
Sheikh Kibuule
DISITULIKITI Khadhi w'e Lwengo, Sheikh Ismeal Ibrahim Kibuule alabudde Abasiraamu okukomya okukola ebiraamo ebivuddeko baamulekwa ne bannamwandu okutabulwa.
Yabadde asisinkanye Abasiraamu ku mizikiti egy'enjawulo okuli Nakateete Masigid Salf, Bijaaba Masig Salaf, Lwentale ne Mpumudde ku ngeri gye balina okukomya okukola ebiraamo ebivaako okweyawulamu n'okuvumaganya Obusiraamu.
Okuvaayo n'asomesa Abasiraamu kivudde ku ngeri Abasiramu gye bakolamu ebiraamo
ne baleka abaana baabwe ne bannamwandu nga babeevuma.
Yagambye nti kino balina kukirekera ba disitulikiti Khadi so si ba Imaam b'emizikiti.