
Abasuubuzi b’ennyaanya ku kafumbe Mukasa Road mu Kampala.
BBEEYI y'ennyaanya erinnye abasuubuzi n'abaguzi ne batabulwa.
Joyce Namukasa omu ku basuubuzi b'ennyaanya mu Kampala agamba nti engeri bbeeyi gy'erinnye, ebatabudde kubanga abaguzi bangi batuuka ku mudaala ne bakkakkana nga balemereddwa okugula.
Agamba nti ku Lwomukaaga ennyaanya zaayongedde okubula n'okulinnya nga bbookisi ebadde wakati wa 450,000/- ne 500,000/- yalinnye n'etuuka.ku 600,000/- n'okusingawo kyokka ng'ekisinga okubakosa ezisinga si za mutindo mulungi.
Yagambye nti embeera eno yandikosa bizinensi zaabwe.