TOP
  • Home
  • News
  • Nabilah atabuse ne bba, birimu Polof. Baryamureeba

Nabilah atabuse ne bba, birimu Polof. Baryamureeba

Added 8th March 2021

Nabilah ne bba

Nabilah ne bba

OMUBAKA wa Kampala Nabirah Naggayi Ssempala atabuse ne bba Isaac Ssempala! Olutalo lwabwe lulimu Polof. Baryamureeba eyali akulira yunivaasite y'e Makerere era yeesimbawo ku bwapulezidenti mu kalulu ka 2016.

Olutalo luno lutemyemu ne ffamire ya Bassebaggala nga kigambibwa nti balamu ba Nabilah kumpi bonna nabo baamutabukidde nga bamulumiriza okujooga muganda waabwe n'atuuka n'okumugoba mu nnyumba gye yeezimbira.

Isaac Ssempala muto w'omugenzi Haji Nasser Ntege Ssebaggala (Seya) era abadde
abeera Canada okumala emyaka, wabula yakomawo nga Seya afudde mu September 2020 era olutalo lwe ne mukazi we nti lwatandikirawo okutuusa wiiki ewedde, lwe lwasajjuse.

BBA WA NABILAH ADDUKIDDE KU POLIISI
Ssempala yagenze ku poliisi e Kabalagala n'aloopa Polof. Venansius Baryamureeba gw'alumiriza nti yamulumbye mu makaage agasangibwa e Makindye n'atiisatiisa
okumutuusaako obulabe.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano Patrick Onyango yakakasizza nti bagguddewo omusango ku poliisi e Kabalagala era bakyagunoonyerezaako, wabula n'agaana okunnyonnyola ebisingawo ng'agamba nti engeri ensonga ezo gye zirimu ebya ffamire, poliisi efuba okuzikwata n'obwegendereza.

Nabilah

Wabula Baryamureeba naye azzizza omuliro ku nsonga Ssempala z'amulumiriza era
eggulo yafulumizza n'ekiwandiiko ng'alambulula ku nsonga zonna.

Akakuubagano akaliwo kaawalirizza Haji Meddie Ssebaggala (muganda wa Ssempala),
okuyita Nabilah ne bba ne batuula mu nsonga z'amaka gaabwe wabula ensonda
zaategeezezza nti ebibatabula ebirala byonna byabadde bigonjoddwa, naye bwe baatuuse ku linnya Baryamureeba, awo olukiiko we lwakomye nga Ssempala avudde
mu mbeera - takyasalikako musale.

EBITABULA NABILAH NAGAYI NE BBA
Nabilah ne bba nti baali bakolagana bulungi era mu 2013 ne bakkaanya omusajja
agende e Canada asobole okubeera n'abaana baabwe abana be baali basindise okusomera eyo.

Isaac Ssempala yasangibwa ng'alina bizinensi n'enkolagana n'abamu ku mikwano gye e Canada era teyakisangamu buzibu kuleka mukazi we Kampala agende e Canada mu baana.

Kyokka abali ku ludda lwa Nabilah bagamba nti omusajja okutuuka okusalawo okugenda e Canada yali mu bizibu ng'amabanja gamuli mu bulago nti era n'amaka gaabwe agasangibwa e Buziga mu Kampala nti yali agasinze mu bbanka ya Equity era nga n'ebbanja limuzitoweredde. Ekyapa ky'ennyumba eno eri ku Block 273 Plot 5 ku luguudo oluyitibwa Katuso e Buziga nti Ssempala yaleka akisinze mu Equity Bank (U) Limited.

Ssempala Bba Wa Nabilah

Ssempala ne Nabilah nti baasigala bawuliziganya bulungi era olumu nga Ssempala akomawo mu Uganda ate olulala nga Nabilah y'agenda e Canada okubeerako ne ffamire ye eyali emaze okufuna ennyumba ku luguudo Edmonton Avenue mu Ssaza ly'e Alberta mu Canada.

Wadde Ssempala yalinamu ekirowoozo kya mukazi we okumwegattako e Canada babeere eyo, Nabilah yamutegeeza nti tayinza kulekawo mulimu gwa bubaka bwa Palamenti kubanga gwe gwali guvaamu n'ensimbi ezibadde ziyambako abaana okusomera mu masomero ag'ebbeeyi.

