TOP
  • Home
  • News
  • ▶️ Omukazi eyawambye akatale ka Owino abasuubuzi bamwekengedde

▶️ Omukazi eyawambye akatale ka Owino abasuubuzi bamwekengedde

Added 7th March 2021

Abamu ku basuubuzi abaalumbye ofi isi ya Kushaba.

Abamu ku basuubuzi abaalumbye ofi isi ya Kushaba.

MINISITA wa Kampala alagidde omukyala Suzan Kushaba okwamuka mu bwangu ofi isi za KCCA ze yawambye ne yeerangirira nga y'akulira akatale ka St. Baliddembe (Owino).

Betty Amongi yawadde ekiragiro kino oluvannyuma lw'okusisinkana dayirekita wa Kampala, Dorothy Kisaka ne bakkaanya nti Suzan aggyibwe mu ofi isi mwe yewaηηamizza.

Omuyambi wa minisita Amongi, Edward Sekabanja yagambye nti minisita alagidde RCC wa Kampala Hudu Husseine okukola enteekateeka okufulumya Kushaba kubanga kye yakoze si kituufu.



Minisita okuvaayo kyaddiridde abasuubuzi mu katale kano okwekengera Kushaba
olw'engeri gye yakozesezzaamu ab'ebyokwerinda okuwamba akatale kaabwe nti alabika alina ekigendererwa ekinene.

Abasuubuzi bano abaakulembeddwa abadde ssentebe w'ekibiina kya Coparative, Joseph
Lwanga (era nga ye yakulembedde ekibinja ky'abasuubuzi abalumbye Kushaba okumufulumya mu ofi isi y'abasuubuzi gye yawambye ku Lwokuna emisana) be bekengedde Kushaba olwa kye baayise engeri gye yakozesezaamu ebitongole by'okwerinda omwabadde, poliisi, amagye n'abaserikale ba KCCA.

Bagambye nti ekikolwa kino kiraga nga wandibeerawo abanene abaagala okubatwalako ettaka okutudde akatale kaabwe. Beewuunya nti bw'abeera nga Pulezidenti yalagira abasuubuzi balonde obukulembeze bwe bakkirizaamu, ate Kushaba ayinza atya okuwamba ne yeewaηηamya ku bukulembeze ne basirika.

"Tuli beeraliikirivu olw'engeri abeebyokwerinda gye bayambyemu Kushaba okutwala obukulembeze bw'akatale kaabwe ng'ate abasuubuzi pulezidenti be yalagira okwerondera abakulembeze baabwe mu bbaluwa gye yawandiikira Amongi ne Kisaka gye buvuddeko tebatamulonda," Lwanga bwe yaggumizza.

Yawagiddwa omwogezi w'ebibiina by'abasuubuzi mu St. Balikudembe, Sewalu Ssemakula ne Hamza Rwendeye abaaweze nti tebagenda kukkiriza Kushaba kutwala ttaka ly'abasuubuzi nga yeefuula abalwanirira kubanga ebbanga ery'emyaka egisoba mu 20 gye bamaze nga balwanirira ensonga z'abasuubuzi tebaziyingizangamu mmundu.

Baamusabye okuggya abaserikale mu nsonga z'abasuubuzi kubanga waliwo ebitongole bya gavumenti ng'ekiramuzi ebisobola okugonjoola ensonga
zaabwe awatali kutwala mmundu mu bifo we bakolera.

Abalala okwabadde ssabakunzi w'ensonga z'enkulaakulana mu SSLOA Dan Kasasa n'omumyuka wa ssentebe waayo Livingstone Ssenyonjo beewuunyizza ekikolwa kya Kushaba nga bagamba nti kiraze lwattu nti waliwo abali emabega we.

SUSAN KUSHABA EYAWAMBYE AKATALE KA OWINO Y'ANI

Susan Kushaba

SUSAN Kushaba, yazaalibwa mu 1978, mu disitulikiti y'e Mbarara era nga bazadde be
ye John Rwigambwa ne Grace Rwigambwa.

Kitaawe yaliko kkansala ng'akiikirira Kakoba ku lukiiko lwa disitulikiti e Mbarara. Kushaba okusoma kwe yakutandikira mu Nganwa Junior school gye yamalira pulayimale ne yeesogga Nganwa High School, gombi mu disitulikiti y'e Bushenyi.

Bwe yamaliriza siniya eyoomukaaga, n'afumbirwa era mukazi muzadde alina abaana bana, abalenzi basatu n'omuwala omu.

Okuva mu buto bwe ng'ayagala nnyo okukola bizinensi era ng'amaze okufumbirwa, yatandikawo edduuka eritunda ccakala mu ttawuni y'e Mbarara kyokka bizinensi n'etamutambulira bulungi.

Mu 2000 yayingira Kampala n'apangisa omudaala mu kiyumba kya Nsereko mu katale ka St. Balikuddembe, n'atandika okusuubula engoye enkadde gye yava n'atandika n'okusuubula ‘Produce' (ebinyeebwa, bijanjaalo, kawo n'ebirala).

Alina omudaala ogugwe nnamba C1683 Shade 79 gwe yagula mu December 2011.
Wakati ng'akola emirimu gye, waabalukawo obutakkaanya n'akulira akatale Godfrey Nkajja Kayongo ne John Baptist Kivumbi eyali ssentebe w'ekibiina ky'abasuubuzi eky'obwegassi ekya Cooperative.

Susan agamba nti enkola za Kayongo ze zaamuwaliriza okwegatta ne basuubuzi banne abalala ne batandika okwerwanako basobole okusigaza akatale kaabwe kuba ke kaali kafuuse maama ne taata ku ludda lwabwe nga bamufunampola.

"Okulwanirira omuntu wabulijjo nkikoze okumala emyaka egisoba mu 20 era nga
sisosola mu mawanga," bwatyo Kushaba bwe yategeezezza.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssengoozi ng'alaga tayiro z'akola.

Okukola tayiro okuva mu bis...

“ Nze nabonaabona n'okunoonya emirimu nga n'akamala yunivasitte, kyokka olw’okuba nali nfunye obukugu mu kukola...

Christopher Kasozi ng'awa ebyennyanja emmere.

Abalunzi b'eby'ennyanja bal...

ABALUNZI b’ebyennyanja ku mwalo gw’e Masese e Jinja abeegattira mu kibiina kya ‘’Masese Cage Fish Farmers Co-operative...

Looya wa Ssempala yeekandaz...

LOOYA wa Isaac Ssempala, bba w’omubaka Naggayi Ssempala yeekandazze n’abooluganda ne bava mu kkooti looya bw’alemereddwa...

KCCA ekutte abatundira ku n...

ABASERIKALE ba KCCA bakoze ekikwekweto  mwe bakwatidde abatembeeyi n’abatundira ebintu ku nguudo n’okubowa emu...

Omulangira Ssimbwa

Enfa y'Omulangira Ssimbwa e...

OKUFA kw’Omulangira Arnold Ssimbwa Ssekamanya kuleesewo ebibuuzo nkumu ebirese nga biyuzizzayuzizza mu Balangira...