TOP
  • Home
  • News
  • Mukyala wa Bp. Mutebi afudde, naye ali ku ndiri assiza ku byuma

Mukyala wa Bp. Mutebi afudde, naye ali ku ndiri assiza ku byuma

Added 9th March 2021

Omugenzi Faith Mutebi

Omugenzi Faith Mutebi

MUKYALA w'Omulabiri w'e Mityana eyawummula Wilson Mutebi, Faith Mutebi afudde n'aleka bba ng'ali bubi assiza ku byuma.

Omwogezi w'Obulabirizi bw'e Mityana, Rev. James Kityo Ssemuyaba yategeezezza Bukedde nti mukyala Mutebi yalwadde ku Lwokusatu lwa wiiki ewedde ne bamutwala mu ddwaaliro ku Lwokutaano nga bba amuwerekerako kyokka ye nga mulamu.

Baagenze okutuuka mu ddwaaliro n'omwami baagenze okumukebera ng'alwadde bombi ne babateeka ku byuma ebibayambako okussa. Mu kiro ekyakeesezza ku Mande omukyala we yafiiridde omwami n'asigalayo mu ddwaaliro ng'assiza ku byuma.

Bp. Mutebi
Rev. Kityo yategeezezza nti Mukyala Mutebi abadde musomesa omutendeke era abadde atuula ku kakiiko akagaba emirimu e Mityana.

Omulabirizi Mutebi ye mulabirizi owookubiri mu bulabirizi bw'e Mityana eyadda mu bigere bya Yokaana Mukasa Omulabirizi eyasooka. Omukyala ono ng'aweereza e Mityana ye yatandikawo ettendekero ly'ebyemikono eriyigiriza okutunga n'oluvannyuma n'ateekawo eriyigiriza okuzimba n'okubajja.

Bamuziika leero ku lutikko e Namukozi Mityana ng'emikolo gitandika n'okusaba ku ssaawa 4:00 ez'enkya okugenda okukulemberwa Omulabirizi w'e Mityana Rt. Rev. Dr. James Bukomeko Ssaalongo ng'ali wamu n'Abalabirizi abalala.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...