TOP
  • Home
  • News
  • ▶️ Okugema Corona kutandika ku Lwakusatu nga March 10

▶️ Okugema Corona kutandika ku Lwakusatu nga March 10

Added 7th March 2021

Abakungu okuva mu kitongole ky’ebyobulamu oluvannyuma lw’eddagala erigema COVID 19 okutuuka mu ggwanga. Baabadde ku kisaawe e Ntebe.

Abakungu okuva mu kitongole ky’ebyobulamu oluvannyuma lw’eddagala erigema COVID 19 okutuuka mu ggwanga. Baabadde ku kisaawe e Ntebe.

BANNAYUGANDA babagumizza ku ddagala erigema corona eryatuuse mu ggwanga nga bwe litalina buzibu eri obulamu bw'abantu.

Eddagala lya AstraZeneca Vaccine lyavudde mu kitongole ky'ebyobulamu eky'ensi yonna ekya WHO COVAX Facility lyatuuse ku Lwokutaano nga ligenda kuweebwa abantu abali wakati w'emyaka18-50 nga batandikira ku basawo abali ku gw'okujjanjaba ku Lwokusatu.

Eddagala eryaleeteddwa lyakwasiddwa ekibinja okwabadde minisita w'ebyobulamu, Jane Ruth Aceng, abakungu b'ekitongole ky'ebyobulamu mu nsi yonna ekya WHO n'aba Unicef.

Aceng yategeezezza nti omutendera ogusooka okugema gwakutandika nga March 10 okutuuka 15 ng'abagenda okugemwa mulimu abasawo, abaana abasoma n'abakuuma ddembe. Nga March 16-19 abasomesa lwe bagenda okugemebwa ng'eddagala lyonna
limazeewo obuwumbi 2,900 ezaaweereddwayo Gavumenti ya Bungereza.Basuubira okugema abantu obukadde 22 okuli n'abanoonyi b'obubudamu.

Dr. Charles Olaro, dayirekita wa Clinical Servives mu minisitule y'ebyobulamu, yagambye nti eddagala lino terigenda kutandikira mu Uganda okweyambisibwa kuba lizze likozesebwa mu mawanga g'Abazungu agawerako." Olaro bwe yagambye.

Dr. Diana Atwine omuwandiisi w'enkalakkalira owa minisitule y'ebyobulamu yagambye
nti abaafunako covid-19 ne bawona kibakakatako okugemebwa.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

NEZIKOOKOLIMA

▶️ Abaana abakoze ebibuuzo ...

▶️  NEZIKOOKOLIMA: Abaana abakoze ebibuuzo ebyakamalirizo musigale nga mukyali baana awaka.  

Ssempijja ng'asomesa abalimi.

Okugattika ebirime kye kiku...

MINISITA w'obulimi obulunzi n'obuvubi, Vincent Ssempijja asinzidde mu disitulikiti y'e Bukomansimbi n'ategeeza...

Abakristaayo lwe basabira wabweru ku Ssande.

Obulabirizi bw'e Namirembe ...

OBULABIRIZI bw'e Namirembe buyingidde mu nkaayana z'ettaka ly'ekkanisa e Kyanja n'ebugumya Abakristaayo  okusigala...

Jonathan McKinstry (wakati) ng'abuulirira Khalid Aucho (ku kkono) ne Mike Azira (ku ddyo).

Micheal Azira naye annyuse ...

MICHEAL Azira agucangira mu kiraabu ya New Mexico United yeegasse ku bassita ba Cranes babiri abakannyuka omupiira...

Nyombi ng'alaga olubuto mw'afulumira.

Afulumira mu kapiira alaajanye

OMUVUBUKA ow'emyaka 32 alaajana oluvannyuma ly'okumulongoosa ekyenda n'atawona nga kati yeetaaga obukadde butaano...