Kino Ssempala yakkaanya nakyo era n'agumira omukwano gw'ewala. Kyokka ensonda mu ffamire ya Bassebaggala zaategeezezza nti Ssempala abadde ajja afuna amawulire agalaga nti mukazi we alina abantu b'akolagana nabo mu ngeri etali nnambulukufu.

Erinnya lye bazze bamuwa nti nga lya Polof. Baryamureeba. Ssempala bwe yajja okuziika Seya nti yasalawo abeerere ddala wano era Nabilah n'atandika okumubuuza lw'addayo.

Ssempala nti yasooka kutegeeza mukazi we nti kyandigwanidde abeerewo nga banoonya akalulu ka Loodi Mmeeya amuwe obuwagizi.

Akalulu olwawedde nga Nabilah awanguddwa Erias Lukwago nti omukazi n'attukiza ekya bba okuddayo e Canada abeere mu baana. Omusajja nti kwe kutegeeza Nabilah nti akyali mu Uganda kubanga n'omwana waabwe omukulu awezezza emyaka 18 era yamutendeka bulungi asobola okulabirira banne kasita basigala nga babaweereza ssente ez'okugula ebyetaago.

Polof. Baryamureeba

Kigambibwa nti awo obutakwatagana we bwasajjukidde era Nabilah n'ategeeza bba nti talina lukusa lubeera mu nnyumba kubanga yaleka agisinze mu bbanka era nga mu kiseera kino Polof. Baryamureeba eyabawola ssente y'agirinako obwannannyini.

Ssempala nti bwe yalabye ng'akakuubagano keeyongedde nnyo omwezi oguwedde, kwe kusalawo okwewogomako ewa muganda we; wabula kyamubuuseeko okudda awaka n'asangawo abakuumi ne bamutegeeza nti balina ebiragiro obutakkiriza muntu yenna kuyingira kikomera kubanga ennyumba yazze mu mikono gya Baryamureeba.

Omu ku bayambi ba Ssempala yategeezezza nti Ssempala yatabuse n'abuuka ekikomera n'agwa munda era nti kino kye kyawalirizza Baryamureeba okujja n'asanga Ssempala mu maka n'amulagira agaveemu kubanga yagagula.

Omu ku booluganda lwa Ssempala yategeezezza Bukedde nti ekya Baryamureeba okufuna obwannannyini ku nnyumba eno bakirabamu katemba eyeetooloolera ku nkolagana ya Nabilah ne Baryamureeba, etali nnambulukufu.

Oluyombo olwabaddewo wakati wa Baryamureeba ne Ssempala lwe lwawalirizza Ssempala okugenda ku poliisi e Kabalagala n'aggulawo omusango gw'okugezaako okumutuusaako obulabe, ogukyanoonyerezebwako poliisi.

Oluvannyuma lwa poliisi okubiyingiramu, bakanyama abaateekebwawo Baryamureeba baavuddewo, era Ssempala n'adda mu nnyumba wakati mu kutya ku binaddirira.

Kigambibwa nti mu lutalo luno, Nabilah akwatagana ne Baryamureeba era Nabilah yava awaka nga ne gy'asula kati Ssempala tamanyiiyo.

Ssempala bwe yatuukiriddwa yagaanyi okwogera ku by'amaka gaabwe kyokka yayambalidde Baryamureeba okulemera ku maka ye Ssempala ge yeezimbira nga n'engeri gy'ayogerako gye yagafunamu tetegeerekeka.

Nabilah teyasobose kufunika kutangaaza ku nkwatagana yaabwe ne Baryamureeba n'akakwate k'alina ku maka gaabwe.

Amaka Agavuddeko Obuzibu.

BARYAMUREEBA ALAMBULUDDE
Mu kiwandiiko Baryamureeba kye yaweerezza eggulo yalambuludde nti yasooka okusisinkana Nabilah mu 2005 nga Nabirah ali mu kibiina kya SDP ate Baryamureeba ng'ali mu National Progressive Movement (NPM) oluvannyuma eyafuuka Peoples Progressive Party (PPP). Nti baasisinkana Kiwaatule ewa Bidandi Ssali eyali akulira PPP.

Yagambye nti mu 2006, nga beetegedde bulungi mu byobufuzi, baamusaba obuyambi bwa ssente za kkampeyimi nga Nabilah atandika okuvuganya ku bubaka bwa palamenti obwa Kampala era yabawagira mu bya ssente era Nabilah n'awangula.

