TOP
  • Home
  • News
  • Abakuba obutayimbwa basitudde enkundi e Kyotera

Abakuba obutayimbwa basitudde enkundi e Kyotera

Added 7th March 2021

Catherine Namaato baamusala Catherine okutu ng’ava okukola..

Catherine Namaato baamusala Catherine okutu ng’ava okukola..

BANNAKYOTERA beeraliikirivu olw'akabinja k'abanyazi akateega abantu nga bava okukola ne babakuba obutayimbwa ku mitwe ne babanyagako ebintu okuli amassimu, obusawo omuli ssente, laaputopu n'ebirala.

Omuze guno gwatandika mu December ng'abakola bino bateega abantu ababa bannyuka okudda ewaka okweyuna kafiyu obutabakwata.

Kigambibwa nti aboobutayimbwa babateega okumpi ddala n'amaka gaabwe ng'abamu babeera basalinkiriza mu bukuubo okutuuka we basula ate abalala babateega
ku geeti nga bayingira amaka gaabwe!

Kati abantu abawerako balozezza ku bukambwe bw'abanyazi ne balaajanira ab'ebyokwerinda naddala poliisi y'e Kyotera n'ekitongole ekirwanyisa ebikolwa eby'obumenti bw'amateeka okuvaayo okubayamba okutwata ababbi bano.

Abantu abawerako bakubiddwa obutayimbwa ne banyagibwaako ebyabwe nga ku bano kuliko Agnes Nassaazi abeera mu Zooni ya Kinaankole.

Ono baamukubye ayingira geeti awaka. Omulala ye Aisha Babirye baamukubye
adda waka kw'ossa Sharif Lubega gwe baakubye ne bamwasa okutu ng'annyuse adda
waka mu Mitukula Cell!

Agnes Nasaazi Eyakubiddwa Omuggo Ku Mutwe N'ayisibwa Bubi .

Abalala kuliko; Faridah Nakato gwe baasalaasala ebiso ku mikono ng'alemedde akasawo omuli ssente bwe yali ava okukola ku mudaala gwe okumpi n'essundiro
ly'amafuta erya Total e Kyotera.

Ate Catherine Namaato baamusala okutu ng'adda awaka ku Bbibiro waakati mu kibuga Kyotera.

Abakulembeze ba Kyotera Cell nga bakulembeddwaamu Ssentebe w'ekyalo, Tom Mulindwa baatuuzizza olukiiko mwe basinzidde okugoba omubuvuka Nuuwa Mawagali ku kyalo nga bamuteebereza okwenyigira mu bumenyi bw'amateeka.

Omuduumizi wa poliisi e Kyotera, Hassan Hiwumbire yategeezezza nti poliisi ng'eri n'ekitongole kya Crime Intelligence e Kyotera banoonyereza ku bali emabega w'okutigomya abantu.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abasomesa nga baweebwa ebigezo by'amasomero gaabwe.

Enkuba teremesezza bigezo k...

Wadde ng'enkuba yakedde kutonnya mu bitundu by'omu disitulikiti y'e Kalungu teyalemesezza bakulu b'amasomero kunona...

Omuzibizi wa Arsenal eyafun...

Tierney yafunye obuvune mu vviivi era asuubirwa okumala ebbanga eriwerako nga tazannya wabula Arteta agamba nti...

Bassita ba Leicester bameny...

TTIIMU ya Leicester eraze lwaki abazannyi baayo basatu baayo basatu tebaazannye mupiira gwa Premier, West Ham bwe...

Wabaddewo vvaawompiteewo n...

WABADDEWO vvaawompiteewo ku kisaawe kya MTN Arena e Lugogo ng'abakungu ba FUFA balondesa abakulembeze b'omupiira...

Abamu ku bayizi be basabidde.

Abayizi ba S.6 babuuliriddw...

ABAYIZI ba S6 babuuliriddwa okutwala ebigezo eby'akamalirizo bye batandika enkya ng'ensonga kuba kati batandise...