TOP
  • Home
  • News
  • ▶️ 'Bizzonto' bazzeemu okusimattuka ekkomera ne bawaga

▶️ 'Bizzonto' bazzeemu okusimattuka ekkomera ne bawaga

Added 7th March 2021

Ku kkono, Sserwanja, Gold Ki-Maanyi Matono (Opeta) Maliseri Mbabazi ne Peter Ssabakaki (awanise omukono) nga bayimiridde mu kkooti.

Ku kkono, Sserwanja, Gold Ki-Maanyi Matono (Opeta) Maliseri Mbabazi ne Peter Ssabakaki (awanise omukono) nga bayimiridde mu kkooti.

ABAZANNYI ba ‘komedi' abeeyita Bizzonto bazzeemu okusimattuka ekkomera ku misango gy'okukwata obutambi obusiga obukyayi mu mawanga.

Guno mulundi gwakubiri nga Bizzonto basimattuka ekkomera. Ogwasooka gwaliwo mu July, 2020 bwe baakwatibwa ku misango egyekuusa ku butambi bwe baakwata nga kigambibwa nti basiga obukyayi ne batwalibwa ku poliisi.

Baamala ennaku ttaano mu kaduukulu e Kireka ng'ekitongole kya poliisi ekikola ku misango egy'amaanyi okuli obutujju n'okubbisa emmundu ekya Special Investigation Unit (SIU) kikola ogwakyo era ne babateera ku bondi.

Ogwokubiri baatwaliddwa butereevu ku kkooti ya Buganda Road ku misango gye gimu era omulamuzi, Asuman Muhumuza ye yabataasizza n'abakkiriza okweyimirira.

Bano, kuliko; Gold-Ki Maanyi Matono (Opeto), Julius Sserwanja Kidomoole eyeeyita Ssabazonto, Peter Sabakaaki ne Mbabaali Maliseri olwabatadde bazzeemu okuwera nti baakugenda mu maaso n'okukwata obutambi bwabwe kubanga tebamenya mateeka.

Bizzonto bazze bakwata obutambi obuwerako mu ngeri ey'olusaago nga boogera ku nsonga ez'enjawulo n'ebiboozi ebibeerawo ekiseera ekyo nga gye buvuddeko baalumbye n'omusumba Aloysius Bugingo olw'okwogera ku mmotoka ya Bobi egambibwa obutayitamu masasi.

Mu musango ogwabavunaaniddwa kigambibwa nti mu June 2020 baakwata akatambi ne bakasaasaanya ku mikutu gya soso mediya okuli Facebook nga bagamba nti ebifo eby'amaanyi mu ggwanga byaweebwa bantu abava mu ggwanga limu.

Omuwaabi wa gavumenti omukulu (DPP) Jane Frances Abodo agamba nti ebigambo bya Bizzonto byalina ekigendererwa ky'okusiga mu Bannayuganda bakyawe eggwanga eryo.

Baabadde bawombeefu nnyo era olwabasomedde emisango bonna ne bagyegaana.

Baaleese mikwano gyabwe bwe bakola bonna n'abenganda zaabwe okubeeyimirira omulamuzi Muhumuza n'akkiriza okusaba kwabwe ne batatwalibwa mu kkomera.

Yabalagidde okusasula 100,000/; ez'obuliwo era bakomewo nga April 8, 2021 ng'oludda oluwaabi bwerumaliriza okunoonyereza ku musango gwabwe.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssengoozi ng'alaga tayiro z'akola.

Okukola tayiro okuva mu bis...

“ Nze nabonaabona n'okunoonya emirimu nga n'akamala yunivasitte, kyokka olw’okuba nali nfunye obukugu mu kukola...

Christopher Kasozi ng'awa ebyennyanja emmere.

Abalunzi b'eby'ennyanja bal...

ABALUNZI b’ebyennyanja ku mwalo gw’e Masese e Jinja abeegattira mu kibiina kya ‘’Masese Cage Fish Farmers Co-operative...

Looya wa Ssempala yeekandaz...

LOOYA wa Isaac Ssempala, bba w’omubaka Naggayi Ssempala yeekandazze n’abooluganda ne bava mu kkooti looya bw’alemereddwa...

KCCA ekutte abatundira ku n...

ABASERIKALE ba KCCA bakoze ekikwekweto  mwe bakwatidde abatembeeyi n’abatundira ebintu ku nguudo n’okubowa emu...

Omulangira Ssimbwa

Enfa y'Omulangira Ssimbwa e...

OKUFA kw’Omulangira Arnold Ssimbwa Ssekamanya kuleesewo ebibuuzo nkumu ebirese nga biyuzizzayuzizza mu Balangira...