TOP
  • Home
  • News
  • ▶️ Poliisi egugumbudde abaaziikudde Omusiraamu bamuziike mu kkeesi

▶️ Poliisi egugumbudde abaaziikudde Omusiraamu bamuziike mu kkeesi

Added 7th March 2021

Poliisi ng’ewalabanya omu ku baaziikudde omulambo gwa Ssali.

Poliisi ng’ewalabanya omu ku baaziikudde omulambo gwa Ssali.

AMASASI ganyoose mu kuziika nga poliisi egumbulula ebbiina ly'abavubuka abeeridde omuguju ne baziikula omulambo gwa munnaabwe Omusiraamu aba ffamire gwe baasazeewo okuziika nga tebamusaalidde nga bamulanga okunywa omwenge n'okulya ebitakkirizibwa mu ddiini yaabwe.

Ayub Ssali mutabani wa Hassan Ssali ow'e Muyomba mu ggombolola y'e Wakiso yatomeddwa mmotoka nga kigambibwa nti, yabadde atagalira mu kkubo ekiro ng'atamidde abaffamire ye ne bakkaanya obutamusaalira.



Okuziika kwabaddewo ku Lwokutaano ku kyalo Muyomba mu ggombolola y'e Wakiso
ng'omulambo bwe gwatuusiddwa ku biggya, essaawa bwe zaatuuse ez'okugusaalira balyoke baziike, mayiti baagikunguzza bukunguzza nga tesaaliddwa ne baziika nga tewali kigambo kya Luwarabu kyatuddwa nga bwe gubeera mu kuziika Abasiraamu.

Kino kyaggye mikwano gye mu mbeera naddala b'anywa nabo mu kitundu ky'e Kisimbira mu Wakiso Town Council omugenzi gy'abadde abeera ne balabiriza Abasiraamu nga bavudde emagombe ne batandika okusimula entaana okukkakkana nga mayiti eri kungulu.

Abatuuze Nga Bazzeemu Okuziika Omulambo Gwa Ssali.

Amangu ago beesonzeemu ssente ne batumya kkeesi munnaabwe bamuziike mu ‘kitiibwa', wabula baabadde bakagituusa poliisi n'etuuka mu kifo era n'egibasuuza.
Abaffamire baabadde basazeewo okwokya ssanduuke eno ekintu ekyanyiizizza abatuuze ne baagala okukola olutalo olw'amaanyi eri abaffamire nga bagamba nti oba balemeddwa okuziika mu butuufu bbo (abatuuze) kabamuziike mu ssanduuke.

Asadu Kyabalongo omu ku baffamire yategeezezza nti, bukya baziika ku kiggya kino, tebaziikanga muntu mu ssanduuke nga tebalaba lwaki abatuuze basalawo okubategeerera ne batuuka n'okuziikula omulambo ekintu ekibaswazizza.

"Omugenzi abadde yava ku nnono y'eddiini era naffe tubadde tusazeewo tumuziike nga tetumusaalidde naye ate abatuuze okuvaayo ne baziikula entaana kikyamu," Kyabalongo bwe yayongeddeko.

Oluvannyuma, poliisi yakkirizza abaffamire okuddamu okuziika omulambo wakati mu bukuumi obw'amaanyi ekyaleese abatuuze okulangira ffamire obusosoze.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abasomesa nga baweebwa ebigezo by'amasomero gaabwe.

Enkuba teremesezza bigezo k...

Wadde ng'enkuba yakedde kutonnya mu bitundu by'omu disitulikiti y'e Kalungu teyalemesezza bakulu b'amasomero kunona...

Omuzibizi wa Arsenal eyafun...

Tierney yafunye obuvune mu vviivi era asuubirwa okumala ebbanga eriwerako nga tazannya wabula Arteta agamba nti...

Bassita ba Leicester bameny...

TTIIMU ya Leicester eraze lwaki abazannyi baayo basatu baayo basatu tebaazannye mupiira gwa Premier, West Ham bwe...

Wabaddewo vvaawompiteewo n...

WABADDEWO vvaawompiteewo ku kisaawe kya MTN Arena e Lugogo ng'abakungu ba FUFA balondesa abakulembeze b'omupiira...

Abamu ku bayizi be basabidde.

Abayizi ba S.6 babuuliriddw...

ABAYIZI ba S6 babuuliriddwa okutwala ebigezo eby'akamalirizo bye batandika enkya ng'ensonga kuba kati batandise...