby'enjawulo, ababa basukkulumye ku balala.
"Nnasooka kumugaana kuzannya mupiira naye nkyejjusa kuba yandibadde wala. Mu myaka emitono gye nnaakamulaba ng'akwata ggoolo ndaba ng'ajja kusinga Onyango singa banaamukwata bulungi," Acieng, eyabadde ku bbaala ya Route 256 e Lugogo, bwe yagambye, n'agattako nti;
Emipiira egyasooka ssaagiraba kuba sirina ttivvi, naye ogwa Tunisia nnafunye omukisa okumulaba ne nnyogera okukakasa nti ggoolo agimanyi. Athony Papira, nnannyini akademi ya Ascent, Komakech mw'azannyira, ye yamuleese e Kampala n'alaba omupiira.
Ebyayambye Komakech okusukkuluma ku balala kwe kuba nti mu February yagenda emipiira ebiri nga tateebeddwa, kwe yagatta okukwata peneti ya Naser Djiga (Burkina Faso), Hippos bwe yali egiwandulamu 4-2, ku 'quarter'. Omupiira gwa semi nga Hippos ewandulamu Tunisia tegubalibwa kuba gwazannyiddwa mu March.
Ku Lwomukaaga, Hippos ettunka ne Ghana ku fayinolo ya AFCON, e Mauritania.
Abalala abaawangudde kuliko; Joshua Cheptegei (misinde) olw'okweddiza empaka za Monaco mu kiromira 5 ne Husina Kobugabe (badminton) eyawangudde emidaali gya zaabu (2)mu ‘Uganda International Badminton Open',
John Nanyumba, omwogezi wa kkampuni ya Fortebet, abateeka ensimbi mu mpaka zino, yagambye nti baakwongera okuzivujjirira kuba ziruubirira okutunda mizannyo.