TOP
  • Home
  • News
  • ▶️ Akabinja k'aba bodaboda ababbi akatadde Kampala ku bunkenke

▶️ Akabinja k'aba bodaboda ababbi akatadde Kampala ku bunkenke

Added 7th March 2021

Abamu ku bavubuka abagambibwa okubbira ku bodaboda abakwatiddwa.

Abamu ku bavubuka abagambibwa okubbira ku bodaboda abakwatiddwa.

AKABINJA k'ababodaboda ababbi katadde abasuubuzi mu Kampala ku bunkenke. Babbye ssente obuwumbi bubiri mu wiiki bbiri zokka eziyise. Ssente zonna bazinyaze misana ttuku.

Akabinja kagazi akalina abantu ku buli siteegi ya bodaboda mu Kampala, Wakiso n'e Mukono. Ekibafuula ab'omutawaana by'ebissi bye bakozesa okuli ejjinja lya minzaani, obutayimbwa, ebyuma ebiringa empeta bye bambala ku ngalo nga buli w'akuba ekikonde ayuzaawo oba okukumenya eggumba. Akabinja keeyita ‘Whatsapp Boys'.

BABBYE BUWUMBI
Omu ku be babbye ye Martin Sserugga akola nga "agenti" wa bbanka. Yanyagiddwako obukadde 60 mu katale e Bugoloobi. Nga February 27, yavuga emmotoka ye n'akung'aanya ssente mu bifo awali bagenti ba banka. Bwe yava mu mmotoka okuyingira akatale e Bugoloobi ne yeekengera abasajja nga bataano nga bamwetoloola omu n'amukuba ekikonde ekyamuwogodde oluba n'agwa wansi.

Mu ddakiika emu yokka baabadde bamaze okuggya ssente obukadde 60 mu mmotoka
ne balinnya bodaboda ne bagenda. Kyategeerekese luvannyuma ng'ababbi bonna awamu baabadde 16.  Bakwetoloola ne bakunyaga okusinziira ku mbeera y'ekitundu we bakuzingirizza.

Abeebyokwerinda balowooza nti akabinja kalina abantu baako abaketta amaduuka amenene, ebibanda ebivungisa ssente ne bbanka oba bagenti ba bbanka. Kubanga kumpi bonna abanyagiddwa baba batwala ssente oba okuziggya mu banka.

Abamu ku be babbye babalondoola ng'ababbi bali ku bodaboda. Bwe bakuzingiza awali
abantu bakukuba balekaana nga bakutaddeko eky'obubbi era mu kavuvung'ano ako we batwalira ssente kubanga baba bazimanyi nti ozirina.

Omu ku be babbye, baamusazeeko ne bodaboda nga 20 nga beefudde aba bodaboda abakutte eyabbye pikipiki ya munnaabwe.

"Bakira bamukuba baleekaana nga bwe bakooye ababba pikipiki zaabwe n'okubatta.
Abantu abaakung'aanye okulaba ogubadde baasanze misoni ewedde", omu ku baabadde mu kifo awaabadde obubbi bwe yagambye.

Ab'e Bugoloobi we baamanyidde ng'abadde akubwa ye Sseruga nga ssente obukadde
60 bazitutte. Yabadde agudde okumpi n'emmotoka ye, ng'alina ekiwundu ku mutwe nga n'oluba baluwogodde. Olwo ng'ababbi bagenze.  Yatwaliddwa mu ddwaaliro kyokka eggulo yategeezezza Bukedde nti agenda assuuka.



Yasembyeyo okutegeera we baamukubidde ekikonde okudda engulu ng'ali mu ddwaaliro. Kye yasembyeyo okujjukira kwe kusimba emmotoka ku katale e Bugoloobi n'alaba abavubuka nga bataano nga bamusalako.

Poliisi yategeezezza nti misoni eno yakoleddwa ababodaboda 16 nga bakozesa pikipiki munaana.

Omusango gw'okunyaga Sserugga gwagguddwawo ku poliisi ya Jinja Road ku fayiro
CRB 25/2021.

ENGERI KKAMERA GYE ZAABAKUTTE NGA BEENYIGIRA MU BUBBI

KYOKKA ebyabaddewo e Bugoloobi, kamera zaabikutte era poliisi ze yakozesezza okulaba ennamba za pikipiki ezaakozeseddwa n'ekwata abamu ku bali mu kabinja kano mwenda. Bano yaboogezza engeri gye bakolamu misoni ng'abasinga kukolera mu Kampala, Wakiso ne Mukono.

Omuchina baamubbye ddoola 320,000 (ddoola emu erimu eza Uganda 3,750/-)
Omuchina Qui-Bal- Ying 52, baamunyaze ddoola emitwalo 32. Yabadde ku pikipiki eyamuggye ku Pioneer Mall mu Kampala nga February 26, ng'agenda Kawempe gy'asula. Yabadde n'ensawo omuli ssente. Buli lunaku ssente azitambuliza ku pikipiki.

Baamulondodde ne bakwata olw'e Gayaza okutuuka e Kyebando ewa Mambule ne bakwata oluva ewa Mambule okudda e Bwaise we baamuzingirizza. Baamukubye ejjinja lya minzaani ku mutwe n'ava ku pikipiki n'agwa ne bamutwalako ssente zonna ne bamuleka ng'ataawa.

