TOP
  • Home
  • News
  • Obukama bwa Tooro buyingidde mu by'okuziika looya Kasango

Obukama bwa Tooro buyingidde mu by'okuziika looya Kasango

Added 9th March 2021

Amaka ga Kasango (mu katono) e Butabika mu munisipaali y’e Nakawa.

Amaka ga Kasango (mu katono) e Butabika mu munisipaali y’e Nakawa.

OLUVANNYUMA lwa ffamire okulemererwa okutuuka ku kukkaanya ku by'okuziika munnamateeka Bob Kasango eyafiira mu kkomera e Luzira, Obwakabaka bwa Tooro ne Japadhola, busazeewo okuyingira mu nsonga zino.

Sunday Peter Rusoke, minisita avunaanyizibwa ku by'obuwangwa, mu bwakabaka bwa Tooro, yategeezezza nti waliwo omu ku booluganda lw'omugenzi gw'ataayagadde kwatuukiriza mannya eyamukubidde essimu nga baagala babayambeko okuperereza nnamwandu basobole okuziika e Tororo mu kifo kya Tooro.

   Maama Wa Kasango, Rose Kabise.

Rusoke agamba nti bano yabawadde amagezi basooke baleke nnamwandu akungubagire
bba kubanga ayita mu bulumi bungi mu kiseera kino.

Yagaseeko nti bo tebalina buyinza kugaana kuziika Kasango ku ttaka lyabwe kubanga
yaligula n'ekirala baamuzaala ng'omwana oluvannyuma lw'okufuuka mukoddomi waabwe.

Okusinziira ku Andrew Mwenda, eby'okuziika Kasango byayimiriziddwa oluvannyuma lw'enjuyi zonna ezikaayanira omulambo gwe okuguziika okulemererwa okutuuka ku kukkaanya.

Mu kiseera kino, ensonda mu ffamire ziraga nti basazeewo abakulu b'Ekika kye be baba basalawo gy'anaaziikikwa kyokka nga ne nnyina Rose Kabise akyakombye ku erima nti mutabani we alina kuziikibwa wuwe.

Ab'Ekika kya Kasango bagamba nti omugenzi mwana waabwe era nga amannya ge amatuufu ye Bob Robert Okello ava mu kika kya Nyapolo Orangi mu lunyiriri lwa Oboth Aripa.

Omukulu w'Ekika Muzeeyi John Okoth eyakubirizza olukiiko, ng'ayagala bamuziike e
Atiri, oba ku ttaka ly'Obuwangwa e Maguria mu disitulikiti y'e Tororo.

Kasango eyafiiridde mu kkomera e Luzira, ayogerwako ng'omusajja abadde omugezi era nga ne bannamateeka banne bamutya olw'obukujjukujju n'amagezi agabadde gamwesera.

Wadde nga tabadde mukulu kigenze wala, abadde akolagana n'abanene mu ggwanga ku buli mutendera kyokka ng'enkolagana yaabwe ekomekkereza eweddewo ng'entabwe eva ku ssente.

Nnaabakyala wa Tooro, Best Kemigisha yawa Kasango obuyinza obumubanjira akawumbi kamu n'obukadde 400, kyokka oluvannyuma n'azezza.

Ensonga zaabwe zaggwera mu kkooti era omulamuzi n'alagira Kasango okuliyirira Kemigisa obuwumbi busatu mu musango gwe yali amuwawaabidde

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Wabaddewo vvaawompiteewo n...

WABADDEWO vvaawompiteewo ku kisaawe kya MTN Arena e Lugogo ng'abakungu ba FUFA balondesa abakulembeze b'omupiira...

Abamu ku bayizi be basabidde.

Abayizi ba S.6 babuuliriddw...

ABAYIZI ba S6 babuuliriddwa okutwala ebigezo eby'akamalirizo bye batandika enkya ng'ensonga kuba kati batandise...

Fr. Dominic Kagoye  ng'akwasa Kironde (afukamidde wansi ) pikipiki gye baamutonedde,nnyina (mu gomesi) n'abaana be.

Omusomesa eyaziba amaaso ki...

Eyali Omusomesa wa Siniya okubala ne 'Physic's eyaziba amaaso mu ngeri eyewuunyisa ng'ali mu kibiina asomesa n'akubwa...

Museveni n'owa Tanzania bat...

Abakulembeze b'amawanga okuli owa Uganda Yoweri Museveni ne Samia Suluhu Hassan owa Tanzania batadde omukono ku...

Abaami ba Kabaka abaweereddwa eggaali.

Kabaka awadde abaami b'amag...

Ssaabasajja Kabaka asiimye n'awa abaami be abamagombolola 29 agokola essaza lye Buddu entambula. Obuyambi...