TOP
  • Home
  • News
  • Gavt. erondesezza akakiiko akapya mu Owino

Gavt. erondesezza akakiiko akapya mu Owino

Added 9th March 2021

Minisita Namugwanya (mu kyenvu) n’omubaka Hussein (ku kkono) n’abamu ku bakulembeze abaalondeddwa.

Minisita Namugwanya (mu kyenvu) n’omubaka Hussein (ku kkono) n’abamu ku bakulembeze abaalondeddwa.

GAVUMENTI erondesezza akakiiko ak'ekiseera ka bantu bataano mu St. Balikuddembe kagiyambeko okuddukanya akatale nga bw'ekola ku nteekateeka y'okwezza ettaka eryaali liguliddwa abasuubuzi.

Abaalondeddwa kuliko Joseph Lwanga, Andrew Ssozi, Haruna Lubega Zamutuuba, Hadijah Nagujja n'omukyala Suzan Kushaba eyabadde awambye ofiisi kyokka abasuubuzi ne bamutabukira nti tebamwagala.

Ku Lwokutaano, waabaddewo olutalo mu katale ng'abasuubuzi abaabadde bawagirwa Bashir Bugembe eyasooka okuba ssentebe bwe beegasse n'aba SSLOA okugoba Suzan Kushaba. Olutalo lwanyinyiitidde era poliisi n'ebitongole bya Gavumenti ne baluyingiramu.

Wakati mu kutema amakubo agakakkanya abasuubuzi, dayirekita wa KCCA ng'ali n'omubaka wa pulezidenti mu Kampala Hussein Hood, baasisinkanye enjuyi zonna ne bakkiriziganya nti Suzan bamulondereko abantu abalala bataano era ku Lwomukaaga baabanjulidde minisita wa Kampala, Betty Amongi ne Benny Namugwanga.

Oluvannyuma minisita Namugwanya n'omubaka wa pulezidenti baagenze mu katale ne babalangirira era ne babawa ebiragiro kwe bagenda okutambulira.

EBIRAGIRO EBIPYA MU KATALE
Minisita Namugwanya yagambye nti buli lunaku abaalondeddwa bateekwa okuwa lipooti Gavumenti ku nkola y'emirimu mub katale.

Ssente zonna ezibadde zisoloozebwa ku basuubuzi mu katale ziyimiriziddwa okuggyako eziyoola kasasiro zokka ezikung'aanyizibwa ku buli ayingiza ekyamaguzi okugeza amatooke oba ensawo z'emboga.

Akakiiko kalagiddwa okukola ennaku musanvu zokka (wiiki emu) Gavumenti eddemu erangirire ekiddako.

Namugwanya yalagidde nti ennaku Musanvu bwe zigwako bagenda kuyita abantu bataano okuva mu buli zooni eziwera munaana ezikola akatale ka St. balikuddembe bababuulire ekiddako.

Ofiisi zonna ezikyagaddwa mu katale, Namugwanya yalagidde nti zigenda kukwasibwa abakulembeze oluvannyuma lw'ennaku musanvu nga ziweddeko era ng'olukiiko lw'abantu abataano abagenda okuva mu buli kiyumba babasisinkanye.

Abasuubuzi balagiddwa nti tebageza ne bawakanya olukiiko lw'abantu abataano abalondeddwa.

Yalagidde nti tewali kibnja kiteekwaddwa kutataaganya katale kubanga bagenda kukwatibwa bavunaanibwe. Olukiiko lwa minisita n'omubaka wa pulezidenti lwabaddemu n'aba LC omusangibwa akatale ka St. Balikuddembe era Ssentebe Nsubuga Ganga owa School View yategeezezza nti bo baagala mirembe okusobozesa abasuubuzi okukola obulungi.

Kyokka ssentebe Sande Nkoyooyo owa Kasaato oluvanyuma yategeezezza Bukedde nti akatale ako abasuubuzi ba St. Balikuddembe bakagye wala okukatuusa ku ddala kwe kali nga beebakeezimbidde ne batuuka n'okugula ettaka kwekatudde era bangi kabagaggawazza era Gavumenti bw'eba erina kyeyagala okukola yeegendereze obutazza basuubuzi mu bwavu n'entalo ezitatadde.

Minisita Namugwanya yagambye nti Gavumenti yasazeewo akatale ekeddize era yatandise dda ku nteekateeka ez'eddiza ettaka kwe katudde eryagulibwa abasuubuzi. Yalaze nti Gavumenti yawa omukisa abasuubuzi mu katale bakakulaakulanye naye ne balemwa nti ekiseera kyonna babadde mu ntalo era kati omukisa gwagwawo gavumenti ekeddizza.

Ku lukiiko olwalondeddwa KCCA yagaanyi okukkiriza aba SSLOA abakulembera Kayongo okutuula ku lukiiko lwonna nti beebabaddeko.

Embeera mu katale ekyali ya bunkenke era akatale ekiseera kino kakuumibwa poliisi n'ebitongole byokwerinda. Omubaka wa pulezidenti Hood Hussein eyabadde n'omumyuka we atwala Kampala Central, Haawa Ndege yagambye nti agenda kukwata omuntu yenna agezaako okuwakanya enteekateeka z'akatale.

Kyokka aba SSLOA bagamba nti bo tebagenda kulwana wadde okukozesa effujjo kubanga bakimanyi nti akatale baakagula mu mateeka era ensonga zonna bazikwasizza kkooti.

"Minisita wa Kampala twamuwaabidde nga muntu, dayirekita wa KCCA twamuwaabidde nga muntu ne Gavumenti ne tugiwaabira nga yo. Akatale baakawambye nga kaliko ekiragiro kya kkooti kye baaziimudde era wadde baakeddizza n'okutusindiikiriza nga be batamanyi naye naffe tugenda kubakamula bakitegeere nti twagula," bwe bakambye

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssengoozi ng'alaga tayiro z'akola.

Okukola tayiro okuva mu bis...

“ Nze nabonaabona n'okunoonya emirimu nga n'akamala yunivasitte, kyokka olw’okuba nali nfunye obukugu mu kukola...

Christopher Kasozi ng'awa ebyennyanja emmere.

Abalunzi b'eby'ennyanja bal...

ABALUNZI b’ebyennyanja ku mwalo gw’e Masese e Jinja abeegattira mu kibiina kya ‘’Masese Cage Fish Farmers Co-operative...

Looya wa Ssempala yeekandaz...

LOOYA wa Isaac Ssempala, bba w’omubaka Naggayi Ssempala yeekandazze n’abooluganda ne bava mu kkooti looya bw’alemereddwa...

KCCA ekutte abatundira ku n...

ABASERIKALE ba KCCA bakoze ekikwekweto  mwe bakwatidde abatembeeyi n’abatundira ebintu ku nguudo n’okubowa emu...

Omulangira Ssimbwa

Enfa y'Omulangira Ssimbwa e...

OKUFA kw’Omulangira Arnold Ssimbwa Ssekamanya kuleesewo ebibuuzo nkumu ebirese nga biyuzizzayuzizza mu Balangira...