Owabodaboda eyabadde amuvuga, Patrick Dong yakwatiddwa poliisi. Omwogezi
w'ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku misango. Charles Twine yagambye nti akatambi kamera ke zaakutte kaalaze nga misoni yonna baagikoze mu ddakiika emu yokka. Omusango guli ku fayiro CRB 236/2021 e Kawempe.

Omuyindi bamubbye obukadde 46
Omuyindi Bhatt Ravi Kumar baamuzingizza ku bitaala ewa Bakuli nga February 19. Ssente yabadde azitambuliza mu nsawo gye baamunyazeeko. Omusango guli ku poliisi ya Old Kampala ku fayiro SD 80/19/02/2021.

Abamu Ku Baakwatiddwa Abali Mu Kabinja.

Omuyindi omulala bamubbye bukadde e Kibuli
Sammer Sahareshi Kumar 34, omukozi wa kkampuni ya Kiboko Enterprises baamyazeeko obukadde 25 nga January 29. Baamuteeze mu Kakungulu zooni e Kibuli. Omusango guli ku fayiro CRB 110/2021 e Kabalagala. Bamunyaze 100,000 (Euro)

Omuyindi omulala Kusha Mohan Konnakutty baamutaayizza okumpi ne Bank of Africa ku Jinja Road nga February 9.

Yabadde ne ssente za Euro emitwalo 10 (mu za Uganda obukadde 440). Yavudde ku Diamond Trust Bank ku Kampala Road. Yabadde atambulira ku bodaboda n'agivaako okusasula eyamuvuze. Wano ababodaboda abaabadde ku siteegi ne beefuula
abalwana naye we baamukubidde n'agwa ku ttaka ne banyaga ensawo. Aba bodaboda bonna baabuzeewo.

Poliisi bye yaakazuula biraga nga ssente baazigabanidde ku kisaawe e Mulago. Omusango guli ku CPS ku fayiro CRB 218/2021.

Waliwo Omuchina yabadde avuga pikipiki ng'emabega asibyeko bokisi omuli ssente.
Baamubidde ku bitaala bya Jinja Road okumpi ne Kitgum House. Pikipiki baagitutte n'ensawo okuli ssente.

BANZIBIRA MU JJAAMU - KOMUHIMBO

SANDRA Komuhimbo baamunyagira ku Northern Bypass e Kyebando nga February
20. Agamba nti yali mu mmotoka mu jjaamu ku ssaawa ng'emu n'eddakiika 45 akawungeezi.

Omusajja yaggula oluggi lw'emmotoka ye n'asika ensawo n'abula nayo. Ensawo
yalimu densite, kaadi za bbanka ne ssente. Bino byasangiddwa n'omu ku baakwatiddwa ayitibwa Samuel Ssettimba.

Abaakwatiddwa kuliko; Samuel Ssettimba ow'e Kawaala- Kasubi, Julius Mugisha ow'e Wakiso, Charles Mutawunga, Kassim Ssozi, Patrick Ddondo ne Richard Kamugisha ab'e Nakulabye. Abalala ye Awar Kajjubi, Ivan Kabuye ne Baker Ddungu ab'e Kazo mu zooni ya Angola e Kawempe.

Twine yagambye nti, kkamera za poliisi zizze zikwata akabinja kano mu bifo eby'enjawulo mwe babadde banyagira abantu wabula pikipiki ezisinga, nnamba zaazo baziweta nga kizibu okuziraba ku kkamera n'abantu ba bulijjo kyokka
ezimu baasobodde okukozesa tekinologiya ne bazitegeera.

Abamu ku bali mu kabinja kano baakwatibwako dda kyokka ne batoloka ku mmotoka
ya poliisi eyali ebatwala mu kkomera e Kitalya.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssengoozi ng'alaga tayiro z'akola.

Okukola tayiro okuva mu bis...

“ Nze nabonaabona n'okunoonya emirimu nga n'akamala yunivasitte, kyokka olw’okuba nali nfunye obukugu mu kukola...

Christopher Kasozi ng'awa ebyennyanja emmere.

Abalunzi b'eby'ennyanja bal...

ABALUNZI b’ebyennyanja ku mwalo gw’e Masese e Jinja abeegattira mu kibiina kya ‘’Masese Cage Fish Farmers Co-operative...

Looya wa Ssempala yeekandaz...

LOOYA wa Isaac Ssempala, bba w’omubaka Naggayi Ssempala yeekandazze n’abooluganda ne bava mu kkooti looya bw’alemereddwa...

KCCA ekutte abatundira ku n...

ABASERIKALE ba KCCA bakoze ekikwekweto  mwe bakwatidde abatembeeyi n’abatundira ebintu ku nguudo n’okubowa emu...

Omulangira Ssimbwa

Enfa y'Omulangira Ssimbwa e...

OKUFA kw’Omulangira Arnold Ssimbwa Ssekamanya kuleesewo ebibuuzo nkumu ebirese nga biyuzizzayuzizza mu Balangira...