Nti okuva 2006 okutuuka 2010 yategeera nti bba wa Nabilah teyalina mulimu gwa nkalakkalira era yali akozesa ennyumba ye okufuna ssente era amabanja gaatuuka ekiseera ne gamulemerera.

Yamenye nti Equity Bank, Pesa Finance Ltd n'abasuubuzi ab'enjawulo baali bamubanja era mu 2013 yawalirizibwa okufuluma eggwanga ng'abamu baagala kumukwata n'okutwala ennyumba ye.

Nti Nabilah yeeyimirira bba n'asaba Baryamureeba amuwe ssente anunule amaka era yazimuwa. Yamuwa obukadde 400 ate n'amwongera n'endala 450 nga basinzeeyo ennyumba eri e Canada ng'eri mu mannya ga Isaac Ssempala.

Baryamureeba yalambuludde nti ebiwandiiko byonna byakolebwa bannamateeka era ne babiweereza Ssempala e Canada n'abiteekako omukono. Kyokka bino Ssempala yabyegaanyi n'agamba nti talina kiwandiiko kyonna kye yali ataddeko omukono ng'atunda ennyumba ye oba okwewola ku Baryamureeba.

Baryamureeba agamba nti Ssempala yalina okumusasula obukadde 850 ng'olwa March 1, 2021 terunnayita era bwe byamulemye kwe kumutegeeza ave mu nnyumba.

Kyokka Ssempala yamwanukudde nti bw'aba alina enkolagana endala ne Nabilah ate tekimutwaza byabugagga bye (ebya Ssempala) bye yakola mu ntuuyo ze.

NABILAH NAGGAYI SEMPALA Y'ANI?
OKUSINZIIRA ku mukutu gwa Palamenti kwe bateeka ebikwata ku babaka, yatuula P7 ku Kibuli Demostration School mu 1986.
1. Yazaalibwa April 23, 1972 era omwezi ogujja agenda kuweza emyaka 50
2. 1990 yatuula S4 ku Kibuli SSS
3. 1992 yatuula S6 ku Mengo SS
4. 1994 yafuna dipuloma okuva mu Saarland University, Germany
5. 1996 yafuna diguli ya Bachalor of Arts) mu yunivasite e Makerere
6. 2011 yasoma diguli eyookubiri mu by'obukulembeze (Master of Arts in Public Administration) e Makerere.
7. Yaliko kkansala ku disitulikiti e Wakiso wakati wa 2002-2006
8. Yakolako nga kitunzi mu Cairo Bank mu 2001
9. Yali kitunzi mu Air France wakati wa 1997-1998
10.Ye mubaka omukazi akiikirira Kampala mu Palamenti ku kaadi ya FDC okuva 2006 okutuusa kati.
11. Okulonda okuwedde yasaze eddiiro ne yeegatta ku kibiina kya NUP, yavuganyizza ku kifo kya Loodi Mmeeya wa Kampala ne bamuwangula.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulabirizi Rt. Rev Kityo Luwalira ng'akwasa Ven. Canon Moses Banja ne mukyala we Rev. Can Dr. Banja Baibuli.

Mwongere okusabira Ssaabasa...

OMULABIRIZI w'e Namirembe Wilberforce Kityo Luwalira, akunze Obuganda okwongera okusabira  Ssaabasajja Kabaka,...

Dombo ng'annyonnyola.

Pulezidenti waakusooka kusi...

Omukulembeze w'eggwanga, Yoweri Kaguta Museveni asazeewo okutandika okusisinkana ababaka ba NRM abapya abaakalondebwa...

Katikkiro Mayiga ng’ayogera.

▶️ Ebibuuzo 10 eri Katikkir...

ABATAKA abakulu b'ebika n'abantu ab'enjawulo bavuddeyo ku byayogeddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga ku mbeera...

Wakabi abatuuze gwe baakubye nga bamulumiriza okumenya ebbaala n'abba.

'Munsonyiwe okubba naye mu ...

KINYOZI bamukwatidde mu bubbi n'asaba bamusonyiwe kubanga  mu saluuni  temuli ssente zimumala kweyimirizaawo....

Abakungubazi nga bakungaanye okulaba agambibwa okumenya emmotoka n'abba eyakubiddwa mu kuziika Fr. Tamale .

Bakubye agambibwa okubba mu...

ABAKUNGUBAZI batebuse omubbi agambibwa okulabiriza Bafaaza nga bali mu Mmisa eyawerekedde munnaabwe Fr. Joseph...