
Abatunda ennyama y’enkoko mu kkiro ku luguudo lwa Kafumbe Mukasa.
OKUSUUBULA enkoko z'ennyama bw'ozongerako omutindo ofunamu ekisingako ku kye wandifunye.
Kino kizingiramu okusuubula ezikomye okubiika (off layers) nga bwe ziddamu okulundibwa ne zikyusibwa ekika ky'emmere okuva kw'eyo ey'okubiika ne zidda kw'ezigezza wayita ekiseera kitono ne zeeyongerako omuwendo.
Kino kiba kitegeeza nti, emu gye wasuubula ku 15,000/- eba esobola okuvaamu 20,000/-
oluusi n'okusingawo.
Ate ezo ez'ennyama ezisuubuzibwa ku mwezi gumu ku 12,000/- ne 15,000/- okusinziira
ku bunene ate bw'oddamu okuzirunda zivaamu ssente ezeegasa.
Moses Mugerwa ali mu mulimu guno ku luguudo lwa Kafumbe Mukasa mu Kampala
agamba nti, mu bika by'enkoko byombiriri ky'oyagala ky'ozikola okusinziira ku katale akaba kalabise.
Buli emu oyinza okugifunako amagoba agali wakati wa 5,000/-, 7,000/- oluusi n'okusingawo okusinziira ku bbanga ly'ozzeemu okuzirunda n'endiisa.
Agamba nti okuzitunda mu nnyama ng'omaze okuzitta ate weeyongera okufunamu kuba buli kkiro eri wakati wa 15,000/- ne 16,000/- eyo eba esobodde okuvaamu kkiro ebbiri oba ogiggyamu 32,000/- ate nga ne nkokonkulu n'ebibumba nabyo bitundibwa ku bwabyo.
Binnyonnyoddwa Moses Mugerwa ali mu mulimu guno ku luguudo kwa Kafumbe
Mukasa mu Kampala.