TOP
  • Home
  • News
  • Eby'okuziika munnamateeka Kasango bikyaliko enkalu

Eby'okuziika munnamateeka Kasango bikyaliko enkalu

Added 14th March 2021

Abaffamire nga beewuunaganya ku by’okuziika Bob Kasango. Baabadde mu maka ge e Butabika.

Abaffamire nga beewuunaganya ku by’okuziika Bob Kasango. Baabadde mu maka ge e Butabika.

MUNNAMATEEKA Bob Kasango eyafiiridde mu kkomera e Luzira kati wiiki bbiri omulambo gukyalemedde ku ngulu!

Nnamwandu Nice Bitarabeho Kasango ne bamulekwa baagala omuntu waabwe aziikibwe ku ffaamu ye e Fort Portal ate nnyina w'omugenzi, Rose Kabise ayagala mutabani amweziikire ewuwe ku kyalo Wekusi, mu disitulikiti y'e Tororo.

Bo aba ffamire y'agambibwa okuba kitaawe w'omugenzi, Sam Okello, bagamba nti mutabani waabwe baagala aziikibwe ku biggya bya bajjajjaabe ku kyalo Maguria, nakyo nga kisangibwa mu disitulikiti y'e Tororo.

Balumiriza nnyina nti yali yamugaba mu basajja basatu era w'afiiridde nga tamanyi kitaawe mutuufu.

Ffamire ya nnamwandu era egamba nti agambibwa okuba kitaawe w'omugenzi Sam Okello, ate nnyina yamwegaana nti si y'amuzaala era ng'agamba nti ayagala
omulambo gwe gumuweebwe aguziike e bukojja gye bamuzaala ku kyalo Wekusi ekiri mu disitulikiti y'e Tororo.

            

            Nnamwandu Nice Bitarabeho Kasango

            Omugenzi Kasango 1

NNAMWANDU BY'AGAMBA:
Nnamwandu yeewuunyizza abagamba nti Kasango bw'aziikibwa e Fort Portal, abeera aziikiddwa ku buko.

"Nze ndi Mukiga, era nga mmange ne kitange ye mugenzi- Paul Bitarabeho eyali omutuuze ku kyalo Mwisi Buturwagye mu disitulikiti y' e Kabale noolwekyo abalowooza nti ndi w'e Tooro, bali ku byabwe," Nice Bitarabeho bwe yannyonnyodde.

Wabula ffamire ye era ekyebuuza oba omugenzi abadde n'akakwate konna mu Bukama bwa Tooro ng'oggyeko okugula ettaka n'okwettanira ennyo ebitundu by'e Tooro, omugenzi buli mwana we yali yamutuuma erinnya ly'Abatooro.

Omwana we omukulu yamutuuma, Paul Samara Kasango, addako n'amutuuma, Stefanie Gracia Karungi, ate asembayo n'amutuuma, Ivana Zeta Murungi Kasango.

Ffamire ya Nnamwandu yeewuunya nti oluvannyuma lwa nnyina w'omugenzi okukkiriza mutabani we aziikibwe e Fort, yassaawo akakwakkulizo walina okuteekebwawo entambula eneesobozesa abantu okuva e Tororo okugenda e Tooro, okuziika.

"Twamubuuza ekyetaagisa n'asaba ssente enkalu obukadde 24, ne tumusaba azikendeeze n'adda ku bukadde 9, kyokka era omuwanika waffe n'agamba nti ziba ssente nnyingi okukkakkana nga tumuwadde obukadde busatu n'ekitundu," omu kuwa
ffamire bwe yategeezezza.

Ono ataayagadde kumwatuukiriza mannya, yeewuunyizza maama ate okuddira ssente ezaamuweebwa n'azipangisaamu bakanyama abaalumba ekkanisa ya All Saints e Nakasero, ne babba omulambo.

"Mu kiseeera kino twetaaga ssente ez'okuwa aba A-plus Funeral Service, abatukuumira omulambo ssaako ze tukozesa mu lumbe naye maama n'abantu be, byonna
baabitulekera ffekka ne ssente ze yatuggyako tazikomyangawo," Ffamire bwe yagambye.

Ensonda mu ffamire ya Kasango bagamba nti enkalu wakati wa nnamwandu, n'omugenzi kennyini zirudde nga weeziri era nga n'olunaku lw'okwanjula n'embaga, maama teyayitibwa era teyalinnyayo kigere.

"Sam Okello, omu ku bakuza b'omugenzi ye yajja ne mukazi we ne bakola ng'abazadde ba Kasango ku mikolo gyabwe gyonna okwali okwanjula n'embaga," omu ku baffamire bwe yannyonnyodde.

Mmaama w'omugenzi teyafunise kubaako ky'atangaaza.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...