TOP
  • Home
  • News
  • Wasajja ajjukiza Gavumenti ssente Mmengo z'ebanja

Wasajja ajjukiza Gavumenti ssente Mmengo z'ebanja

Added 7th March 2021

Omwami w’eggombolola y’e Ngogwe, Livingstone Kisekka (ali mu kyambalo okuli engabo) ng’alaga Omulangira Wasajja (mu ssuuti wakati)amakula ge baaleetedde Kabaka.

Omwami w’eggombolola y’e Ngogwe, Livingstone Kisekka (ali mu kyambalo okuli engabo) ng’alaga Omulangira Wasajja (mu ssuuti wakati)amakula ge baaleetedde Kabaka.

OMULANGIRA David Kintu Wasajja agambye nti Obwakabaka bwa Buganda bwennyamivu olwa gavumenti okuba nti ekyagaanye okubusasula ensimbi zaabwo ezigibanjibwa eziri mu buwumbi n'obuwumbi kyokka ng'ate abantu abalala wamu n'ebitongole ebirala ebigibanja ensimbi zifunika mangu ne basasulwa.

Yayongedde n'ategeeza nti ezimu ku nsimbi ezisukka obuwumbi 200 ezibanjibwa gavumenti zaalagirwa kkooti zisasulwe okuli ettaka ly'e Kigo nga wano ebanjibwawo obuwumbi buna n'ekitundu, okuli essengejjero lya kazambi mu Lubigi nga wano kkooti yalagira Obwakabaka buweebwe obuwumbi 12!

"Tusaba bannaffe bafune omwoyo ogusasula nga bwe baafunye omwoyo ogwo ne basasula Dodoviko Mwanje (Ez'ekkanisa y'e Ndeeba), Medard Kiconco (ez'ettaka ly'e
Lusanja) n'abalala ng'ate abo ensonga zaabwe zaaluvannyuma nnyo ku nsimbi Obwakabaka ze buzze bubanja," Wasajja bwe yagambye.

Bino yabyogeredde mu Lubiri e Mmengo ng'asisinkanye abatuuze okuva mu ggombolola y'e Ngogwe- Kyaggwe ku Lwokuna nga March 4, 2021 ku mukolo gw'okutongoza okuleeta Amakula ga Kabaka 2021 ne bamubuuza ku nsonga z'ettaka n'agamba nti kyandibadde kirungi ensimbi ezibanjibwa ne ziteekebwa mu mbalirira y'eggwanga eri mu kuteekebwateekebwa era zisasulwe.

Ku Mmande nga March 1, 2021, ekibinja ky'e Mmengo ekyakulembeddwa Omumyuka asooka owa Katikkiro wa Buganda, Polof. Twaha Kaawaase, omuwanika Robert Waggwa Nsibirwa, Omulangira Wasajja, Minisita w'obuwangwa David Kyewalabye Male, akulira Buganda Land Board Simon Kaboggoza n'ekibinja okwali Denis Bugaya ne Bashi Kizito kyasisinkanye Sipiika wa Palamenti Rebecca Kadaga okumwanjulira ensonga y'ebbanja lino.

Omwami w'eggombolola y'e Ngogwe, Livingstone Kisekka yasabye Wasajja okutegeeza Buganda Land Board okugenda okupunta ettaka ly'Obwakabaka kubanga lingi lisengeddwaako ng'eddala waliwo abeesomye okulitunda.

Mu kwanukula, Omulangira Wasajja yategeezezza ng'Obwakabaka bwe bukyalina ebyapa bingi bye bubanja gavumenti eyawakati nga kizibuwala okulondoola ettaka eryo lyonna era n'asinziira wano n'asaba gavumenti ekomyewo ebyapa byonna eri Obwakabaka.

"Tusuubira nti bw'eneekomyawo ebyapa bino kyakuyamba okukendeeza ne ku nkaayana eziri ku ttaka olw'obutamanya bwannannyinni butuufu. Mwe ab'e Kyaggwe mujjukira ettaka ly'e Ggolomolo okwali kuweereddwa Minisita omubeezi ow'amazzi mu ggwanga, Ronald Kibuule naye ng'ebiwandiiko ebituufu biraga nti lya Bwakabaka,"
Wasajja bwe yategeezezza.

Buli mwaka ebitongole bino ebiri mu bizimbe by'Obwakabaka bizze bigerekerwa ssente ez'okusasula obupangisa naye ebbanga liweze ddene ng'Obwakabaka bugamba
tebufuna nsimbi zino!

Kisekka yasabye Mmengo okulaba ng'eteekawo enteekateeka y'okutaliza ebifo by'obuwangwa byonna ebiri mu kitundu kino nga mudda byakukolanga eky'obulambuzi.

Omuwanika w'Enkuluze, John Kitenda yeebazizza abaaleese amakula ga Kabaka era n'ategeeza ng'enkola eno Kabaka mwayita okulabirira abantu abali mu mbiri ate n'okudduukirira abali mu bwetaavu n'agamba nti yeetaaga okunyweza.

Abalala abaaleese amakula kuliko aba Maganjo Grain Millers, Kampala City Abattoirs (Lufuula y'oku luguudo lwa Old Portbell) n'aba Kiddawalime Bakery. Aba Crown Nkula Cultural Troupe ne The Gabriel Ministries be baasanyusizza abantu.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssengoozi ng'alaga tayiro z'akola.

Okukola tayiro okuva mu bis...

“ Nze nabonaabona n'okunoonya emirimu nga n'akamala yunivasitte, kyokka olw’okuba nali nfunye obukugu mu kukola...

Christopher Kasozi ng'awa ebyennyanja emmere.

Abalunzi b'eby'ennyanja bal...

ABALUNZI b’ebyennyanja ku mwalo gw’e Masese e Jinja abeegattira mu kibiina kya ‘’Masese Cage Fish Farmers Co-operative...

Looya wa Ssempala yeekandaz...

LOOYA wa Isaac Ssempala, bba w’omubaka Naggayi Ssempala yeekandazze n’abooluganda ne bava mu kkooti looya bw’alemereddwa...

KCCA ekutte abatundira ku n...

ABASERIKALE ba KCCA bakoze ekikwekweto  mwe bakwatidde abatembeeyi n’abatundira ebintu ku nguudo n’okubowa emu...

Omulangira Ssimbwa

Enfa y'Omulangira Ssimbwa e...

OKUFA kw’Omulangira Arnold Ssimbwa Ssekamanya kuleesewo ebibuuzo nkumu ebirese nga biyuzizzayuzizza mu Balangira...