TOP
  • Home
  • News
  • ▶️ Gavumenti etongozza sitampu za LC1 empya

▶️ Gavumenti etongozza sitampu za LC1 empya

Added 4th March 2021

Lumbuye Nsubuga mmeeya wa Makindye Ssaabagabo (ku kkono), minisita Magyezi ne  Mbabazi RDC wa Wakiso nga balaga sitampu z’ebyalo ezaatongozeddwa.

Lumbuye Nsubuga mmeeya wa Makindye Ssaabagabo (ku kkono), minisita Magyezi ne Mbabazi RDC wa Wakiso nga balaga sitampu z’ebyalo ezaatongozeddwa.

GAVUMENTI entongozza sitampu z'ebyalo, minisita wa Gavumenti ezeebitundu Raphael Magyezi n'alabula abakulembeze ku LC obutazijajaamya.

Minisita Magyezi yasabye abakulembeze b'ebyalo okubeera abeegendereza nga
bakozesa sitampu zino ezaabaweereddwa n'ategeeza nti emirundi mingi abakulembeze
bazzenga beetaba mu mivuyo gy'ettaka nga bakozesa sitampu z'ebyalo ekivuddeko
abantu okusigala mu maziga.

Magyezi okwogera bino yabadde ku kitebe kya Munisipaali ya Makindye Ssaabagabo ku Lwokubiri gye yatongolezza sitampu zino ne zikwasibwa bassentebe b'ebyalo nga buli eyabadde akwasibwa sitampu ng'awaayo enkadde gy'abadde akozesa.

Yategeezezza nga sitampu zino bwe zigenda okukozesebwa mu kulondoola ebiwandiiko bya gavumenti n'annyonnyola nti sitampu zikoleddwa mu ngeri ya njawulo okusinga kw'ezo ezaabulijjo.

Sitampu Ya Lc1 Empya Bw'efaanana.

Yalabudde abakulembeze abateeka ebyobufuzi mu buweereza bwabwe n'asaba
enjawukana z'ebyobufuzi okuzikomya kyokka bafube okumanyisa abatuuze ebigenda
mu maaso mu bitundu byabwe.

Bassentebe b'ebyalo gavumenti yabateerawo omusaala gwa 120,000/- buli mwaka
wabula baagala gavumenti ezongeze bafune akakadde kamu buli mwezi bwe bukadde
12 omwaka.

Wabula Magyezi yategeezezza nti gavumenti terina nteekateeka ya kwongeza
misaala gy'abakulembeze ba gavumenti ezeebitundu mu bwangu yadde ng'ensonga
eno erowoozebwako.

Gerald Lumbuye Nsubuga, mmeeya wa munisipaali eno yasabye abakulembeze
ababadde balina sitampu z'ebyalo ezisukka mw'emu okusala amagezi okulaba
nga bakikomya n'abasaba okweyambisa ezibaweereddwa mu butuufu bw'azo nga tewali
kunyigiriza muntu yenna.

RDC w'e Wakiso, Justine Mbabazi yategeezezza nga bassentebe b'ebyalo bwe
balina okutunuulirwa ennyo mu buweereza bw'eggwanga n'ategeeza nti be batandikirwako ku buli nsonga yonna ebeera eruma eggwanga.

Yawadde ekyokulabirako nga bwe bakoze omulimu omunene mu kuyambako
okulwanyisa obumenyi bw'amateeka obubeera bubaluseewo mu ggwanga.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abasomesa nga baweebwa ebigezo by'amasomero gaabwe.

Enkuba teremesezza bigezo k...

Wadde ng'enkuba yakedde kutonnya mu bitundu by'omu disitulikiti y'e Kalungu teyalemesezza bakulu b'amasomero kunona...

Omuzibizi wa Arsenal eyafun...

Tierney yafunye obuvune mu vviivi era asuubirwa okumala ebbanga eriwerako nga tazannya wabula Arteta agamba nti...

Bassita ba Leicester bameny...

TTIIMU ya Leicester eraze lwaki abazannyi baayo basatu baayo basatu tebaazannye mupiira gwa Premier, West Ham bwe...

Wabaddewo vvaawompiteewo n...

WABADDEWO vvaawompiteewo ku kisaawe kya MTN Arena e Lugogo ng'abakungu ba FUFA balondesa abakulembeze b'omupiira...

Abamu ku bayizi be basabidde.

Abayizi ba S.6 babuuliriddw...

ABAYIZI ba S6 babuuliriddwa okutwala ebigezo eby'akamalirizo bye batandika enkya ng'ensonga kuba kati batandise...