TOP
  • Home
  • News
  • Amasomero ga gavumenti gafunye ssente z'ebikozesebwa ku corona

Amasomero ga gavumenti gafunye ssente z'ebikozesebwa ku corona

Added 7th March 2021

RDC Kalema ng’ali n’omumyuka w’akulira essomero lya Budde UMEA e Butambala.

RDC Kalema ng’ali n’omumyuka w’akulira essomero lya Budde UMEA e Butambala.

OMUBAKA wa gavumenti mu Butambala akoze ebikwekweto mu masomero ag'enjawulo okufuuza abatagondera mateeka ga corona agassibwawo n'alabula abakulira amasomero ku nsimbi ezabaweereddwa gavumenti.

Omumyuka wa RDC wa Butambala, Ssaalongo Fred Kalema atandikidde ku masomero ga gavumenti mu ggombolola y'e Budde mu disitulikiti y'e Butambala n'alabula okuggalira abakulira amasomero gano abanaasangibwa nga tegalina bikozesebwa mu kutangira kirwadde kya ssenyiga omukambwe kubanga baawereddwa ensimbi z'okubigula.

Kalema yategeezezza nti buli ssomero lyaweereddwa akakadde kamu n'ekitundu okugula ebikozesebwa okuli sabbuuni, sanitayiza n'ebirala. Amasomero
agalina abayizi abasoba mu 2,000 gaawereddwa obukadde bubiri n'ekitundu.

Yasabye abakulira amasomero okukozesa obulungi ssente zino nga bagula byonna ebyetaagisa okutangira ekirwadde kino.

Agasseeko nti mu kikwekweto kino kizuuliddwa nti omuwendo gw'abayizi ba P6 gweyongedde olw'abazadde abamu okulemererwa okuzza abayizi mu masomero g'obwannannyini ne basalawo okubatwala mu ga gavumenti.

Amyuka akulira essomero lya Budde UMEA, Swaliki Kintu yategeezezza nti ebiragiro byonna okuli okunaaba mu ngalo, okwambala masiki n'ebirala babitadde mu nkola kyokka n'asaba gavumenti okudduukirira abayizi ba P6 nga babawa masiki nga bwe kyakolebwa ku ba P7 kubanga abazadde abamu tebalina busobozi buzigula.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulabirizi Rt. Rev Kityo Luwalira ng'akwasa Ven. Canon Moses Banja ne mukyala we Rev. Can Dr. Banja Baibuli.

Mwongere okusabira Ssaabasa...

OMULABIRIZI w'e Namirembe Wilberforce Kityo Luwalira, akunze Obuganda okwongera okusabira  Ssaabasajja Kabaka,...

Dombo ng'annyonnyola.

Pulezidenti waakusooka kusi...

Omukulembeze w'eggwanga, Yoweri Kaguta Museveni asazeewo okutandika okusisinkana ababaka ba NRM abapya abaakalondebwa...

Katikkiro Mayiga ng’ayogera.

▶️ Ebibuuzo 10 eri Katikkir...

ABATAKA abakulu b'ebika n'abantu ab'enjawulo bavuddeyo ku byayogeddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga ku mbeera...

Wakabi abatuuze gwe baakubye nga bamulumiriza okumenya ebbaala n'abba.

'Munsonyiwe okubba naye mu ...

KINYOZI bamukwatidde mu bubbi n'asaba bamusonyiwe kubanga  mu saluuni  temuli ssente zimumala kweyimirizaawo....

Abakungubazi nga bakungaanye okulaba agambibwa okumenya emmotoka n'abba eyakubiddwa mu kuziika Fr. Tamale .

Bakubye agambibwa okubba mu...

ABAKUNGUBAZI batebuse omubbi agambibwa okulabiriza Bafaaza nga bali mu Mmisa eyawerekedde munnaabwe Fr. Joseph...