TOP
  • Home
  • News
  • Ssebwana akuutidde abavubuka ku buweereza mu kukola bulungibwansi

Ssebwana akuutidde abavubuka ku buweereza mu kukola bulungibwansi

Added 7th March 2021

Ssebwana Kiberu (ku ddyo) ng’akulembeddemu Bannabusiro okukola bulungi bwansi e Kajjansi.

Ssebwana Kiberu (ku ddyo) ng’akulembeddemu Bannabusiro okukola bulungi bwansi e Kajjansi.

OMWAMI wa Ssaabasajja atwala Essaza ly'e Busiro, Ssebwana Charles Kiberu Kisiriiza, akuutidde Abavubuka abaalondeddwa mu bifo by'obukulembeze ku mitendera egy'enjawulo okukola obutaweera baweereze abantu abaabeesize ne babalonda.

Ssebwana, Kiberu okwogera bino yasinzidde mu Tawuni kkanso y'e Kajjansi ng'akulembeddemu Bannabusiro mu kukola Bulungibwansi ng'egimu ku mikolo egyakulembeddemu okulambula kwa Ssaabasajja mu Ssaza ly'e Busiro gye yaggaliddewo emipiira gy'amasaza mu kisaawe e Kitende.

Ssebwana yategeezezza nti balina essuubi ddene mu bavubuka abaalondeddwa
mu bifo eby'enjawulo kubanga bamanyi bulungi ensonga ezinyiga bavubuka bannaabwe naddala ebbula ly'emirimu.

Yagambye nti enkulakulana yonna yeesigamizibwa ku bukulembeze obusoosowaza ensonga ezikwata ku muntu waabulijjo.

Yasiimye abeenyigidde mu bulungi bwansi n'ategeeza nti Kabaka ayagala abantu abalamu.
Janaati Namusoke, akulira bulungibwansi mu Ggombolola ya Musaale Ssisa yasabye abazadde okwewala okusindika abaana baabwe okuyiwa kasasiro mu myala.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssengoozi ng'alaga tayiro z'akola.

Okukola tayiro okuva mu bis...

“ Nze nabonaabona n'okunoonya emirimu nga n'akamala yunivasitte, kyokka olw’okuba nali nfunye obukugu mu kukola...

Christopher Kasozi ng'awa ebyennyanja emmere.

Abalunzi b'eby'ennyanja bal...

ABALUNZI b’ebyennyanja ku mwalo gw’e Masese e Jinja abeegattira mu kibiina kya ‘’Masese Cage Fish Farmers Co-operative...

Looya wa Ssempala yeekandaz...

LOOYA wa Isaac Ssempala, bba w’omubaka Naggayi Ssempala yeekandazze n’abooluganda ne bava mu kkooti looya bw’alemereddwa...

KCCA ekutte abatundira ku n...

ABASERIKALE ba KCCA bakoze ekikwekweto  mwe bakwatidde abatembeeyi n’abatundira ebintu ku nguudo n’okubowa emu...

Omulangira Ssimbwa

Enfa y'Omulangira Ssimbwa e...

OKUFA kw’Omulangira Arnold Ssimbwa Ssekamanya kuleesewo ebibuuzo nkumu ebirese nga biyuzizzayuzizza mu Balangira...