TOP
  • Home
  • News
  • Bayimirizza abazimba ku ttaka lya Leerwe

Bayimirizza abazimba ku ttaka lya Leerwe

Added 17th March 2021

RDC Kawonawo (mu katono) ng’ayogera eri bassentebe b’ebyalo omuyita oluguudo lw’eggaali, wamu n’abaakakiiko akalondoola ettaka ly’eggaali y’omukka.

RDC Kawonawo (mu katono) ng’ayogera eri bassentebe b’ebyalo omuyita oluguudo lw’eggaali, wamu n’abaakakiiko akalondoola ettaka ly’eggaali y’omukka.

OMUBAKA wa Pulezidenti mu Munisipaali y'e Kira, Isaac Kawonawo ayimirizza bonna abazimba ku bibangirizi by'ettaka ly'eggaali y'omukka mu Kira.

Kiddiridde akakiiko akaakola okunoonyereza ku ttaka ly'eggaali y'omukka akaalondebwa minisita w'ebyenguudo n'entambula, Katumba Wamala okuvaayo okulinoonyerezaako n'ekigendererwa ky'okuliggya ku bantu abaalisengako, basobole okuliddiza ekitongole.Kawonawo yasabye bassentebe b'ebyalo okufuna amannya g'abantu bonna abali ku ttaka lino abasulako n'abakolerako, okumanya omuwendo gwabwe omutuufu ng'emirimu gy'ekitongole teginnatandika.

Yakuutidde ab'ekitongole kino okulaba nga bayamba kw'abo abalina ebiwandiiko ku ttaka lino obutamala gabagobaganya n'abasaba okutwala enkiiko zino mu bantu babamanyise ekigenda mu maaso.

Kawonawo bino yabyogeredde ku kitebe kya munisipaali y'e Kira, mu lukuηηaana lwe yayise okusisinkana ab'ekitongole kya Leerwe abanoonyereza ku ttaka lyayo, wamu ne bassentebe b'ebyalo omuyita eggaali y'omukka.

William Wilber Kototyo ssentebe w'akakiiko akanoonyereza ku ttaka lino, aka‘Uganda Railway Corporation Land Investigation Committee'.

Yategeezezza ng'entambula y'eggaali y'omukka mu Uganda bwe yayonooneddwa abantu ab'enjawulo abakolera ku nguudo zino kw'ossa n'abo abazimba ku ttaka lya Leerwe nga kye kimu ku bireeseewo obubenje ku luguudo lw'eggaali, abayiwako kasasiro, abookerako kasasiro n'abakolerako.

Yasabye abalina ebyapa n'endagaano oba ekiwandiiko kyonna ku ttaka lino, babireete babayambeko okumanya ekituufu.

Hussein Kyazze akulira ebikwekweto mu kitongole kino yasabye bassentebe
okwewala okuyingiza ebyobufuzi mu nsonga zino nga n'abamu baagaana  abantu okwamuka ebitundu bino ekisibye omulimu okugenda mu maaso.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

NEZIKOOKOLIMA

▶️ Abaana abakoze ebibuuzo ...

▶️  NEZIKOOKOLIMA: Abaana abakoze ebibuuzo ebyakamalirizo musigale nga mukyali baana awaka.  

Ssempijja ng'asomesa abalimi.

Okugattika ebirime kye kiku...

MINISITA w'obulimi obulunzi n'obuvubi, Vincent Ssempijja asinzidde mu disitulikiti y'e Bukomansimbi n'ategeeza...

Abakristaayo lwe basabira wabweru ku Ssande.

Obulabirizi bw'e Namirembe ...

OBULABIRIZI bw'e Namirembe buyingidde mu nkaayana z'ettaka ly'ekkanisa e Kyanja n'ebugumya Abakristaayo  okusigala...

Jonathan McKinstry (wakati) ng'abuulirira Khalid Aucho (ku kkono) ne Mike Azira (ku ddyo).

Micheal Azira naye annyuse ...

MICHEAL Azira agucangira mu kiraabu ya New Mexico United yeegasse ku bassita ba Cranes babiri abakannyuka omupiira...

Nyombi ng'alaga olubuto mw'afulumira.

Afulumira mu kapiira alaajanye

OMUVUBUKA ow'emyaka 32 alaajana oluvannyuma ly'okumulongoosa ekyenda n'atawona nga kati yeetaaga obukadde butaano...