TOP
  • Home
  • News
  • ▶️ Museveni akkirizza okuyimbula abamu ku baakwatibwa

▶️ Museveni akkirizza okuyimbula abamu ku baakwatibwa

Added 7th March 2021

Ku kkono; Gerald Siranda (DP), Jimmy Akena (UPC), Pulezidenti Museveni ssentebe wa NRM (wakati),Nobert Mao (DP) , Kasule Lumumba (NRM) ne Frank Rusa akulira IPOD.

Ku kkono; Gerald Siranda (DP), Jimmy Akena (UPC), Pulezidenti Museveni ssentebe wa NRM (wakati),Nobert Mao (DP) , Kasule Lumumba (NRM) ne Frank Rusa akulira IPOD.

PULEZIDENTI Museveni alagidde okuyimbula abamu ku basibe 51 abaakwatibwa ku nsonga z'okugezaako okutabangula emirembe baggyibweko emisango egibadde gibavunaanibwa era bayimbulwe awatali kakwakkulizo.

Bino Pulezidenti yabyogedde bwe yabadde mu lukiiko Ttabamiruka olwa IPOD olugatta ebibiina byobufuzi ebirina ababaka mu Palamenti e Kololo ku Lwokutaano.

Yategeezezza nga bwe yamaze okwogera n'abakulembeze b'ebibiina bya UPC ne DP ne
bakkiriziganya okuyimbula abasibe ababadde baakwatibwa ebitongole ebikuumaddembe.Abakwate abaali 53 yagambye nti, ababiri baayimbulwa dda ate abalala 51 nabo bagenda kuyimbulwa.

"Ekirungi baatuyambye okutuwa amawulire agakwata ku baali baagala okutabangula emirembe." Museveni bwe yagambye.

Kyokka n'abasibe abalala abaakwatibwa ku nsonga z'ebyobufuzi yasuubizza okwogera n'omuwaabi wa gavumenti okuddamu okwetegereza emisango egivunaanibwa abasibe abo ssekinnoomu era nti abanaasangibwa nga tebalina misango bajja kuyimbulwa.

Kino we kijjidde ng'abakulembeze ba National Unity Platform ekikulemberwa
Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) balumiriza gavumenti okusirikira abantu be baakwata mu ngeri ey'obukambwe ne batabateeka ku lukalala gavumenti lwe
yafulumizza.

Kyagulanyi yagambye nti, abawagizi baabwe abawera 423 kw'abo 89 bokka be baalabikidde ku lukalala lwa gavumenti nga kino kitegeeza nti abantu 334 tebannazuulwa we bali.

Kyagulanyi yagambye nti, ku mannya 177 agaaleeteddwa minisita w'ensonga z'omunda, Gen. Jeje Odongo mu Palamenti ku Lwokuna lwabongedde nnyiike mu kifo ky'okwanukula amaziga g'abantu ne geeyongera bweyongezi.

Yagambye nti abantu bangi abaakwatibwa kubanga nabo ng'aba NUP baakizuulidde ku
lukalala lwa minisita nti waliwo abantu 88 abaali baasibwa wabula abantu baabwe nga tebaategeezaako ku NUP kubateeka ku lukalala lw'abawagizi abaabuzibwawo era
kino nakyo kyayongedde okubennyamiza.

MUSEVENI AYOGEDDE KU NKOLAGANA YE N'EBIBIINA BY'OBUFUZI
Ensisinkano ya IPOD erina okubeeramu ebibiina byonna ebirina ababaka mu Palamenti mu kisanja kino ekimalirizibwa okuli;
NRM, DP, UPC, JEEMA ne FDC. Kyokka FDC ne JEEMA baaganye okwetaba mu nsisinkano eno nga bagamba nti bye bazze bateesa bikoma mu bigambo n'okuba
nga tebayinza kuteesa nga Bannayuganda bangi bavundira mu makomera lwa byabufuzi.

Pulezidenti yalaze nti talina buzibu na kukolagana na bibiina byabufuzi birala kuba azze akikola ku mitendera egy'enjawulo.

Yagambye nti, yaliko mu DP, UPC era n'abeebibiina ebirala azze abawa omukisa okuweereza mu gavumenti ya NRM.

Museveni yasiimye abeetabye mu lukiiko luno n'atendereza Nobert Mao akulembera DP nga bwali omuyizi we omulungi asobodde okulaga enjawulo wakati w'abakulembeze abatuufu kw'abo abawagulwa.

Mao yagambye nti, aba DP tebalina kizibu na kuteesa na muntu yenna naddala bwe bagulaba ng'omukisa gw'okutereeza eggwanga kuba kye kiruubirirwa kyabwe.

Pulezidenti wa UPC, Jimmy Akena yagambye nti, mu kiseera kino ng'eggwanga litaaguddwa ekirwadde kya Corona, tebayinza kuzira kukozesa mukisa gwonna gwe balowooza nti gusobola okweyambisibwa okusitula embeera y'ebyenfuna n'ebyobufuzi mu ggwanga.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssengoozi ng'alaga tayiro z'akola.

Okukola tayiro okuva mu bis...

“ Nze nabonaabona n'okunoonya emirimu nga n'akamala yunivasitte, kyokka olw’okuba nali nfunye obukugu mu kukola...

Christopher Kasozi ng'awa ebyennyanja emmere.

Abalunzi b'eby'ennyanja bal...

ABALUNZI b’ebyennyanja ku mwalo gw’e Masese e Jinja abeegattira mu kibiina kya ‘’Masese Cage Fish Farmers Co-operative...

Looya wa Ssempala yeekandaz...

LOOYA wa Isaac Ssempala, bba w’omubaka Naggayi Ssempala yeekandazze n’abooluganda ne bava mu kkooti looya bw’alemereddwa...

KCCA ekutte abatundira ku n...

ABASERIKALE ba KCCA bakoze ekikwekweto  mwe bakwatidde abatembeeyi n’abatundira ebintu ku nguudo n’okubowa emu...

Omulangira Ssimbwa

Enfa y'Omulangira Ssimbwa e...

OKUFA kw’Omulangira Arnold Ssimbwa Ssekamanya kuleesewo ebibuuzo nkumu ebirese nga biyuzizzayuzizza mu Balangira...